2 Bassekabaka 21:1-26

  • Manase kabaka wa Yuda; ayiwa omusaayi (1-18)

    • Yerusaalemi kya kuzikirizibwa (12-15)

  • Amoni kabaka wa Yuda (19-26)

21  Manase+ yatandika okufuga ng’alina emyaka 12, era yafugira emyaka 55 mu Yerusaalemi.+ Nnyina yali ayitibwa Kefuziba.  Yakola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa, ng’agoberera eby’omuzizo ebyakolebwanga amawanga+ Yakuwa ge yagoba mu maaso g’abantu ba Isirayiri.+  Yaddamu okuzimba ebifo ebigulumivu Keezeekiya kitaawe bye yali azikirizza,+ n’azimbira Bbaali ebyoto, era n’akola ekikondo ekisinzibwa,*+ nga Akabu kabaka wa Isirayiri bwe yakola.+ Ate era yavunnamiranga eggye lyonna ery’oku ggulu n’aliweerezanga.+  Ate era yazimba ebyoto mu nnyumba ya Yakuwa,+ Yakuwa gye yayogerako nti: “Mu Yerusaalemi mwe nditeeka erinnya lyange.”+  Yazimbira eggye lyonna ery’oku ggulu+ ebyoto mu mpya bbiri ez’ennyumba ya Yakuwa.+  Yayokya* omwana we mu muliro, n’akola eby’obufumu, n’anoonya obubonero okulagulwa,+ era n’assaawo abalubaale n’abalaguzi.+ Yakola ebibi bingi nnyo mu maaso ga Yakuwa, okumusunguwaza.  Ekifaananyi ekyole eky’ekikondo ekisinzibwa*+ kye yali akoze yakiteeka mu nnyumba Yakuwa gye yagambako Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti: “Mu nnyumba eno era mu Yerusaalemi kye nnonze mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe nja okuteeka erinnya lyange libeere omwo lubeerera.+  Siriddamu kuleetera Bayisirayiri kuva mu nsi gye nnawa bajjajjaabwe ne bagenda okubundabunda,+ singa banaafubanga okukwata byonna bye nnabalagira,+ Amateeka gonna Musa omuweereza wange ge yabalagira okugoberera.”  Naye tebaawuliriza, era Manase yeeyongera okubawabya, n’abaleetera okukola ebintu ebibi okusinga amawanga Yakuwa ge yasaanyaawo mu maaso g’Abayisirayiri.+ 10  Yakuwa yayogeranga ng’ayitira mu baweereza be bannabbi,+ ng’agamba nti: 11  “Manase kabaka wa Yuda akoze ebintu bino byonna eby’omuzizo; akoze ebibi ebisinga eby’Abaamoli+ bonna abaamusookawo,+ era aleetedde ab’omu Yuda okwonoona olw’ebifaananyi bye ebyenyinyaza.* 12  Kale bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Laba ndeeta akabi ku Yerusaalemi+ ne ku Yuda, era buli anaakawulirako amatu gajja kumuwaawaala.+ 13  Nja kuleega ku Yerusaalemi omuguwa gwe nnapimisa+ Samaliya,+ era nja kukozesa bbirigi* gye nnakozesa ku nnyumba ya Akabu,+ era nja kusiimuula Yerusaalemi ng’omuntu bw’asiimuula ebbakuli n’agivuunika.+ 14  Nja kwabulira abaasigalawo ku busika bwange+ era mbaweeyo mu mukono gw’abalabe baabwe, era bajja kutwalibwa mu buwambe n’ebintu byabwe binyagibwe abalabe baabwe bonna,+ 15  kubanga baakola ebintu ebibi mu maaso gange, era bansunguwaza okuviira ddala ku lunaku bajjajjaabwe lwe baava mu nsi ya Misiri n’okutuusa leero.’”+ 16  Ng’oggyeeko ekibi eky’okuleetera ab’omu Yuda okwonoona nga bakola ebibi mu maaso ga Yakuwa, Manase era yayiwa omusaayi mungi ogw’abantu abataalina musango okutuusa lwe yagujjuza mu Yerusaalemi okuva gy’etandikira okutuuka gy’ekoma.+ 17  Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Manase ne byonna bye yakola, awamu n’ebibi bye yakola, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Yuda. 18  Awo Manase n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu nnimiro ey’omu lubiri lwe, ennimiro ya Uzza,+ era mutabani we Amoni n’amusikira ku bwakabaka. 19  Amoni+ yalina emyaka 22 we yatandikira okufuga, era yafugira emyaka ebiri mu Yerusaalemi.+ Nnyina yali ayitibwa Mesulemesi, muwala wa Kaluzi ow’e Yotuba. 20  Amoni yeeyongera okukola ebibi mu maaso ga Yakuwa, nga kitaawe Manase bwe yakola.+ 21  Yatambuliranga mu makubo ga kitaawe gonna, era yeeyongera okuweereza n’okuvunnamira ebifaananyi ebyenyinyaza kitaawe bye yaweerezanga.+ 22  Bw’atyo yava ku Yakuwa Katonda wa bajjajjaabe, era teyatambulira mu makubo ga Yakuwa.+ 23  Oluvannyuma abaweereza ba Amoni baamukolera olukwe ne bamuttira mu nnyumba ye. 24  Naye abantu b’omu Yuda ne batta abo bonna abaakola olukwe okutta Kabaka Amoni, era ne bafuula Yosiya mutabani we kabaka mu kifo kye.+ 25  Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Amoni, ebyo bye yakola, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Yuda. 26  Amoni yaziikibwa mu ntaana ye mu nnimiro ya Uzza,+ era mutabani we Yosiya+ n’amusikira ku bwakabaka.

Obugambo Obuli Wansi

Laba Awanny.
Obut., “Yayisa.”
Laba Awanny.
Laba obugambo obuli wansi ku Lev 26:30.
Oba, “ekipima obutereevu bw’ekintu.”