2 Bassekabaka 6:1-33
6 Awo abaana ba bannabbi+ ne bagamba Erisa nti: “Laba! Ekifo mwe tubeera naawe kifunda nnyo.
2 Tukwegayiridde, ka tugende ku Yoludaani, buli omu aggyeyo omuti, twezimbire eyo ekifo eky’okubeeramu.” Erisa n’abagamba nti: “Kale mugende.”
3 Naye omu ku bo n’amugamba nti: “Onoogenda n’abaweereza bo?” Erisa n’amuddamu nti: “Nja kugenda.”
4 Awo n’agenda nabo, era bwe baatuuka ku Yoludaani, ne batandika okutema emiti.
5 Omu ku bo bwe yali atema omuti, embazzi n’ewangukamu n’egwa mu mazzi, n’aleekaana nti: “Woowe mukama wange, embazzi ebadde nneeyazike!”
6 Omusajja wa Katonda ow’amazima n’amubuuza nti: “Egudde wa?” N’amulaga we yali egudde. Erisa n’atema ekiti n’akisuulawo, embazzi n’ebbulukuka n’edda kungulu ku mazzi.
7 N’amugamba nti: “Giggyeeyo.” N’agolola omukono gwe n’agiggyayo.
8 Awo kabaka wa Busuuli n’agenda okulwana ne Isirayiri.+ Yateesa n’abaweereza be era n’agamba nti: “Nja kusiisira e gindi nammwe.”
9 Awo omusajja wa Katonda ow’amazima+ n’atumira kabaka wa Isirayiri, n’amugamba nti: “Weegendereze oleme okuyita e gindi, kubanga eyo Abasuuli gye bagenda.”
10 Awo Kabaka wa Isirayiri n’atuma ababaka mu kifo omusajja wa Katonda ow’amazima kye yali amubuuliddeko ng’amulabula. Erisa yalabula kabaka wa Isirayiri emirundi egiwerako,* bw’atyo ne yeewala okuyita mu bifo ebyo.+
11 Ekyo ne kinyiiza nnyo kabaka* wa Busuuli, n’ayita abaweereza be n’ababuuza nti: “Mumbuulire, ani mu ffe ali ku ludda lwa kabaka wa Isirayiri?”
12 Awo omu ku baweereza be n’amugamba nti: “Tewali n’omu ku ffe, mukama wange kabaka, wabula nnabbi Erisa ali mu Isirayiri y’abuulira kabaka wa Isirayiri ebyo by’oyogerera mu kisenge kyo.”+
13 Kabaka wa Busuuli n’agamba nti: “Mugende muzuule gy’ali, ntume abasajja bamukwate.” Oluvannyuma baamutegeeza nti: “Ali Dosani.”+
14 Amangu ago n’asindikayo eggye eddene n’embalaasi n’amagaali ag’olutalo, ne ligenda ekiro ne lizingiza ekibuga.
15 Omuweereza w’omusajja wa Katonda ow’amazima bwe yagolokoka ku makya n’afuluma ebweru, n’alaba eggye eryalimu embalaasi n’amagaali ag’olutalo nga lizingizza ekibuga. Awo omuweereza n’agamba Erisa nti: “Zitusanze mukama wange! Tukoze tutya?”
16 Naye Erisa n’amuddamu nti: “Totya,+ kubanga abali naffe bangi okusinga abali nabo.”+
17 Erisa n’asaba ng’agamba nti: “Ai Yakuwa, zibula amaaso ge alabe.”+ Amangu ago Yakuwa n’azibula amaaso g’omuweereza n’alaba, era laba! ekitundu eky’ensozi kyali kijjudde embalaasi n’amagaali ag’omuliro,+ nga byetoolodde Erisa.+
18 Abasuuli bwe baagenda gy’ali, Erisa n’asaba Yakuwa ng’agamba nti: “Nkwegayiridde, ziba amaaso g’abantu bano.”+ N’aziba amaaso gaabwe nga Erisa bwe yasaba.
19 Erisa n’abagamba nti: “Lino si lye kkubo, era kino si kye kibuga kye mujjiridde. Mungoberere, mbatwale eri omuntu gwe munoonya.” Awo n’abatwala e Samaliya.+
20 Bwe baatuuka e Samaliya, Erisa n’agamba nti: “Ai Yakuwa, zibula amaaso gaabwe balabe.” Yakuwa n’azibula amaaso gaabwe, ne balaba nti baali wakati mu Samaliya.
21 Kabaka wa Isirayiri bwe yabalaba n’abuuza Erisa nti: “Kitange, abantu bano mbatte?”
22 Naye Erisa n’amuddamu nti: “Tobatta. Oyinza okutta abo b’omaze okuwamba n’ekitala kyo era n’omutego gwo? Bawe emmere n’amazzi balye era banywe,+ baddeyo eri mukama waabwe.”
23 Awo kabaka wa Isirayiri n’abagabula ekijjulo, ne balya era ne banywa, oluvannyuma n’abasiibula ne baddayo eri mukama waabwe. Okuva olwo, ebibinja by’abazigu eby’Abasuuli+ tebyaddamu kujja mu nsi ya Isirayiri.
24 Oluvannyuma lw’ekiseera, Beni-kadadi kabaka wa Busuuli yakuŋŋaanya eggye lye* lyonna, n’agenda n’azingiza Samaliya.+
25 Enjala yagwa n’eba ya maanyi nnyo+ mu Samaliya. Baakizingiza, omutwe gw’endogoyi+ ne gutuuka n’okugulwa sekeri 80 eza ffeeza, era n’ekimu kya kuna ekya kaabu* ya kalimbwe w’amayiba ne kituuka okugulwa sekeri 5 eza ffeeza.
26 Awo kabaka wa Isirayiri bwe yali ng’ayita ku bbugwe waggulu, ne wabaawo omukazi amuwanjagira nti: “Mukama wange kabaka, tuyambe!”
27 Kabaka n’amuddamu nti: “Yakuwa bw’ataakuyambe, nze nnaakuggira wa obuyambi? Nnaabuggya mu gguuliro? Oba mu ssogolero ly’omwenge oba ery’amafuta g’ezzeyituuni?”
28 Kabaka n’amubuuza nti: “Obadde ki?” N’amuddamu nti: “Omukazi ono yaŋŋamba nti, ‘Leeta omwana wo tumulye olwa leero, enkya tujja kulya owange.’+
29 Bwe tutyo ne tufumba omwana wange, ne tumulya.+ Enkeera ne mmugamba nti, ‘Leeta omwana wo tumulye,’ kyokka ye n’akweka omwana we.”
30 Kabaka olwawulira ebigambo by’omukazi oyo, n’ayuza ebyambalo bye.+ Bwe yali ng’ayita ku bbugwe waggulu, abantu ne balaba nga munda mu ngoye ze ayambaliddemu ebibukutu.
31 N’agamba nti: “Katonda ambonereze era ayongere ku kibonerezo kyange, Erisa mutabani wa Safati bw’ataatemweko mutwe olwa leero!”+
32 Erisa yali atudde mu nnyumba ye awamu n’abakadde. Awo kabaka n’atuma omusajja amukulemberemu, naye omubaka bwe yali nga tannatuuka, Erisa n’agamba abakadde nti: “Mulabye omwana w’omutemu+ oyo bw’atumye bantemeko omutwe? Kale omubaka oyo bw’anaaba atuuse, muggaleewo oluggi musigale nga mulusindika aleme kuyingira. Mukama we si y’ajja amuvaako emabega?”
33 Bwe yali ng’akyayogera nabo, omubaka n’atuuka we yali, kabaka n’agamba nti: “Akabi kano kavudde wa Yakuwa. Kale lwaki nneeyongera okulindirira Yakuwa?”
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “emirundi egisukka mu gumu oba ebiri.”
^ Obut., “omutima gwa kabaka.”
^ Oba, “olusiisira lwe.”
^ Kaabu yali egyaamu lita 1.22. Laba Ebyong. B14.