2 Peetero 2:1-22

  • Wajja kubaawo abayigiriza ab’obulimba (1-3)

  • Abayigiriza ab’obulimba ba kusalirwa omusango (4-10a)

    • Bamalayika basuulibwa mu Tatalo (4)

    • Amataba; Sodomu ne Ggomola (5-7)

  • Enneeyisa y’abayigiriza ab’obulimba (10b-22)

2  Kyokka era wajjawo bannabbi ab’obulimba mu bantu, ng’era bwe wajja okujjawo abayigiriza ab’obulimba mu mmwe.+ Era mu nkiso bajja kuleetera abantu okwekutulakutulamu obubiina obw’omutawaana era bajja kwegaana mukama waabwe eyabagula,+ beereeteko okuzikirira okw’amangu.  Ate era bangi bajja kugoberera ebikolwa byabwe eby’obugwagwa,*+ n’ekinaavaamu, ekkubo ery’amazima lijja kwogerwako bubi.+  Era olw’omululu gwabwe, bajja kubafunamu bye baagala nga bakozesa ebigambo eby’obulimba. Naye, omusango ogwabasalirwa edda+ tegulirwa era okuzikirizibwa kwabwe tekulirema kujja.+  Katonda teyalema kubonereza bamalayika abaayonoona,+ naye yabasuula mu Tatalo,*+ n’abasiba enjegere mu kizikiza* ekikutte ennyo nga balindirira omusango ogwabasalirwa.+  Era teyalema kubonereza nsi ey’edda,+ naye yawonya Nuuwa omubuulizi w’obutuukirivu+ n’abalala musanvu,+ bwe yaleeta amataba ku nsi ey’abantu abatatya Katonda.+  Era yasalira ebibuga Sodomu ne Ggomola omusango n’abifuula vvu,+ n’alaga ekyo ekinaatuuka ku bantu abatatya Katonda.+  Era yawonya Lutti omutuukirivu+ eyali anyolwa ennyo olw’ebikolwa eby’obugwagwa* eby’abantu abajeemu  (kubanga omusajja oyo omutuukirivu yalumwanga nnyo buli lunaku olw’ebikolwa eby’obujeemu bye yalabanga ne bye yawuliranga ng’abeera mu bantu abo).  Yakuwa* amanyi okununula abo abamwemalirako n’abaggya mu kugezesebwa,+ naye abatali batuukirivu ajja kubazikiriza ku lunaku olw’okusalirako omusango,+ 10  naddala abo abaagala okwonoona omubiri gw’abalala+ era abanyooma abo ababakulembera.+ Tebalina kye batya era bawaganyavu, tebatya kwogera bubi ku ba kitiibwa, 11  so nga bamalayika ababasinga obusobozi n’amaanyi, tebabavuma nga baliko kye babavunaana, olw’okuba bassa ekitiibwa mu Yakuwa.*+ 12  Naye abantu bano, okufaananako ensolo ezitalina magezi era ezikola ebintu nga tezisoose kubirowoozaako, ezaazaalibwa okukwatibwa n’okuttibwa, bavumirira ebintu bye batamanyi.+ Bajja kuzikirizibwa olw’ekkubo lyabwe eryo ebbi lye bakutte; 13  beereetako obulumi, ng’eno ye mpeera ey’okukwata ekkubo ebbi. Banyumirwa okuba mu bulamu obw’okwejalabya*+ mu budde obw’emisana. Abantu bano mabala era nkovu, bafuna essanyu lingi nnyo mu njigiriza zaabwe ez’obulimba ze bayigiriza nga bali wamu nammwe ku bijjulo.+ 14  Amaaso gaabwe gajjudde obwenzi,+ tebasobola kwewala kwonoona, era basendasenda abatali banywevu. Emitima gyabwe gijjudde omululu.* Baana abaakolimirwa. 15  Balese ekkubo eggolokofu ne bakyamizibwa. Bakutte ekkubo lya Balamu+ mutabani wa Byoli, eyayagala empeera y’okwonoona,+ 16  naye n’anenyezebwa olw’obutakola kituufu.+ Endogoyi etayogera bwe yayogera mu ddoboozi ly’omuntu, n’eziyiza nnabbi oyo okukwata ekkubo eritali lya magezi.+ 17  Bano ze nzizi ezitaliimu mazzi, era lwe lufu olutwalibwa embuyaga ey’amaanyi, era ekizikiza ekikutte zigizigi kibaterekeddwa.+ 18  Boogera ebigambo eby’okwewaana ebitaliimu nsa, era okuyitira mu kwegomba kw’omubiri+ ne mu mpisa ez’obugwagwa,* basendasenda abo abaakamala okwekutula ku bantu abeeyisa obubi.+ 19  Wadde nga babasuubiza eddembe, bo bennyini baddu ba mpisa mbi.+ Kubanga buli awangulwa omuntu aba muddu we.*+ 20  Mazima ddala, bwe bava mu bwonoonefu bw’ensi+ oluvannyuma lw’okutegeerera ddala Mukama waffe era Omulokozi, Yesu Kristo, ate ne babuddamu era ne bawangulwa, embeera yaabwe ey’oluvannyuma eba mbi nnyo okusinga eyasooka.+ 21  Kyandisinzeeko singa tebaategeera kkubo lya butuukirivu okusinga okulitegeera ate ne bava ku kiragiro ekitukuvu ekyabaweebwa.+ 22  Ebigambo ebiri mu lugero olw’amazima bituukiridde ku bo: “Embwa eddidde ebisesemye byayo, n’embizzi enaaziddwa ezzeemu okwevulunga mu ttosi.”+

Obugambo Obuli Wansi

Laba obugambo obuli wansi ku Mak 7:22.
Laba Awanny.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “mu bunnya obw’ekizikiza.”
Laba Awanny.
Kwe kugamba, okulya, okunywa, n’ebinyumu.
Oba, “baatendeka emitima gyabwe okuba n’omululu.”
Laba Awanny.
Oba, “awangulwa ekintu aba muddu waakyo.”