2 Samwiri 14:1-33
14 Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya+ n’ategeera nti kabaka omwoyo gwali gumulumira Abusaalomu.+
2 Yowaabu n’atumya omukazi omugezigezi okuva e Tekowa,+ n’amugamba nti: “Weefuule ng’omuntu akungubaga oyambale ebyambalo eby’okukungubaga, era teweesiiga mafuta.+ Weefuule ng’omukazi akungubagidde ekiseera ekiwanvu.
3 Oluvannyuma ojja kugenda eri kabaka omugambe bw’oti.” Awo Yowaabu n’amugamba ebigambo by’anaayogera.
4 Awo omukazi Omutekowa n’agenda eri kabaka n’avunnama era ne yeeyala wansi n’amugamba nti: “Ai kabaka nnyamba!”
5 Kabaka kwe kumubuuza nti: “Obadde ki?” N’amuddamu nti: “Baze yafa; ndi nnamwandu.
6 Ate era nze omuweereza wo nnalina batabani bange babiri, era abaana abo baalwanira ku ttale. Tewaaliwo abataasa, omu n’akuba munne n’amutta.
7 Kaakano ab’eŋŋanda bonna bantabukidde nze omuweereza wo, era baŋŋamba nti, ‘Waayo oyo eyatta muganda we tumutte olw’obulamu bwa muganda we gwe yatta,+ ne bwe kiba nga kitegeeza kusaanyaawo musika!’ Bwe banaamutta bajja kuba bazikizza eryanda lyange erisigaddewo, era baze ajja kuba tasigazza linnya wadde ezzadde* ku nsi.”
8 Awo kabaka n’agamba omukazi nti: “Ddayo ewuwo, ensonga yo nja kugikolako.”
9 Omukazi Omutekowa n’agamba kabaka nti: “Ai mukama wange kabaka, omusango ka gubeere ku nze ne ku nnyumba ya kitange, naye guleme kuba ku kabaka n’entebe ye.”
10 Kabaka n’amugamba nti: “Omuntu yenna bw’anaddamu okubaako ekirala ky’akugamba, muleete gye ndi, era tajja kuddamu kukutawaanya.”
11 Naye omukazi n’amugamba nti: “Nkwegayiridde kabaka, jjukira Yakuwa Katonda wo, oyo awoolera eggwanga+ aleme kukola kabi era aleme kutta mutabani wange.” Kabaka n’amuddamu nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu,+ tewali luviiri lwa mutabani wo na lumu lujja kugwa ku ttaka.”
12 Omukazi n’agamba nti: “Nkwegayiridde, kkiriza omuweereza wo abeeko ky’ayogera eri mukama wange kabaka.” Kabaka n’amugamba nti: “Yogera!”
13 Omukazi n’agamba nti: “Kati olwo lwaki olowoozezza okukola ekintu bwe kityo ku bantu ba Katonda?+ Kabaka bw’ayogera bw’atyo aba yeesalira omusango, kubanga takomezzaawo mutabani we gwe yawaŋŋangusa.+
14 Mazima ddala tujja kufa tube ng’amazzi agayiiriddwa ku ttaka agatayinza kuzzibwawo. Naye Katonda tayinza kuggyawo bulamu, era alowooza ku nsonga lwaki oyo aba awaŋŋangusiddwa tasaanidde kusigala mu buwaŋŋanguse.
15 Mukama wange kabaka, nzize okukugamba ebigambo bino olw’okuba abantu bantiisizzatiisizza. Omuweereza wo kyavudde agamba nti, ‘Ka njogere ne kabaka. Oboolyawo kabaka anaakolera omuddu we ky’amusabye.
16 Kabaka ayinza okuwuliriza n’anunula omuddu we mu mukono gw’omuntu ayagala okunzita nze ne mutabani wange omu yekka, atuggye ku busika Katonda bwe yatuwa.’+
17 Omuweereza wo kwe kugamba nti, ‘Ebigambo bya mukama wange kabaka ka bimpe emirembe,’ kubanga okufaananako malayika wa Katonda ow’amazima, mukama wange kabaka asobola okwawulawo ekirungi n’ekibi. Yakuwa Katonda wo abeere naawe.”
18 Awo kabaka n’agamba omukazi nti: “Nkwegayiridde tobaako ky’onkisa ku kye ŋŋenda okukubuuza.” Omukazi n’amuddamu nti: “Mukama wange kabaka ayogere.”
19 Kabaka n’amubuuza nti: “Yowaabu y’akutumye okuŋŋamba bino?”+ Omukazi n’amuddamu nti: “Ai mukama wange kabaka, nga bw’oli omulamu, ky’ogambye kituufu ddala, kubanga omuweereza wo Yowaabu ye yandagidde era ye yagambye omuweereza wo ebyo byonna bye njogedde.
20 Kino omuweereza wo Yowaabu akikoze osobole okulaba ensonga mu ngeri ey’enjawulo, naye mukama wange wa magezi nga malayika wa Katonda ow’amazima, era amanyi byonna ebigenda mu maaso mu nsi.”
21 Awo kabaka n’agamba Yowaabu nti: “Kale, ekintu kino nja kukikola.+ Genda okomyewo omuvubuka oyo Abusaalomu.”+
22 Awo Yowaabu n’avunnama era ne yeeyala wansi n’atendereza kabaka era n’agamba nti: “Ai mukama wange kabaka, olwa leero omuweereza wo ategedde nti asiimibwa mu maaso go, kubanga kabaka akoze ekyo omuweereza we ky’amusabye.”
23 Awo Yowaabu n’ayimuka n’agenda e Gesuli+ n’aleeta Abusaalomu e Yerusaalemi.
24 Kyokka, kabaka n’agamba nti: “Agende mu nnyumba ye, naye tajja mu maaso gange.” Abusaalomu n’agenda mu nnyumba ye, era teyagenda mu maaso ga kabaka.
25 Mu Isirayiri yonna temwali musajja gwe baali batenda olw’okulabika obulungi nga Abusaalomu. Abusaalomu teyaliiko kamogo okuviira ddala ku bigere bye okutuukira ddala ku mutwe gwe.
26 Bwe yasalangako enviiri ze, obuzito bwazo bwabanga sekeri 200* okusinziira ku jjinja lya kabaka eripima.* (Yalinanga okuzisalako ku buli nkomerero y’omwaka olw’okuba zaamuzitoowereranga nnyo.)
27 Abusaalomu yalina abaana ab’obulenzi basatu+ n’omuwala omu; omuwala yali ayitibwa Tamali, era yali alabika bulungi nnyo.
28 Abusaalomu yeeyongera okubeera mu Yerusaalemi emyaka ebiri, naye teyagenda mu maaso ga kabaka.+
29 Awo Abusaalomu n’atumya Yowaabu amutume eri kabaka, naye Yowaabu n’agaana okugenda. Abusaalomu n’amutumya omulundi ogw’okubiri, naye era n’agaana okugenda.
30 Abusaalomu n’agamba abaweereza be nti: “Yowaabu alina ekibanja ekiriraanye ekyange, era alinamu omusiri gwa ssayiri. Mugende mugwokye omuliro.” Abaweereza ba Abusaalomu ne bagenda ne bagwokya omuliro.
31 Awo Yowaabu n’agenda ewa Abusaalomu n’amubuuza nti: “Lwaki abaweereza bo bookezza omusiri gwange?”
32 Abusaalomu n’agamba Yowaabu nti: “Nnakutumya nga ŋŋamba nti, ‘Jjangu nkutume eri kabaka omugambe nti: “Nnaviira ki e Gesuli+ ne nzija? Kyandisinzeeko singa nnasigalayo. Kale kaakano ka ŋŋende ndabe kabaka, era bwe mba nga ndiko omusango, anzite.”’”
33 Awo Yowaabu n’agenda eri kabaka n’amubuulira. Kabaka n’ayita Abusaalomu, Abusaalomu n’agenda n’avunnama mu maaso ga kabaka era ne yeeyala wansi; oluvannyuma kabaka n’anywegera Abusaalomu.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “ensigalira.”
^ Kilo nga 2.3. Laba Ebyong. B14.
^ Lino liyinza okuba nga lyali jjinja eripima eryaterekebwanga mu lubiri lwa kabaka, oba sekeri “ya kabaka” eyali ey’enjawulo ku sekeri eya bulijjo.