2 Samwiri 21:1-22

  • Ennyumba ya Sawulo ewoolerwako eggwanga ku lw’Abagibiyoni (1-14)

  • Okulwana n’Abafirisuuti (15-22)

21  Awo ne wabaawo enjala ey’amaanyi+ mu nnaku za Dawudi okumala emyaka esatu egy’omuddiriŋŋanwa, bw’atyo Dawudi ne yeebuuza ku Yakuwa, era Yakuwa n’amugamba nti: “Sawulo n’ab’omu nnyumba ye baliko omusango gw’okuyiwa omusaayi, kubanga yatta Abagibiyoni.”+  Kabaka n’ayita Abagibiyoni+ n’ayogera nabo. (Abagibiyoni tebaali Bayisirayiri, wabula baali Baamoli+ abaasigalawo, era Abayisirayiri baali baabalayirira obutabatta,+ kyokka Sawulo n’abatta olw’okuba yali akwatiddwa obuggya ku lw’abantu ba Isirayiri ne Yuda.)  Dawudi n’agamba Abagibiyoni nti: “Kiki kye mba mbakolera, era mutango ki gwe mba mbawa, mulyoke musabire obusika bwa Yakuwa omukisa?”  Abagibiyoni ne bamuddamu nti: “Tetusaba ffeeza oba zzaabu+ olw’ebyo Sawulo n’ab’ennyumba ye bye baatukola, era tetusobola kutta muntu yenna mu Isirayiri.” Dawudi n’abagamba nti: “Kyonna kye muŋŋamba nja kukibakolera.”  Awo ne bagamba kabaka nti: “Omusajja eyatuzikiriza era eyakola olukwe okutusaanyaawo tuleme kubeera wantu wonna mu Isirayiri+  ka tuweebwe abaana be musanvu. Tujja kuwanika emirambo gyabwe+ mu maaso ga Yakuwa e Gibeya+ ekya Sawulo, Yakuwa gwe yalonda okuba kabaka.”+ Kabaka n’abagamba nti: “Nja kubabawa.”  Naye kabaka yasaasira Mefibosesi+ mutabani wa Yonasaani omwana wa Sawulo, olw’ekirayiro Dawudi ne Yonasaani+ mutabani wa Sawulo kye baakola mu maaso ga Yakuwa.  Awo Kabaka n’atwala Alumoni ne Mefibosesi, abaana ab’obulenzi ababiri Lizupa+ muwala wa Aya be yazaalira Sawulo, n’abaana ab’obulenzi abataano Mikali*+ muwala wa Sawulo be yazaalira Aduliyeri+ mutabani wa Baluzirayi Omumekolasi.  Awo n’abawaayo eri Abagibiyoni, ne bawanika emirambo gyabwe ku lusozi mu maaso ga Yakuwa.+ Bonna omusanvu baafiira wamu; battibwa mu nnaku ezaasooka ez’amakungula, ku ntandikwa y’amakungula ga ssayiri. 10  Awo Lizupa+ muwala wa Aya n’addira ekibukutu n’akyeyalira ku lwazi okuva ku ntandikwa y’amakungula okutuusa enkuba lwe yatonnya n’ekuba emirambo egyo; teyaganya binyonyi bya mu bbanga kugigwako emisana wadde ensolo z’omu nsiko okugisemberera ekiro. 11  Dawudi n’ategeezebwa ekyo Lizupa omuzaana wa Sawulo, muwala wa Aya, kye yali akoze. 12  Bw’atyo Dawudi n’agenda n’aggya amagumba ga Sawulo n’aga Yonasaani mutabani we ku bakulembeze*+ b’omu Yabesi-gireyaadi, abaali bagabbye mu kibangirizi ekya lukale eky’ekibuga Besu-sani, Abafirisuuti gye baali bawanise emirambo gyabwe ku lunaku Abafirisuuti lwe batta Sawulo e Girubowa.+ 13  Yaggyayo amagumba ga Sawulo n’amagumba ga Yonasaani mutabani we, era ne bakuŋŋaanya n’amagumba g’abasajja abaali battiddwa.+ 14  Awo ne baziika amagumba ga Sawulo n’amagumba ga Yonasaani mutabani we mu kitundu kya Benyamini mu Zeera,+ mu kifo gye baaziika kitaawe Kiisi.+ Bwe baamala okukola byonna kabaka bye yali alagidde, Katonda n’awulira okwegayirira kwabwe okukwata ku nsi.+ 15  Abafirisuuti ne baddamu okulwana n’Abayisirayiri,+ Dawudi n’agenda n’abaweereza be ne balwana n’Abafirisuuti, naye Dawudi n’akoowa nnyo. 16  Awo Isubibenobu omu ku bazzukulu b’Abaleefa+ eyalina effumu erizitowa sekeri 300,*+ ng’akutte n’ekitala ekipya, n’ayagala okutta Dawudi. 17  Amangu ago Abisaayi+ mutabani wa Zeruyiya n’ajja n’amutaasa,+ n’atta Omufirisuuti oyo. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayirira nga bagamba nti: “Toddamu kugenda naffe mu lutalo,+ oleme okuzikiza ettaala ya Isirayiri!”+ 18  Oluvannyuma lw’ebyo, waabalukawo olutalo nate wakati w’Abayisirayiri n’Abafirisuuti+ e Gobu. Sibbekayi+ Omukusa n’atta Safu, omu ku bazzukulu b’Abaleefa.+ 19  Awo ne wabaawo nate olutalo n’Abafirisuuti+ e Gobu, Erukanani mutabani wa Yaale-olegimu Omubesirekemu n’atta Goliyaasi Omugitti, eyalina effumu eryalina olunyago olulinga omuti okulukirwa engoye.+ 20  Awo ne wabaawo nate olutalo mu Gaasi, era waaliyo omusajja omuwagguufu ennyo eyalina engalo 6 ku buli mukono n’obugere 6 ku buli kigere, nga byonna wamu biri 24; oyo naye yali muzzukulu w’Abaleefa.+ 21  Yasoomoozanga Isirayiri,+ naye Yonasaani mutabani wa Simeeyi+ muganda wa Dawudi n’amutta. 22  Abo abana baali bazzukulu b’Abaleefa abaali mu Gaasi, era battibwa Dawudi n’abaweereza be.+

Obugambo Obuli Wansi

Era kiyinza okuvvuunulwa, “Merabu.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “bannannyini ttaka.”
Kilo nga 3.42. Laba Ebyong. B14.