2 Samwiri 24:1-25

  • Dawudi abala abantu n’ayonoona (1-14)

  • Endwadde etta abantu 70,000 (15-17)

  • Dawudi azimba ekyoto (18-25)

    • Teri ssaddaaka eteebamu kwefiiriza (24)

24  Awo obusungu bwa Yakuwa ne buddamu okubuubuukira Isirayiri,+ bwe waaliwo eyasendasenda Dawudi ng’amugamba* nti: “Genda obale abantu+ b’omu Isirayiri n’ab’omu Yuda.”+  Awo kabaka n’agamba Yowaabu+ omukulu w’eggye eyali naye nti: “Genda oyiteeyite mu bika byonna ebya Isirayiri, okuva e Ddaani okutuuka e Beeru-seba,+ mubale abantu, mmanye omuwendo gwabwe.”  Naye Yowaabu n’agamba kabaka nti: “Yakuwa Katonda wo k’ayongere ku bungi bw’abantu emirundi 100, era naawe mukama wange kabaka okyerabireko n’amaaso go. Naye lwaki mukama wange kabaka ayagala okukola ekintu ng’ekyo?”  Kyokka ekigambo kya kabaka ne kisinza ekya Yowaabu n’eky’abakulu b’eggye amaanyi. Bw’atyo Yowaabu n’abakulu b’eggye ne bava mu maaso ga kabaka ne bagenda okubala abantu ba Isirayiri.+  Baasomoka Yoludaani ne basiisira mu Aloweri,+ ku luuyi olwa ddyo olw’ekibuga* ekiri mu makkati g’ekiwonvu, ne boolekera ekitundu ky’Abagaadi, ne beeyongerayo e Yazeri.+  Oluvannyuma baagenda e Gireyaadi+ ne mu kitundu ky’e Tatimu-kodusi, ne beeyongerayo ne batuuka e Dani-yaani ne beetooloola ne bagenda e Sidoni.+  Awo ne bagenda ku kigo ky’e Ttuulo+ ne mu bibuga byonna eby’Abakiivi+ n’eby’Abakanani, ne bakoma e Beeru-seba+ ekiri mu Negebu+ ekya Yuda.  Bwe batyo ne bayitaayita mu kitundu ekyo kyonna ne batuuka e Yerusaalemi oluvannyuma lw’emyezi mwenda n’ennaku 20.  Yowaabu n’awa kabaka omuwendo gw’abantu abaali babaliddwa; Abayisirayiri baali abasajja abazira 800,000 abaali bakwata ekitala, ate abasajja ba Yuda baali 500,000.+ 10  Naye omutima gwa* Dawudi gwamulumiriza+ oluvannyuma lw’okubala abantu, n’agamba Yakuwa nti: “Nnyonoonye+ nnyo olw’okukola ekintu kino. Kaakano, Ai Yakuwa, nkwegayiridde sonyiwa omuweereza wo ensobi gy’akoze,+ kubanga nkoze kya busirusiru nnyo.”+ 11  Dawudi bwe yagolokoka ku makya, Yakuwa n’ayogera ne nnabbi Gaadi+ eyategeezanga Dawudi okwolesebwa okwavanga eri Katonda, n’amugamba nti: 12  “Genda ogambe Dawudi nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Nkuteereddewo ebibonerezo bisatu. Londako kimu kye mba nkuwa.”’”+ 13  Awo Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Kibonerezo ki ku bino ebisatu ky’olondako: Enjala okugwa mu nsi yo okumala emyaka musanvu,+ oba ggwe okumala emyezi esatu ng’odduka abalabe bo nga bakuwondera,+ oba endwadde ey’amaanyi okuba mu nsi yo okumala ennaku ssatu?+ Kaakano salawo n’obwegendereza kye mba nziramu Oyo antumye.” 14  Dawudi n’agamba Gaadi nti: “Kino kinzitooweredde nnyo. Ka tugwe mu mukono gwa Yakuwa,+ kubanga musaasizi nnyo;+ naye tondeka kugwa mu mukono gwa muntu.”+ 15  Awo Yakuwa n’aleeta endwadde ey’amaanyi+ mu Isirayiri, okuva ku makya okutuuka ku kiseera ekyali kigerekeddwa, abantu 70,000 ne bafa,+ okuva e Ddaani okutuuka e Beeru-seba.+ 16  Malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Yakuwa n’akwatirwa abantu be ekisa olw’endwadde gye yali aleese,+ n’agamba malayika eyali azikiriza abantu nti: “Ekyo kimala! Omukono gwo gusse.” Malayika wa Yakuwa yali kumpi n’egguuliro lya Alawuna+ Omuyebusi.+ 17  Dawudi bwe yalaba malayika eyali atta abantu, n’agamba Yakuwa nti: “Nze nnayonoona era ne nkola ekibi; naye endiga zino+ zikoze ki? Nkwegayiridde, omukono gwo ka gube ku nze ne ku nnyumba ya kitange.”+ 18  Awo Gaadi n’agenda eri Dawudi ku lunaku olwo n’amugamba nti: “Genda ozimbire Yakuwa ekyoto ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.”+ 19  Dawudi n’agenda nga Gaadi bwe yamugamba, nga Yakuwa bwe yali alagidde. 20  Alawuna bwe yalaba kabaka n’abaweereza be nga bajja gy’ali, amangu ago n’afuluma n’avunnamira kabaka. 21  Alawuna n’abuuza nti: “Lwaki mukama wange kabaka azze eri omuweereza we?” Dawudi n’amuddamu nti: “Nzize okukugulako egguuliro nzimbire Yakuwa ekyoto, ekirwadde kisobole okuggibwa ku bantu.”+ 22  Naye Alawuna n’agamba Dawudi nti: “Mukama wange kabaka k’alitwale aweeyo ekirabika nga kirungi gy’ali.* Ente ez’ekiweebwayo ekyokebwa ziizino, era n’ebibaawo ebiwuula n’ekikoligo ky’ente biibino bibe enku. 23  Byonna Alawuna abikuwadde, Ai kabaka.” Awo Alawuna n’agamba kabaka nti: “Yakuwa Katonda wo akukwatirwe ekisa.” 24  Kyokka kabaka n’agamba Alawuna nti: “Nedda, nja kulikugulako buguzi. Sijja kuwaayo eri Yakuwa Katonda wange ssaddaaka ezookebwa nga sirina kye nsasudde.” Awo Dawudi n’agula egguuliro n’ente sekeri* 50 eza ffeeza.+ 25  Dawudi n’azimbira Yakuwa ekyoto+ mu kifo ekyo era n’awaayo ssaddaaka ezookebwa ne ssaddaaka ez’emirembe. Yakuwa n’awulira okwegayirira kwabwe,+ ekirwadde ne kiggibwa ku Isirayiri.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Dawudi bwe yasendebwasendebwa.”
Oba, “ebukiikaddyo w’ekibuga.”
Oba, “omuntu ow’omunda owa.”
Obut., “ekirungi mu maaso ge.”
Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.