2 Samwiri 8:1-18

  • Obuwanguzi bwa Dawudi (1-14)

  • Gavumenti ya Dawudi (15-18)

8  Nga wayiseewo ekiseera, Dawudi yalwana n’Abafirisuuti+ n’abawangula,+ era n’abawambako Mesega-amma.  Yalwanyisa n’Abamowaabu n’abawangula,+ n’abagalamiza wansi, n’abapimisa omuguwa. Yapima emiguwa ebiri, abo be yapima ne baba nga ba kuttibwa, era n’apima omuguwa gumu, abo be yapima ne baba nga ba kulekebwa nga balamu.+ Abamowaabu baafuuka baweereza ba Dawudi, era baamuwanga omusolo.+  Era Dawudi yalwanyisa era n’awangula Kadadezeri mutabani wa Lekobu kabaka wa Zoba,+ Kadadezeri bwe yali agenda okuddamu okuzza ekitundu ekiriraanye Omugga Fulaati+ wansi w’obuyinza bwe.  Dawudi yamuwambako abeebagazi b’embalaasi 1,700 n’abasirikale 20,000 abatambuza ebigere. Embalaasi zonna ezisika amagaali Dawudi yazitema enteega, n’alekawo embalaasi 100 zokka.+  Abasuuli ab’omu Ddamasiko+ bwe baagenda okudduukirira Kadadezeri kabaka wa Zoba, Dawudi n’abattamu abantu 22,000.+  Oluvannyuma Dawudi yateeka enkambi z’abasirikale mu Busuuli omuli ekibuga Ddamasiko, Abasuuli ne bafuuka baweereza be, ne bamuwanga omusolo. Yakuwa yawanga Dawudi obuwanguzi* yonna gye yagendanga.+  Era Dawudi yaggya ne ku baweereza ba Kadadezeri engabo enneetooloovu eza zzaabu n’azitwala e Yerusaalemi.+  Ate era Kabaka Dawudi yaggya ekikomo kingi nnyo mu Beta ne mu Berosa, ebibuga bya Kadadezeri.  Awo Kabaka Toowu owa Kamasi+ n’awulira nti Dawudi yali awangudde eggye lyonna erya Kadadezeri.+ 10  Toowu n’atuma mutabani we Yolaamu eri Kabaka Dawudi okumubuuza bw’ali n’okumukulisa olw’okulwanyisa Kadadezeri n’amuwangula, (kubanga Kadadezeri yalwanyisanga nnyo Toowu), era yamutwalira n’ebintu ebya zzaabu ne ffeeza n’ekikomo. 11  Ebyo nabyo Kabaka Dawudi yabiwaayo* eri Yakuwa awamu ne ffeeza ne zzaabu bye yali aggye mu mawanga gonna ge yali awangudde:+ 12  mu Busuuli, mu Mowaabu,+ ku Baamoni, ku Bafirisuuti,+ ku Bamaleki,+ ne ku Kadadezeri+ mutabani wa Lekobu, kabaka wa Zoba. 13  Ate era Dawudi yeefunira erinnya bwe yakomawo ng’amaze okutta Abeedomu 18,000 mu Kiwonvu ky’Omunnyo.+ 14  Yateeka enkambi z’abasirikale mu Edomu. Mu Edomu yonna yateekamu enkambi z’abasirikale, era Abeedomu bonna baafuuka baweereza ba Dawudi.+ Yakuwa yawanga Dawudi obuwanguzi* yonna gye yagendanga.+ 15  Dawudi yafuga Isirayiri yonna,+ era yalamulanga abantu be bonna mu bwenkanya ne mu butuukirivu.+ 16  Yowaabu+ mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w’eggye, ate Yekosafaati+ mutabani wa Akirudi ye yawandiikanga ebyabangawo. 17  Zadooki+ mutabani wa Akitubu ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona, ate Savusa ye yali omuwandiisi. 18  Benaya+ mutabani wa Yekoyaada ye yali akulira Abakeresi n’Abaperesi;+ ate batabani ba Dawudi baali bakungu ab’oku ntikko.*

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “obulokozi.”
Oba, “yabitukuza.”
Oba, “obulokozi.”
Obut., “bafuuka bakabona.”