Eby’Abaleevi 1:1-17

  • Ekiweebwayo ekyokebwa (1-17)

1  Awo Yakuwa n’ayita Musa n’ayogera naye ng’asinziira mu weema ey’okusisinkaniramu,+ n’amugamba nti:  “Yogera n’Abayisirayiri* obagambe nti, ‘Omuntu yenna mu mmwe bw’anaabanga ow’okuwaayo ekiweebwayo eri Yakuwa okuva mu bisolo eby’awaka, anaawangayo ekiweebwayo kye okuva mu nte oba mu ndiga n’embuzi.+  “‘Ekiweebwayo kye bwe kibanga ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente, anaawangayo ente ennume ennamu obulungi.+ Anaagiwangayo kyeyagalire+ mu maaso ga Yakuwa ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu.  Anaateekanga omukono gwe ku mutwe gw’ensolo ey’ekiweebwayo ekyokebwa, era enekkirizibwanga ku lulwe okusobola okutangirira ebibi bye.  “‘Ente ento ennume enettirwanga mu maaso ga Yakuwa, era batabani ba Alooni, bakabona,+ banaatwalanga omusaayi ne bagumansira ku njuyi zonna ez’ekyoto+ ekiri ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu.  Ensolo ey’ekiweebwayo ekyokebwa eneebaagibwanga n’esalibwamu ebitundutundu.+  Batabani ba Alooni, bakabona, banaaleetanga omuliro ku kyoto+ ne baguteekako enku.  Batabani ba Alooni, bakabona, banaateekanga ebitundutundu by’ekiweebwayo+ awamu n’omutwe, n’amasavu* ku nku eziri ku muliro ku kyoto.  Ebyenda byayo n’amagulu gaayo* binaayozebwanga n’amazzi; era byonna kabona anaabyokeranga ku kyoto okuba ekiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro, eky’evvumbe eddungi.*+ 10  “‘Ekiweebwayo ky’awaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa bwe kibanga kya ndiga ento ennume oba embuzi,+ anaawangayo ennume ennamu obulungi.+ 11  Enettirwanga ku luuyi lw’ekyoto olw’ebukiikakkono mu maaso ga Yakuwa, era batabani ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez’ekyoto.+ 12  Kabona anaagisalangamu ebitundutundu n’abiteeka ku nku eziri ku muliro ku kyoto awamu n’omutwe gwayo n’amasavu gaayo.* 13  Ebyenda n’amagulu anaabyozanga n’amazzi, era byonna kabona anaabitwalanga n’abyokera ku kyoto. Ekyo kiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro, eky’evvumbe eddungi.* 14  “‘Kyokka bw’anaabanga ow’okuwaayo ebinyonyi ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Yakuwa, anaawangayo ejjiba oba enjiibwa ento.+ 15  Kabona anaakireetanga ku kyoto n’akiyuza obulago n’akyokera ku kyoto, naye omusaayi gwakyo gunaatonnyolokokeranga ku mabbali g’ekyoto. 16  Anaakimaanyangako ebyoya n’akiggyamu ekisakiro, n’abisuula ku mabbali g’ekyoto ku luuyi olw’ebuvanjuba awateekebwa evvu.*+ 17  Anaakwatanga ebiwaawaatiro byakyo n’akyabuluzaamu, naye takikutulangamu bitundu bibiri. Awo kabona anaakyokeranga ku nku eziri ku muliro ku kyoto. Ekyo kiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro, eky’evvumbe eddungi.*

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “n’abaana ba Isirayiri.”
Oba, “n’amasavu agali ku nsigo.”
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Kino kitegeeza ekitundu ky’okugulu ekya wansi.
Oba, “n’amasavu agali ku nsigo.”
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Laba obugambo obuli wansi ku Kuv 27:3.
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”