Eby’Abaleevi 12:1-8

  • Okutukuzibwa oluvannyuma lw’okuzaala (1-8)

12  Yakuwa era n’agamba Musa nti:  “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Omukazi bw’abanga olubuto n’azaala omwana ow’obulenzi, taabenga mulongoofu okumala ennaku musanvu, nga bw’ataba mulongoofu ng’ali mu nsonga.+  Ku lunaku olw’omunaana omwana anaakomolebwanga.+  Omukazi oyo aneetukuzanga okumala ennaku endala 33 olw’omusaayi oguba gumuvuddemu. Takwatanga ku kintu kyonna ekitukuvu era tajjanga mu kifo ekitukuvu okutuusa lw’anaamalangako ennaku ez’okutukuzibwa kwe.  “‘Bw’azaalanga omwana ow’obuwala, taabenga mulongoofu okumala ennaku 14, nga bwe kiba ng’ali mu nsonga. Aneetukuzanga okumala ennaku endala 66 olw’omusaayi oguba gumuvuddemu.  Ennaku ez’okutukuzibwa kwe bwe zinaggwangako, ez’omwana ow’obulenzi oba ow’obuwala, anaatwalanga eri kabona ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu, endiga ento ennume etasussa mwaka gumu ey’ekiweebwayo ekyokebwa,+ n’enjiibwa ento oba ejjiba ery’ekiweebwayo olw’ekibi.  Kabona anaabiwangayo mu maaso ga Yakuwa n’atangirira omukazi oyo, era omukazi oyo anaabanga alongooseddwa okuva mu butali bulongoofu olw’omusaayi ogwamuvaamu. Lino lye tteeka erikwata ku mukazi aba azadde omwana ow’obulenzi oba ow’obuwala.  Naye bw’abanga tasobola kuwaayo ndiga, anaatwalanga amayiba abiri oba enjiibwa bbiri ento,+ emu nga ya kiweebwayo ekyokebwa ate endala nga ya kiweebwayo olw’ekibi, era kabona anaamutangiriranga n’aba mulongoofu.’”

Obugambo Obuli Wansi