Eby’Abaleevi 14:1-57

  • Okutukuzibwa kw’omuntu awonye ebigenge (1-32)

  • Okutukuzibwa kw’ennyumba erimu ebigenge (33-57)

14  Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti:  “Lino lye tteeka erikwata ku mugenge erinaagobererwanga ku lunaku lw’anaalangirirwanga nti mulongoofu, lw’anaatwalibwanga eri kabona.+  Kabona anaagendanga ebweru w’olusiisira n’amukebera. Omugenge bw’abanga awonye endwadde ye ey’ebigenge,  kabona anaamulagiranga okuleeta ebinyonyi bibiri ebiramu, akatabi k’omuti gw’entolokyo, wuzi emmyufu, n’akaganda k’obuti bwa ezobu eby’okukozesa okumutukuza.+  Kabona anaalagiranga ne battira ekinyonyi ekimu mu kibya eky’ebbumba omuli amazzi agaseneddwa ku mazzi agakulukuta.  Naye anaddiranga ekinyonyi ekiramu, akatabi k’omuti gw’entolokyo, ne wuzi emmyufu, n’akaganda k’obuti bwa ezobu, n’abinnyika mu musaayi gw’ekinyonyi kye battidde mu kibya eky’ebbumba omubadde amazzi agaaseneddwa ku mazzi agakulukuta.  Awo anaamansiranga omusaayi emirundi musanvu ku oyo atukuzibwa olw’endwadde y’ebigenge, era anaamulangiriranga nti mulongoofu, n’ata ekinyonyi ekiramu ne kigenda ku ttale.+  “Oyo atukuzibwa anaayozanga ebyambalo bye, n’amwako enviiri ze zonna, n’anaaba amazzi, olwo n’aba mulongoofu. Oluvannyuma ayinza okuyingira mu lusiisira, naye anaabeeranga ebweru wa weema ye okumala ennaku musanvu.  Ku lunaku olw’omusanvu anaamwangako enviiri zonna ez’oku mutwe gwe, n’ebirevu, n’ebisige. Bw’anaamalanga okumwako enviiri ze zonna, anaayozanga ebyambalo bye n’anaaba amazzi, n’aba mulongoofu. 10  “Ku lunaku olw’omunaana anaatwalanga endiga ento ennume bbiri ennamu obulungi, n’endiga emu enkazi ennamu obulungi+ etasussa mwaka gumu, n’ebitundu bisatu bya kkumi ebya efa* y’obuwunga obutaliimu mpulunguse okuba ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke etabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni,+ ne logu* emu ey’amafuta g’ezzeyituuni;+ 11  kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu anaatwalanga omuntu oyo atukuzibwa, awamu n’ebiweebwayo, mu maaso ga Yakuwa ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu. 12  Kabona anaddiranga endiga emu ento ennume n’agiwaayo ng’ekiweebwayo olw’omusango,+ awamu ne logu y’amafuta g’ezzeyituuni, era anaabiwuubawuubanga ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Yakuwa.+ 13  Anattiranga endiga ento ennume mu kifo ekitukuvu awattirwa ensolo y’ekiweebwayo olw’ekibi+ n’ey’ekiweebwayo ekyokebwa, kubanga okufaananako ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekiweebwayo olw’omusango nakyo kya kabona.+ Kintu kitukuvu nnyo.+ 14  “Kabona anaddiranga ogumu ku musaayi gw’ekiweebwayo olw’omusango n’aguteeka ku kutu okwa ddyo okw’oyo atukuzibwa, ne ku ngalo ensajja ey’oku mukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’okugulu kwe okwa ddyo. 15  Kabona anaddiranga logu y’amafuta g’ezzeyituuni+ n’afukako matono mu kibatu kye ekya kkono. 16  Kabona anannyikanga olugalo lwe olw’oku mukono gwe ogwa ddyo mu mafuta agali mu kibatu kye ekya kkono n’amansira agamu ku go n’olugalo lwe emirundi musanvu mu maaso ga Yakuwa. 17  Agamu ku mafuta g’ezzeyituuni aganaabanga gasigadde mu kibatu kye, kabona anaagateekanga ku kutu okwa ddyo okw’oyo atukuzibwa, ne ku ngalo ensajja ey’oku mukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’okugulu kwe okwa ddyo, awaateekeddwa omusaayi ogw’ekiweebwayo olw’omusango. 18  Amafuta aganaabanga gasigadde mu kibatu kya kabona, anaagateekanga ku mutwe gw’oyo atukuzibwa, era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Yakuwa.+ 19  “Kabona anaawangayo ekiweebwayo olw’ekibi+ n’atangirira oyo atukuzibwa, era oluvannyuma anattanga ensolo y’ekiweebwayo ekyokebwa. 20  Era kabona anaawangayo ku kyoto ekiweebwayo ekyokebwa n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke,+ n’amutangirira,+ era anaabanga mulongoofu.+ 21  “Naye bw’abanga omwavu nga talina busobozi, atwalanga endiga emu ento ennume ng’ekiweebwayo olw’omusango n’akiwuubawuuba okusobola okwetangirira, n’ekimu kya kkumi ekya efa* y’obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni ng’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ne logu y’amafuta g’ezzeyituuni, 22  n’amayiba abiri oba enjiibwa bbiri ento, okusinziira ku busobozi bwe. Ekinyonyi ekimu kinaaweebwangayo ng’ekiweebwayo olw’ekibi, ate ekirala ng’ekiweebwayo ekyokebwa.+ 23  Ku lunaku olw’omunaana+ anaabireetanga eri Kabona ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu, mu maaso ga Yakuwa,+ asobole okulangirirwa nti mulongoofu. 24  “Kabona anaddiranga endiga ento ennume ey’ekiweebwayo olw’omusango+ ne logu y’amafuta g’ezzeyituuni, n’abiwuubawuuba ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Yakuwa.+ 25  Anattanga endiga ento ennume ey’ekiweebwayo olw’omusango, n’addira ogumu ku musaayi gwayo n’aguteeka ku kutu okwa ddyo okw’oyo atukuzibwa, ne ku ngalo ensajja ey’oku mukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’okugulu kwe okwa ddyo.+ 26  Kabona anaafukanga agamu ku mafuta g’ezzeyituuni mu kibatu kye ekya kkono,+ 27  era anaamansiranga n’olugalo lwe olw’oku mukono gwe ogwa ddyo agamu ku mafuta agali mu kibatu kye ekya kkono emirundi musanvu mu maaso ga Yakuwa. 28  Era kabona anaateekanga agamu ku mafuta g’ezzeyituuni agali mu kibatu kye ku kutu okwa ddyo okw’oyo atukuzibwa, ne ku ngalo ensajja ey’oku mukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’okugulu kwe okwa ddyo we yatadde omusaayi ogw’ekiweebwayo olw’omusango. 29  Kabona anaateekanga amafuta aganaabanga gasigadde mu kibatu kye ku mutwe gw’oyo atukuzibwa, okusobola okumutangirira mu maaso ga Yakuwa. 30  “Kabona anaawangayo erimu ku mayiba oba emu ku njiibwa ento okusinziira ku busobozi bw’oyo atukuzibwa;+ 31  ebyo by’anaabanga asobodde okuleeta binaweebwangayo, ekimu ng’ekiweebwayo olw’ekibi ate ekirala ng’ekiweebwayo ekyokebwa+ awamu n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke; era oyo atukuzibwa kabona anaamutangirira mu maaso ga Yakuwa.+ 32  “Eryo lye tteeka erikwata ku oyo anaabanga awonye ebigenge naye nga talina busobozi kufuna ebyo ebyetaagisa okusobola okutukuzibwa.” 33  Awo Yakuwa n’agamba Musa ne Alooni nti: 34  “Bwe mutuukanga mu nsi ya Kanani+ gye mbawa okuba obutaka bwammwe,+ ne ndeka endwadde y’ebigenge+ okujja ku nnyumba zammwe mu nsi eyo, 35  nnannyini nnyumba anaagendanga eri kabona n’amugamba nti, ‘Waliwo ekintu ku nnyumba yange ekiringa endwadde y’ebigenge.’ 36  Kabona anaalagiranga ne baggyamu ebintu byonna mu nnyumba nga tannajja kukebera kintu ekyo, aleme kulangirira nti ebintu byonna ebiri mu nnyumba si birongoofu; oluvannyuma kabona anaayingiranga n’akebera ennyumba. 37  Anaakeberanga awali ekintu ekyo, era ebisenge by’ennyumba bwe bibangako amabala aga kacungwa oba amamyukirivu, era nga galabika gayingidde mu kisenge, 38  kabona anaafulumanga mu nnyumba n’agiggala okumala ennaku musanvu.+ 39  “Kabona anaakomangawo ku lunaku olw’omusanvu n’akebera ennyumba. Ekirwadde ekiri ku bisenge by’ennyumba bwe kibanga kibunye, 40  kabona anaalagiranga ne baggyamu amayinja agaliko ekirwadde, ne gasuulibwa ebweru w’ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu. 41  Era anaalagiranga ne bakolokota ennyumba yonna munda, era byonna ebikolokoteddwamu binaayiibwanga ebweru w’ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu. 42  We baggye amayinja banaateekangawo amalala ne baddamu ne bagasiba era ne baddamu ne bagikuba pulasita. 43  “Naye ekirwadde bwe kinaakomangawo mu nnyumba oluvannyuma lw’okugiggyamu amayinja n’okugikolokota era n’okugikubako pulasita omulala, 44  kabona anaayingiranga mu nnyumba eyo n’agikebera. Ekirwadde bwe kibanga kibunye mu nnyumba, ebyo bigenge ebikwata+ ebiri mu nnyumba. Si nnongoofu. 45  Anaalagiranga ne bamenya ennyumba, ne batwala amayinja gaayo n’embaawo zaayo ne pulasita waayo n’ebintu ebirala, ebweru w’ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu.+ 46  Era omuntu yenna anaayingiranga mu nnyumba mu nnaku z’eba ng’ekyaggaliddwa+ taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi;+ 47  omuntu yenna aneebakanga mu nnyumba eyo, era n’oyo anaaliiranga mu nnyumba eyo, anaayozanga ebyambalo bye. 48  “Naye kabona bw’anajjanga n’akebera ennyumba, era n’alaba ng’endwadde tebunye mu nnyumba oluvannyuma olw’okugikubako pulasita omulala, kabona anaagirangiriranga nti nnongoofu, kubanga endwadde eyo eneebanga ewonye. 49  Okusobola okutukuza ennyumba eveeko obutali bulongoofu,* anaafunanga ebinyonyi bibiri, n’akatabi k’omuti gw’entolokyo, ne wuzi emmyufu, n’akaganda k’obuti bwa ezobu.+ 50  Anattiranga ekinyonyi ekimu mu kibya eky’ebbumba omuli amazzi agaseneddwa ku mazzi agakulukuta. 51  Era anaatwalanga akatabi k’omuti gw’entolokyo, n’akaganda k’obuti bwa ezobu, ne wuzi emmyufu, n’ekinyonyi ekiramu, n’abinnyika mu musaayi gw’ekinyonyi ekittiddwa, ne mu mazzi agaseneddwa ku mazzi agakulukuta, n’amansira omusaayi ku nnyumba emirundi musanvu.+ 52  Anaatukuzanga ennyumba eveeko obutali bulongoofu,* ng’akozesa omusaayi gw’ekinyonyi, amazzi agaseneddwa ku mazzi agakulukuta, ekinyonyi ekiramu, akatabi k’omuti gw’entolokyo, akaganda k’obuti bwa ezobu, ne wuzi emmyufu. 53  Anaatanga ekinyonyi ekiramu ne kigenda ku ttale ebweru w’ekibuga n’atangirira ennyumba, era eneebanga nnongoofu. 54  “Eryo lye tteeka erikwata ku ndwadde yonna ey’ebigenge, ekirwadde eky’oku mutwe oba eky’oku kirevu,+ 55  ebigenge eby’oku byambalo+ oba eby’omu nnyumba,+ 56  era erikwata ku bizimba, ku bikakampa, ne ku biba,+ 57  okusobola okumanya ekintu lwe kiba ekirongoofu ne lwe kitaba kirongoofu.+ Eryo lye tteeka erikwata ku bigenge.”+

Obugambo Obuli Wansi

Bisatu bya kkumi ebya efa byali bigyaamu lita 6.6. Laba Ebyong. B14.
Logu yali egyaamu lita 0.31. Laba Ebyong. B14.
Kimu kya kkumi ekya efa kyali kigyaamu lita 2.2. Laba Ebyong. B14.
Obut., “ekibi.”
Obut., “ekibi.”