Eby’Abaleevi 20:1-27

  • Okusinza Moleki; eby’obusamize (1-6)

  • Beera mutukuvu, era wa bazadde bo ekitiibwa (7-9)

  • Okutta abo ababa bakoze eby’obuseegu (10-21)

  • Mubeere batukuvu musigale mu nsi (22-26)

  • Abasamize ba kuttibwa (27)

20  Yakuwa era n’agamba Musa nti:  “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Omuyisirayiri yenna oba omugwira abeera mu Isirayiri anaawangayo abamu ku baana be eri Moleki, anattibwanga.+ Abantu b’omu nsi banaamukubanga amayinja n’afa.  Nja kwolekeza omuntu oyo obwenyi bwange era nja kumusaanyaawo, kubanga anaaba awaddeyo eri Moleki abamu ku baana be, ekifo kyange ekitukuvu+ n’akifuula ekitali kirongoofu, era n’avvoola erinnya lyange ettukuvu.  Singa abantu b’omu nsi mu bugenderevu babuusa amaaso ekikolwa ky’omusajja oyo awaddeyo eri Moleki abamu ku baana be ne batamutta,+  nze kennyini nja kwolekeza obwenyi bwange eri omusajja oyo n’ab’omu maka ge.+ Nja kumutta awamu n’abo bonna abamwegattako mu kwenda ne Moleki.  “‘Omuntu anaagendanga mu basamize+ n’abalaguzi+ n’ayenda nabo mu by’omwoyo, nja kumwolekeza obwenyi bwange mmutte.+  “‘Mwetukuzenga era mubenga batukuvu,+ kubanga nze Yakuwa Katonda wammwe.  Mukwatenga amateeka gange.+ Nze Yakuwa abatukuza.+  “‘Omuntu yenna anaakolimiranga kitaawe oba nnyina, anattibwanga.+ Omusaayi gwe gunaabanga ku ye kubanga akolimidde kitaawe oba nnyina. 10  “‘Omusajja anaayendanga ku muka munne, anattibwanga. Abenzi abo bombi,+ omusajja n’omukazi, banattibwanga. 11  Omusajja aneegattanga ne muka kitaawe anaabanga aweebudde kitaawe.+ Bombi banattibwanga. Omusaayi gwabwe gunaabanga ku bo. 12  Omusajja bw’aneegattanga ne muka mutabani we, bombi banattibwanga. Baba bakoze ekitali kya buzaaliranwa. Omusaayi gwabwe gunaabanga ku bo.+ 13  “‘Omusajja bw’aneegattanga ne musajja munne nga bwe yandyegasse n’omukazi, bombi baba bakoze ekintu eky’omuzizo.+ Banattibwanga. Omusaayi gwabwe gunaabanga ku bo. 14  “‘Omusajja bw’awasanga omukazi ate ne yeegatta ne nnyina w’omukazi oyo, kiba kikolwa kya bugwenyufu.+ Anaayokebwanga omuliro awamu nabo,+ obugwenyufu buleme kweyongera mu mmwe. 15  “‘Omusajja bw’aneegattanga n’ensolo, anattibwanga, era n’ensolo mugittanga.+ 16  Omukazi bw’anaasembereranga ensolo yonna okwegatta nayo,+ muttanga omukazi oyo n’ensolo. Banattibwanga. Omusaayi gwabwe guli ku bo. 17  “‘Omusajja bwe yeegattanga ne mwannyina, muwala wa kitaawe oba muwala wa nnyina, n’alaba obwereere bwe, ne mwannyina naye n’alaba obwereere bwe, kiba kya buswavu.+ Banattibwanga mu maaso g’abantu baabwe. Aba aweebudde mwannyina. Anaabonerezebwanga olw’ekibi kye. 18  “‘Omusajja bw’aneegattanga n’omukazi ali mu nsonga, bombi baba balaze nti omusaayi si mutukuvu gye bali.+ Bombi banattibwanga. 19  “‘Teweegattanga na muganda wa maama wo oba mwannyina kitaawo kubanga oba oweebudde oyo gw’olinako oluganda olw’okumpi.+ Abakola ekyo banaabonerezebwanga. 20  Omusajja aneegattanga ne muka kitaawe omuto anaaba aweebudde kitaawe omuto.+ Banaabonerezebwanga. Balifa tebazadde ku mwana. 21  Omusajja bw’anaawasanga muka muganda we, kinaabanga kya muzizo.+ Aba aweebudde muganda we. Tebalizaala baana. 22  “‘Mukwatenga amateeka gange n’ebiragiro byange byonna,+ ensi gye mbatwalamu okubeeramu ereme okubasesema.+ 23  Temutambuliranga mu mateeka g’amawanga ge ngoba mu maaso gammwe,+ kubanga gakoze ebintu bino byonna era ngakyaye.+ 24  Eno ye nsonga lwaki nnabagamba nti: “Mujja kutwala ensi yaabwe era nze nja kugibawa ebe yammwe, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.+ Nze Yakuwa Katonda wammwe abaawudde ku mawanga amalala.”+ 25  Mwawulanga ensolo ennongoofu ku eyo etali nnongoofu, ekinyonyi ekirongoofu ku kitali kirongoofu;+ temwefuulanga ab’omuzizo olw’ensolo oba ekinyonyi oba ekintu kyonna ekyewalula ku nsi kye nnabaawulirawo mukitwale ng’ekitali kirongoofu.+ 26  Munaabanga batukuvu gye ndi kubanga nze Yakuwa ndi mutukuvu;+ era mbaawula ku mawanga gonna mube bantu bange.+ 27  “‘Omusajja yenna oba omukazi omulubaale oba omulaguzi, anattibwanga.+ Abantu banaamukubanga amayinja n’afa. Omusaayi gwe gunaaba ku ye.’”

Obugambo Obuli Wansi