Eby’Abaleevi 8:1-36

  • Alooni ne batabani be batongozebwa ku bwakabona (1-36)

8  Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti:  “Twala Alooni ne batabani be,+ n’ebyambalo,+ n’amafuta amatukuvu,*+ n’ente ennume ey’ekiweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume ebbiri, n’ekibbo ekirimu emigaati egitali mizimbulukuse,+  era okuŋŋaanyize ekibiina kyonna ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu.”  Awo Musa n’akolera ddala nga Yakuwa bwe yali amulagidde, era ekibiina ne kikuŋŋaanira ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu.  Musa n’agamba ekibiina nti: “Kino Yakuwa ky’atulagidde okukola.”  Awo Musa n’asembeza kumpi Alooni ne batabani be n’abagamba okunaaba n’amazzi.+  Oluvannyuma lw’ekyo, n’ayambaza Alooni ekkanzu,+ n’amusiba eky’okwesiba mu kiwato,+ n’amwambaza ekizibaawo ekitaliiko mikono,+ n’amwambaza efodi+ n’agisiba n’omusipi omuluke*+ ogwa efodi, n’aginyweza.  Awo n’alyoka amussaako eky’omu kifuba,+ n’ateeka Ulimu ne Sumimu+ mu ky’omu kifuba.  N’ateeka ekiremba+ ku mutwe gwe, era mu maaso gaakyo n’ateekako akabaati aka zzaabu akamasamasa, nga ke kabonero akatukuvu ak’okwewaayo eri Katonda,*+ nga Yakuwa bwe yali amulagidde. 10  Awo Musa n’addira amafuta amatukuvu, n’agafuka ku weema ne ku bintu byonna ebyagirimu,+ n’abitukuza. 11  N’amansira agamu ku go emirundi musanvu ku kyoto, ne ku bintu byakyo byonna, ne ku bbenseni ne ku kintu kw’etuula, n’abitukuza. 12  Oluvannyuma yafuka agamu ku mafuta amatukuvu ku mutwe gwa Alooni, n’amutukuza.+ 13  Awo Musa n’asembeza kumpi batabani ba Alooni n’abambaza amakanzu, n’abasiba eby’okwesiba mu kiwato, era n’abassaako eby’oku mutwe,+ nga Yakuwa bwe yali amulagidde. 14  N’aleeta ente ennume ey’ekiweebwayo olw’ekibi,+ Alooni ne batabani be ne bassa emikono gyabwe ku mutwe gwayo. 15  Awo Musa n’agitta, n’annyika olugalo lwe mu musaayi gwayo,+ n’aguteeka ku mayembe g’ekyoto ku njuyi zonna, n’akitukuza, naye omusaayi ogwasigalawo n’aguyiwa ku ntobo y’ekyoto okukitukuza asobole okukitangiririrako ebibi. 16  Oluvannyuma Musa yaddira amasavu gonna agaali ku byenda, n’agaali ku kibumba, n’ensigo ebbiri n’amasavu agaaziriko, n’abyokera ku kyoto.+ 17  Ebyasigalawo ku nte ennume, eddiba lyayo, n’ennyama yaayo, n’obusa bwayo, ne byokerwa ebweru w’olusiisira+ nga Yakuwa bwe yali amulagidde. 18  Awo Musa n’aleeta endiga ennume ey’ekiweebwayo ekyokebwa, Alooni ne batabani be ne bassa emikono gyabwe ku mutwe gwayo.+ 19  Musa n’agitta n’amansira omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez’ekyoto. 20  Endiga n’agisalamu ebitundutundu, n’ayokya omutwe gwayo, n’ebitundutundu byayo, n’amasavu gaayo.* 21  N’ayoza ebyenda byayo n’amagulu gaayo ng’akozesa amazzi, endiga yonna n’agyokera ku kyoto. Kyali kiweebwayo ekyokebwa eky’evvumbe eddungi.* Kyali kiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro, nga Yakuwa bwe yamulagira. 22  Awo n’aleeta endiga ennume ey’okubiri, endiga ey’okuweebwayo ku kutongozebwa ku bwakabona,+ Alooni ne batabani be ne bassa emikono gyabwe ku mutwe gwayo.+ 23  Musa n’agitta, n’addira ogumu ku musaayi gwayo n’aguteeka ku kutu kwa Alooni okwa ddyo ne ku ngalo ensajja ey’oku mukono gwe ogwa ddyo ne ku kigere ekisajja eky’okugulu kwe okwa ddyo. 24  Musa n’aleeta batabani ba Alooni, n’ateeka ogumu ku musaayi ku matu gaabwe aga ddyo ne ku ngalo ensajja ez’oku mikono gyabwe egya ddyo, ne ku bigere ebisajja eby’amagulu gaabwe aga ddyo; naye omusaayi ogwasigalawo Musa n’agumansira ku njuyi zonna ez’ekyoto.+ 25  Awo n’addira amasavu, omukira omusava, n’amasavu gonna agaali ku byenda, n’amasavu agaali ku kibumba, n’ensigo ebbiri n’amasavu agaaziriko, n’okugulu okwa ddyo,+ 26  n’atoola akagaati kamu akeetooloovu*+ akatali kazimbulukuse mu kibbo eky’emigaati egitali mizimbulukuse ekyali mu maaso ga Yakuwa, n’akagaati kamu akeetooloovu akasiigiddwako amafuta,+ n’akagaati kamu ak’oluwewere, n’abuteeka ku masavu ne ku kugulu okwa ddyo. 27  Oluvannyuma lw’ekyo, byonna n’abiteeka mu bibatu bya Alooni n’ebya batabani be n’abiwuubawuuba ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Yakuwa. 28  Awo Musa n’abiggya mu ngalo zaabwe n’abyokera ku kyoto kungulu ku kiweebwayo ekyokebwa. Byali ssaddaaka ey’okutongozebwa ku bwakabona ey’evvumbe eddungi.* Kyali kiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro. 29  Awo Musa n’addira ekifuba n’akiwuubawuuba ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Yakuwa.+ Ogwo gwe gwali omugabo gwa Musa okuva ku ndiga ennume eyaweebwayo ku kutongozebwa ku bwakabona, nga Yakuwa bwe yamulagira.+ 30  Musa n’addira agamu ku mafuta amatukuvu+ n’ogumu ku musaayi ogwali ku kyoto, n’abimansira ku Alooni, ne ku byambalo bye, ne ku batabani ba Alooni abaali naye, ne ku byambalo byabwe. Bw’atyo n’atukuza Alooni n’ebyambalo bye, ne batabani be+ n’ebyambalo byabwe.+ 31  Musa n’agamba Alooni ne batabani be nti: “Mufumbire+ ennyama ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu, era awo we mujja okugiriira awamu n’obugaati obuli mu kibbo ekikozesebwa ku kutongozebwa ku bwakabona, nga bwe nnalagirwa nti, ‘Alooni ne batabani be banaabiryanga.’+ 32  Ennyama n’obugaati ebinaasigalawo mujja kubyokya omuliro.+ 33  Musigale kumpi n’omulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu okumala ennaku musanvu, okutuusa ennaku ez’okutongozebwa kwammwe lwe zinaggwaako, kubanga kijja kutwala ennaku musanvu okubatongoza nga bakabona.*+ 34  Yakuwa yalagira tukole kino kye tukoze olwa leero okusobola okubatangirira.+ 35  Mujja kusigala ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu ennaku musanvu+ emisana n’ekiro, okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwammwe Yakuwa bw’abakwasizza,+ muleme okufa; kubanga bwe ntyo bwe ndagiddwa.” 36  Alooni ne batabani be baakola byonna Yakuwa bye yali alagidde okuyitira mu Musa.

Obugambo Obuli Wansi

Laba obugambo obuli wansi ku Kuv 29:7.
Oba, “ekyesibwa mu kiwato.”
Oba, “engule entukuvu.”
Oba, “n’amasavu agali ku nsigo.”
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Obugaati buno bwabangamu ekituli.
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Obut., “okujjuza omukono gwammwe.”