Eby’Abaleevi 9:1-24

  • Alooni awaayo ebiweebwayo ku kutongozebwa (1-24)

9  Ku lunaku olw’omunaana,+ Musa n’ayita Alooni ne batabani be n’abakadde ba Isirayiri.  Musa n’agamba Alooni nti: “Funa ennyana ey’ekiweebwayo olw’ekibi+ n’endiga ennume ey’ekiweebwayo ekyokebwa, nga zombi nnamu bulungi, oziweeyo eri Yakuwa.  Era ojja kugamba Abayisirayiri nti, ‘Mufune embuzi ennume ebe ekiweebwayo olw’ekibi, n’ennyana n’endiga ento ennume, nga buli emu ya mwaka gumu, nga nnamu bulungi, zibe ekiweebwayo ekyokebwa,  n’ente ennume n’endiga ennume zibe ssaddaaka ez’emirembe,+ ziweebweyo eri Yakuwa, n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke+ ekitabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, kubanga leero Yakuwa lw’ajja okulabika gye muli.’”+  Awo ne batwala mu maaso g’omulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu byonna Musa bye yali alagidde. Ekibiina kyonna ne kijja ne kiyimirira mu maaso ga Yakuwa.  Awo Musa n’agamba nti: “Kino Yakuwa ky’abalagidde okukola, ekitiibwa kya Yakuwa kiryoke kirabike gye muli.”+  Awo Musa n’agamba Alooni nti: “Genda ku kyoto oweeyo ekiweebwayo kyo olw’ekibi+ n’ekiweebwayo kyo ekyokebwa, otangirire ebibi byo+ n’eby’ab’ennyumba yo, era oweeyo n’ekiweebwayo ky’abantu+ otangirire ebibi byabwe,+ nga Yakuwa bw’alagidde.”  Amangu ago Alooni n’agenda ku kyoto n’atta ennyana ey’ekiweebwayo olw’ebibi bye.+  Oluvannyuma batabani ba Alooni baamuwa omusaayi,+ n’annyika olugalo lwe mu musaayi, n’aguteeka ku mayembe g’ekyoto, era ogwasigalawo n’aguyiwa ku ntobo y’ekyoto.+ 10  Amasavu, ensigo, n’amasavu ag’oku kibumba ebyaggibwa ku nsolo ey’ekiweebwayo olw’ekibi yabyokera ku kyoto, nga Yakuwa bwe yalagira Musa.+ 11  Kyokka ennyama n’eddiba yabyokya omuliro ebweru w’olusiisira.+ 12  Oluvannyuma yatta ensolo y’ekiweebwayo ekyokebwa, batabani be ne bamuwa omusaayi, n’agumansira ku njuyi zonna ez’ekyoto.+ 13  Baamuwa n’omutwe n’ebitundu ebirala eby’ekiweebwayo ekyokebwa, n’abyokera ku kyoto. 14  Ate era yayoza n’ebyenda n’amagulu n’abyokera ku kyoto kungulu ku kiweebwayo ekyokebwa. 15  Awo n’aleeta ekiweebwayo ky’abantu era n’addira embuzi ey’ekiweebwayo olw’ebibi by’abantu n’agitta n’agiwaayo ng’ekiweebwayo olw’ekibi nga bwe yawaayo eyasooka. 16  Era yawaayo ekiweebwayo ekyokebwa ng’agoberera enkola eya bulijjo.+ 17  Oluvannyuma yaleeta ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke+ n’ayoolako olubatu n’akyokera ku kyoto, ng’ayongereza ku kiweebwayo ekyokebwa eky’oku makya.+ 18  Awo n’atta ente ennume n’endiga ennume ebya ssaddaaka ey’emirembe ku lw’abantu. Batabani ba Alooni ne bamuwa omusaayi n’agumansira ku njuyi zonna ez’ekyoto.+ 19  Ate go amasavu ag’ente ennume,+ n’omukira omusava ogw’endiga ennume, n’amasavu ag’oku bitundu eby’omunda, n’ensigo, n’amasavu ag’oku kibumba,+ 20  baabiteeka ku kifuba ky’ensolo, oluvannyuma amasavu ago n’agookera ku kyoto.+ 21  Naye ekifuba n’okugulu okwa ddyo Alooni yabiwuubawuuba ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Yakuwa, nga Yakuwa bwe yalagira Musa.+ 22  Awo Alooni n’ayimusa emikono gye eri abantu n’abawa omukisa,+ n’akka wansi oluvannyuma lw’okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekiweebwayo ekyokebwa, ne ssaddaaka ez’emirembe. 23  Awo Musa ne Alooni ne bayingira mu weema ey’okusisinkaniramu, ne bafuluma, ne bawa abantu omukisa.+ Ekitiibwa kya Yakuwa ne kirabika eri abantu bonna,+ 24  era omuliro ne guva eri Yakuwa+ ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa n’amasavu agaali ku kyoto. Abantu bonna bwe baakiraba, ne baleekaana olw’essanyu ne bavunnama ku ttaka.+

Obugambo Obuli Wansi