Abafiripi 1:1-30

  • Okulamusa (1, 2)

  • Yeebaza Katonda; Essaala ya Pawulo (3-11)

  • Amawulire amalungi gabuulirwa wadde nga waliwo okukugirwa (12-20)

  • Okuba omulamu kwe kugoberera Kristo, okufa ge magoba (21-26)

  • Mweyise mu ngeri egwanira amawulire amalungi (27-30)

1  Nze Pawulo ne Timoseewo, abaddu ba Kristo Yesu, mpandiikira abatukuvu bonna abali obumu ne Kristo Yesu ab’omu Firipi,+ awamu n’abalabirizi era n’abaweereza:+  Ekisa eky’ensusso n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeere nammwe.  Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira,  buli lwe nneegayirira ku lwammwe mmwenna. Nneegayirira n’essanyu,+  olw’ebyo bye mukoze ku lw’amawulire amalungi okuviira ddala ku lunaku olwasooka okutuusa kati.  Ndi mukakafu nti, oyo eyatandika omulimu guno omulungi mu mmwe ajja kugukola agumalirize+ okutuuka ku lunaku lwa Kristo Yesu.+  Kituufu nze okubalowoozaako bwe ntyo mmwenna, kubanga mundi ku mutima, era mmwenna mugabana nange ekisa eky’ensusso, mu kusibibwa kwange+ ne mu kulwanirira amawulire amalungi era n’okuganyweza okuyitira mu mateeka.+  Katonda y’anjulira nti njagala nnyo okubeera nammwe mmwenna mu kwagala okulinga okwa Kristo Yesu.  Era kino kye nneeyongera okusaba, nti okwagala kwammwe kweyongere+ awamu n’okumanya okutuufu+ era n’okutegeera mu bujjuvu+ Katonda by’ayagala; 10  musobole okumanya ebintu ebisinga obukulu,+ muleme kubaako kya kunenyezebwa era nga temwesittaza balala+ okutuusa ku lunaku lwa Kristo; 11  era mubale ebibala bingi eby’obutuukirivu okuyitira mu Yesu Kristo,+ Katonda alyoke aweebwe ekitiibwa era atenderezebwe. 12  Ab’oluganda, kaakano njagala mumanye nti ebintu ebintuuseeko biviiriddeko amawulire amalungi okubunyisibwa mu kifo ky’okuziyizibwa, 13  ne kiba nti kimanyiddwa+ mu Bakuumi ba Kabaka bonna n’eri abalala bonna nti nnasibibwa+ olw’okukkiririza mu Kristo. 14  Ab’oluganda abasinga obungi mu Mukama waffe bafunye obugumu olw’okusibibwa kwange, era booleka obuvumu nga babuulira ekigambo kya Katonda awatali kutya. 15  Kyo kituufu nti abamu babuulira ebikwata ku Kristo olw’obuggya n’olw’okuvuganya, naye abalala bakikola mu mwoyo mulungi. 16  Abo abakikola mu mwoyo omulungi babuulira ebikwata ku Kristo mu kwagala, kubanga bamanyi nti nnateekebwa wano okulwanirira amawulire amalungi;+ 17  naye bali bakikola lwa kuvuganya, nga tebalina kiruubirirwa kirungi kubanga baagala kundeetera nnaku mu busibe bwange. 18  Kiki ekivaamu? Mu buli ngeri yonna, ka kibe mu bukuusa oba mu mazima, Kristo abuulirwa, era kino kinsanyusa. Mu butuufu, nja kweyongera okusanyuka, 19  kubanga mmanyi nti kino kijja kunviiramu obulokozi okuyitira mu kwegayirira kwammwe+ n’olw’obuyambi bw’omwoyo gwa Yesu Kristo.+ 20  Kino kikwatagana n’okwesunga okungi kwe nnina awamu n’essuubi nti sijja kuswala mu ngeri yonna, wabula nti okuyitira mu kubuulira n’obuvumu, Kristo ajja kugulumizibwa nga bwe kibadde bulijjo, okuyitira mu mubiri gwange, ka kibe mu bulamu oba mu kufa.+ 21  Gye ndi, okuba omulamu kwe kugoberera Kristo,+ era okufa ge magoba.+ 22  Bwe mba nga ndi wa kweyongera okuba omulamu mu mubiri, kino kye kiba ekibala ky’omulimu gwange; naye eky’okulondako sikimanyisa. 23  Nsobeddwa olw’ebintu bino ebibiri, naye kye njagala kwe kusumululwa mbeere ne Kristo,+ mu butuufu kino kye kisinga.+ 24  Naye okusigala nga ndi mu mubiri kye kisinga okwetaagibwa ku lwammwe. 25  N’olwekyo, olw’okuba ndi mukakafu ku kino, mmanyi nti nja kusigala nga ndi mu mubiri era nja kubeera nammwe mmwenna olw’okukulaakulana kwammwe n’olw’essanyu ery’okukkiriza kwammwe, 26  musobole okusanyuka ennyo mu Kristo Yesu olw’okuba nja kuba nzizeemu okuba nammwe. 27  Naye mweyise* mu ngeri egwanira amawulire amalungi agakwata ku Kristo,+ kibe nti, ne bwe mba nzize okubalaba oba nga sizze, nsobole okuwulira ebibakwatako nti muli banywevu mu mwoyo gumu,+ nga muli omuntu omu mu kulwanirira okukkiriza okwesigamiziddwa ku mawulire amalungi, 28  era nga temutiisibwatiisibwa balabe bammwe. Ekintu kino kyennyini bukakafu obulaga nti bajja kuzikirizibwa+ naye nti mmwe mujja kulokolebwa;+ era kino kiva eri Katonda. 29  Kubanga mwaweebwa enkizo, si ey’okukkiririza mu Kristo yokka, naye era n’ey’okubonaabona ku lulwe.+ 30  Kubanga muli mu lutalo lwe lumu ng’olwo lwe mwalaba nga nnwana,+ era lwe muwulira nti nkyalwana.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “mweyise ng’abatuuze.”