Abaruumi 12:1-21
12 N’olwekyo ab’oluganda, mbeegayirira olw’obusaasizi bwa Katonda, okuwaayo emibiri gyammwe+ nga ssaddaaka ennamu, entukuvu,+ era esiimibwa Katonda, musobole okutuukiriza obuweereza obutukuvu nga mukozesa obusobozi bwammwe obw’okulowooza.+
2 Mulekere awo okutwalirizibwa enteekateeka y’ebintu eno,* naye mukyusibwe nga mufuna endowooza empya,+ mulyoke mwekakasize+ ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.
3 Okuyitira mu kisa eky’ensusso ekyandagibwa, ntegeeza buli omu ku mmwe obuteetwala nti wa waggulu nnyo,+ naye alage nti alina endowooza ennuŋŋamu, okusinziira ku kukkiriza Katonda kw’amuwadde.+
4 Kubanga nga bwe tulina ebitundu ebingi ku mubiri ogumu,+ naye nga tebikola mulimu gwe gumu,
5 era naffe wadde tuli bangi, tuli omubiri gumu mu Kristo, naye kinnoomu tuli bitundu bya mubiri, nga buli kimu kyetaaga kinnaakyo.+
6 Kale, okuva bwe tulina ebirabo eby’enjawulo okusinziira ku kisa eky’ensusso ekyatulagibwa,+ bwe kiba kirabo kya kwogera bya bunnabbi, ka twogere eby’obunnabbi okusinziira ku kukkiriza okwatuweebwa;
7 bwe kuba kuweereza, ka tweyongere okuweereza; oyo ayigiriza yeeyongere okuyigiriza;+
8 oyo azzaamu abalala amaanyi* yeeyongere okubazzaamu amaanyi;*+ oyo agaba agabenga n’omutima gumu;+ oyo awa obulagirizi* abuwenga n’obunyiikivu;+ oyo asaasira asaasirenga n’omutima gwonna.+
9 Okwagala kwammwe ka kulemenga kuba kwa bunnanfuusi.+ Mukyawe ebintu ebibi,+ munywerere ku birungi.
10 Mu kwagalana ng’ab’oluganda, buli omu ayagalenga nnyo munne. Mu kuwaŋŋana ekitiibwa mmwe muba musooka.+
11 Temuba bagayaavu,+ wabula mubeerenga bakozi nnyo.* Omwoyo ka gubaleetere okuba abanyiikivu.+ Muweereze Yakuwa* ng’abaddu.+
12 Musanyukenga olw’essuubi lye mulina. Mugumiikirizenga nga mubonaabona.+ Munyiikirenga okusaba.+
13 Mugabanenga bye mulina n’abatukuvu ng’obwetaavu bwabwe bwe buli.+ Musembezenga abagenyi.+
14 Abo ababayigganya mubasabirenga emikisa;+ musabirenga abalala emikisa era temukolimanga.+
15 Musanyuke n’abo abasanyuka; mukaabire wamu n’abo abakaaba.
16 Mufe ku balala nga bwe mwefaako; temwegulumizanga, naye mubeerenga beetoowaze.+ Temwetwalanga kuba ba magezi.+
17 Temukolanga muntu n’omu kibi olw’okuba abakoze ekibi.+ Mufeeyo ku bintu abantu bonna bye balaba nti bye bisaana.
18 Mukolenga kyonna kye musobola okuba mu mirembe n’abantu bonna.+
19 Abaagalwa, temuwooleranga ggwanga, naye muleke Katonda y’aba ayoleka obusungu bwe+ kubanga kyawandiikibwa nti: “‘Okuwoolera eggwanga kwange; nze ndisasula,’ Yakuwa bw’agamba.”*+
20 Naye, “omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe eky’okulya; bw’aba alumwa ennyonta muwe eky’okunywa; kubanga bw’okola bw’otyo ojja kuba otuuma amanda agaaka ku mutwe gwe.”*+
21 Tokkirizanga kuwangulwa bintu bibi, naye wangulanga ebintu ebibi ng’okola ebirungi.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “atwala obukulembeze.”
^ Oba, “okubakubiriza.”
^ Oba, “akubiriza abalala.”
^ Oba, “banyiikivu.”
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.
^ Kwe kugamba, okuleetera omuntu okugonda n’alekera awo okuba omukakanyavu.