Abaruumi 13:1-14

  • Okugondera ab’obuyinza (1-7)

    • Okusasula emisolo (6, 7)

  • Okwagala kwe kutuukiriza Amateeka (8-10)

  • Tambula ng’atambula mu budde obw’emisana (11-14)

13  Buli muntu agonderenga ab’obuyinza,+ kubanga tewali buyinza butava eri Katonda;+ ab’obuyinza abaliwo, bali mu bifo byabwe eby’enjawulo ku bwa Katonda.+  N’olwekyo oyo awakanya ab’obuyinza aba awakanya enteekateeka ya Katonda; abo abawakanya enteekateeka ya Katonda bajja kusalirwa omusango.  Abo abafuga batiibwa. Tebatiibwa abo abakola ebirungi, wabula abakola ebintu ebibi.+ Kale oyagala obutatya ba buyinza? Kolanga ebirungi,+ bajja kukutendereza;  kubanga baweereza ba Katonda olw’obulungi bwo. Naye bw’oba ng’okola ebintu ebibi, tya, kubanga tebakwatira bwereere kitala. Baweereza ba Katonda, abawoolera eggwanga okwoleka obusungu bwa Katonda eri oyo akola ebintu ebibi.  N’olwekyo, kibeetaagisa okugondera ab’obuyinza, si lwa kutya kwolekezebwa busungu bwa Katonda kyokka, naye era ne ku lw’omuntu wammwe ow’omunda.+  Eno ye nsonga lwaki nammwe muwa omusolo; kubanga ab’obuyinza baweereza ba Katonda abatuukiriza bulijjo obuweereza bwabwe.  Bonna mubawe bye muteekeddwa okubawa: oyo asaba omusolo, mumuwe omusolo;+ asaba empooza, mumuwe empooza; ayagala okutiibwa, mumutye;+ ayagala okuweebwa ekitiibwa mumuwe ekitiibwa.+  Temubanga na bbanja eri omuntu yenna, wabula mwagalanenga;+ kubanga oyo ayagala muntu munne aba atuukirizza amateeka.+  Kubanga amateeka gano, “Toyendanga,+ tottanga,+ tobbanga,+ teweegombanga,”+ n’amalala gonna, gawumbibwawumbibwako mu bigambo bino: “Oyagalanga muliraanwa* wo nga bwe weeyagala.”+ 10  Omuntu alina okwagala takola munne kibi;+ n’olwekyo, okwagala kutuukiriza amateeka.+ 11  Na kino mukikole, kubanga mumanyi ekiseera kye tulimu, nti essaawa etuuse mmwe okuzuukuka mu tulo,+ kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi n’okusinga mu kiseera we twafuukira abakkiriza. 12  Ekiro kinaatera okuggwaako; olunaku lusembedde. N’olwekyo ka tweyambuleko ebikolwa eby’ekizikiza+ twambale eby’okulwanyisa eby’ekitangaala.+ 13  Tutambule bulungi+ ng’abatambula mu budde obw’emisana, si kubeera mu binyumu, mu kutamiira, mu bwenzi, mu bugwagwa,*+ mu kuyomba n’okukwatibwa obuggya.+ 14  Naye mwambale Mukama waffe Yesu Kristo,+ era temweteekerateekera kukola ebyo omubiri bye gwegomba.+

Obugambo Obuli Wansi

Laba obugambo obuli wansi ku Mat 5:43.
Laba obugambo obuli wansi ku Mak 7:22.