Abaruumi 3:1-31
3 Kati olwo kiki Omuyudaaya ky’asinga abalala, oba okukomolebwa kugasa ki?
2 Abasinga mu ngeri nnyingi. Ekisooka, Abayudaaya baakwasibwa ebigambo bya Katonda ebitukuvu.+
3 Kati olwo tugambe ki? Abamu bwe baba nga tebaayoleka kukkiriza, ekyo kiggyawo obwesigwa bwa Katonda?
4 N’akatono! Naye Katonda ajja kuba wa mazima,+ buli muntu ne bw’aba mulimba,+ nga bwe kyawandiikibwa nti: “Kyova obeera omutuukirivu mu bigambo byo era n’owangula ng’olamulwa.”+
5 Naye bwe kiba nti obutali butuukirivu bwaffe bukyoleka nti Katonda mutuukirivu, tunaagamba ki? Katonda bw’ayoleka obusungu bwe aba alaze obutali bwenkanya? (Njogera ng’omuntu.)
6 Nedda! Bwe kiba nti Katonda si mwenkanya, kati olwo anaasalira atya ensi omusango?+
7 Naye bwe kiba nti olw’obulimba bwange amazima ga Katonda geeyongedde okweyoleka era n’aweebwa ekitiibwa, kati olwo, lwaki nsalirwa omusango ng’omwonoonyi?
8 Lwaki tetugamba ng’abamu bwe batuwaayiriza nga bagamba nti ffe tugamba nti: “Ka tukole ebintu ebibi ebirungi biryoke bijje”? Omusango ogusalirwa abantu abo gwa bwenkanya.+
9 Kati olwo ffe Abayudaaya tusinga abalala? Nedda! Kubanga twagambye nti Abayudaaya n’Abayonaani bonna bafugibwa ekibi;+
10 nga bwe kyawandiikibwa nti: “Tewali muntu mutuukirivu, wadde omu bw’ati;+
11 tewali n’omu ategeera, tewali n’omu anoonya Katonda.
12 Abantu bonna baawaba, bonna wamu bafuuse abatagasa; tewali n’omu alaga kisa, tewali wadde omu bw’ati.”+
13 “Emimiro gyabwe ntaana ezaasamye, ennimi zaabwe zoogera bya bulimba.”+ “Mu kamwa kaabwe mulimu obusagwa bw’emisota.”+
14 “Era akamwa kaabwe kajjudde okukolima n’ebigambo ebyoleka obukyayi.”+
15 “Ebigere byabwe byanguwa okuyiwa omusaayi.”+
16 “Amakubo gaabwe galimu okuzikiriza n’ennaku,
17 era tebamanyi kkubo lya mirembe.”+
18 “Tebatya Katonda.”+
19 Tumanyi nti ebintu byonna Amateeka bye gagamba, gabigamba abo abafugibwa Amateeka, buli kamwa kasobole okusirika era ensi yonna ebe ng’egwanira okubonerezebwa Katonda.+
20 N’olwekyo, tewali ayinza kuyitibwa mutuukirivu mu maaso ge olw’okutuukiriza ebyo amateeka bye galagira,+ kubanga amateeka ge galeetera omuntu okumanya ekibi.+
21 Naye awatali kwesigama ku mateeka, obutuukirivu bwa Katonda bwoleseddwa,+ era kino kyayogerwa mu Mateeka ne mu ebyo ebyawandiikibwa bannabbi;+
22 era abo bonna abalina okukkiriza bafuuka batuukirivu mu maaso ga Katonda olw’okukkiririza mu Yesu Kristo. Kubanga tewaliiwo kusosola.+
23 Kubanga bonna baayonoona ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda,+
24 era baaweebwa buwa ekirabo+ eky’okuyitibwa abatuukirivu olw’ekisa kye eky’ensusso+ era baasumululwa ekinunulo Kristo Yesu kye yasasula.+
25 Katonda yamuwaayo ng’ekiweebwayo ekitangirira+ tusobole okutabagana ne Katonda okuyitira mu kukkiririza mu musaayi gwe.+ Kino Katonda yakikola asobole okulaga nti yali mutuukirivu, kubanga yayoleka obugumiikiriza n’asonyiwa ebibi abantu bye baakola mu biseera eby’emabega,
26 era yayagala n’okulaga nti mutuukirivu mu kiseera kino,+ ng’omuntu akkiririza mu Yesu amuyita mutuukirivu.+
27 Kati olwo waliwo ekintu kyonna ekituuleetera okwenyumiriza? Tekiriiwo. Tteeka ki eritatukkiriza kwenyumiriza? Ery’ebikolwa?+ Nedda, wabula etteeka ery’okukkiriza.
28 Kubanga tukitwala nti omuntu ayitibwa mutuukirivu lwa kukkiriza so si lwa kukola ebyo amateeka bye galagira.+
29 Oba, Katonda wa Bayudaaya bokka?+ Era n’ab’amawanga si ye Katonda waabwe?+ Nabo ye Katonda waabwe.+
30 Era okuva Katonda bw’ali omu,+ abakomole ajja kubayita batuukirivu+ olw’okukkiriza n’abatali bakomole ajja kubayita batuukirivu+ olw’okukkiriza kwabwe.
31 Kati olwo tuggyawo amateeka olw’okukkiriza kwaffe? N’akatono! Wabula tuganyweza bunyweza.+