Abaruumi 6:1-23
6 Kati olwo, tugambe ki? Tweyongere okubeera mu kibi ekisa eky’ensusso kiryoke kyeyongere?
2 Kikafuuwe! Ffe abaafa ku bikwata ku kibi,+ tuyinza tutya okweyongera okukibeeramu?+
3 Oba temumanyi nti ffenna abaabatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu,+ twabatizibwa okuyingira mu kufa kwe?+
4 N’olwekyo, twaziikibwa wamu naye okuyitira mu kubatizibwa kwaffe,+ ne tuyingira mu kufa kwe. Bwe kityo, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu mu maanyi ga* Kitaffe, naffe tusaanidde okutambulira mu bulamu obuggya.+
5 Bwe tuba nga tugattiddwa wamu naye mu kufa okulinga okukwe,+ tujja kugattibwa wamu naye mu kuzuukira okulinga okukwe.+
6 Kubanga tukimanyi nti omuntu waffe ow’edda yakomererwa wamu naye ku muti,+ omubiri gwaffe omwonoonyi guleme kweyongera kutufuga,+ era tuleme kweyongera kubeera baddu ba kibi.+
7 Kubanga oyo afudde aba takyaliko musango gwa kibi.*
8 Ate era, bwe tuba nga twafiira wamu ne Kristo, tukkiriza nti tujja kuba balamu wamu naye.
9 Kubanga tukimanyi nti okuva Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu,+ takyaddamu kufa;+ okufa tekukyamulinako buyinza.
10 Kubanga yafa omulundi gumu okuggyawo ekibi;+ naye obulamu bw’alina abulina asobole okukola Katonda by’ayagala.
11 Mu ngeri y’emu, nammwe mwetwale nti muli bafu ku bikwata ku kibi naye nti muli balamu okusobola okukola Katonda by’ayagala okuyitira mu Kristo Yesu.+
12 N’olwekyo, temuleka kibi kweyongera kufuga nga kabaka mu mibiri gyammwe egifa,+ nga mugondera okwegomba kwagyo.
13 Era temuwaayo mibiri gyammwe eri ekibi okuba eby’okulwanyisa ebitali bya butuukirivu, naye mweweeyo eri Katonda ng’abalamu abaava mu kufa, era emibiri gyammwe mugiweeyo eri Katonda okuba eby’okulwanyisa eby’obutuukirivu.+
14 Ekibi tekirina kubafuga, kubanga temufugibwa mateeka+ wabula mufugibwa ekisa eky’ensusso.+
15 Kati olwo tukole tutya? Tukole ekibi kubanga tetufugibwa mateeka wabula ekisa eky’ensusso?+ N’akatono!
16 Temumanyi nti bwe mwewaayo eri omuntu yenna okumugondera ng’abaddu, muba baddu b’oyo gwe mugondera,+ kwe kugamba, muba baddu ba kibi+ ekireeta okufa+ oba ab’obuwulize obuleeta obutuukirivu?
17 Naye Katonda yeebazibwe kubanga wadde nga mwali baddu ba kibi, mwafuuka bawulize okuva mu mitima eri okuyigiriza okwo kwe mwaweebwa.
18 Okuva bwe mwaggibwa mu buddu bw’ekibi,+ mwafuuka baddu ba butuukirivu.+
19 Olw’obunafu bw’emibiri gyammwe nkozesa ebigambo abantu bye bategeera. Nga bwe mwawaayo emibiri gyammwe okuba abaddu b’obutali bulongoofu n’obujeemu musobole okukola ebikolwa eby’obujeemu, kaakano muweeyo emibiri gyammwe okuba abaddu b’obutuukirivu musobole okukola ebikolwa ebitukuvu.+
20 Kubanga bwe mwali mukyali baddu ba kibi, mwali ba ddembe ku bikwata ku butuukirivu.
21 Mwabalanga kibala ki mu kiseera ekyo? Ebintu ebibakwasa ensonyi kati. Kubanga ebintu ebyo bireeta kufa.+
22 Kyokka olw’okuba mwaggibwa mu buddu bw’ekibi ne mufuuka abaddu ba Katonda, ekibala kye mubala bwe butukuvu bwammwe,+ era kituusa mu bulamu obutaggwaawo.+
23 Kubanga empeera y’ekibi kwe kufa,+ naye ekirabo Katonda ky’agaba bwe bulamu obutaggwaawo+ okuyitira mu Kristo Yesu Mukama waffe.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “kitiibwa kya.”
^ Oba, “aba asumuluddwa mu kibi; aba asonyiyiddwa ekibi.”