Abebbulaniya 3:1-19

  • Yesu asinga Musa (1-6)

    • Katonda ye yakola ebintu byonna (4)

  • Okwegendereza obutaba na kukkiriza (7-19)

    • “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye” (7, 15)

3  Kale ab’oluganda abatukuvu abalina omugabo mu kuyitibwa okw’omu ggulu,+ mulowooze ku mutume era kabona asinga obukulu gwe tukkiririzaamu*—Yesu.+  Yali mwesigwa eri Oyo eyamulonda,+ era nga ne Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba y’Oyo yonna.+  Kubanga ye* agwanira okuweebwa ekitiibwa ekisinga+ ekya Musa, era ng’omuntu azimba ennyumba bw’aba n’ekitiibwa ekisinga eky’ennyumba.  Kya lwatu, buli nnyumba wabaawo eyagizimba, naye eyakola ebintu byonna ye Katonda.  Era Musa yali muweereza mwesigwa mu nnyumba y’Oyo yonna. Obuweereza bwe bwali bujulirwa obw’ebintu ebyali bigenda okwogerwako oluvannyuma.  Naye Kristo yali mwana mwesigwa+ akulira ennyumba ya Katonda. Ffe tuba nnyumba Ye+ bwe tunywerera ku kwogera n’obuvumu ne ku ssuubi lye twenyumiririzaamu okutuukira ddala ku nkomerero.  N’olwekyo, omwoyo omutukuvu gugamba nti:+ “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,  temukakanyaza mitima gyammwe nga bajjajjammwe bwe bansunguwaza, nga bwe baakola ku lunaku lwe bangezesa mu ddungu.+  Bangezesa ate nga baali balabye ebikolwa byange okumala emyaka 40.+ 10  Kyennava nneetamwa omulembe ogwo era ne ŋŋamba nti, ‘Buli kiseera bawaba mu mitima gyabwe era tebategeeranga makubo gange.’ 11  Nnasunguwala ne ndayira nti, ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’”+ 12  Ab’oluganda, mwegendereze waleme kubaawo n’omu ku mmwe afuna omutima omubi ogutalina kukkiriza olw’okuva ku Katonda omulamu;+ 13  naye buli omu abuulirirenga munne buli lunaku ng’ekiseera ekiyitibwa ekya “Leero”+ kikyaliwo, waleme kubaawo akakanyala olw’obulimba bw’amaanyi g’ekibi. 14  Kubanga tujja kukola ebyo Kristo by’akola kasita tunyweza obukakafu bwe twalina olubereberye okutuukira ddala ku nkomerero.+ 15  Nga bwe kigambibwa nti: “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, temukakanyaza mitima gyammwe nga bajjajjammwe lwe bansunguwaza.”+ 16  Baani abaawulira naye ne basunguwaza Katonda? Si beebo bonna abaava e Misiri nga bakulemberwa Musa?+ 17  Era, baani Katonda be yeetamwa okumala emyaka 40?+ Si beebo abaayonoona era emirambo gyabwe ne gigwa mu ddungu?+ 18  Era baani be yalayirira nti tebaliyingira mu kiwummulo kye? Si beebo abaajeema? 19  N’olwekyo, tulaba nti baali tebayinza kukiyingiramu olw’okuba tebaalina kukkiriza.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “twatula.”
Kwe kugamba, Yesu.