Abebbulaniya 6:1-20

  • Mufube okukula (1-3)

  • Abo abagwa baddamu okukomerera Omwana ku muti (4-8)

  • Mubeere n’essuubi ekkakafu (9-12)

  • Ekisuubizo kya Katonda kikakafu (13-20)

    • Ekisuubizo kya Katonda n’ekirayiro kye tebikyuka (17, 18)

6  N’olwekyo, kaakano nga bwe tulese enjigiriza ezisookerwako+ ezikwata ku Kristo, ka tufube okukula,+ tuleme kuddamu kuzimba musingi nate, nga tuyigiriza ebikwata ku kwenenya ebikolwa ebifu, okukkiririza mu Katonda,  okuyigiriza okukwata ku kubatiza, okussaako emikono,+ okuzuukira kw’abafu,+ n’okusala omusango ogw’olubeerera.  Era ekiruubirirwa ekyo tujja kukituukako, Katonda ng’ayagadde.  Abo abamaze okufuna ekitangaala,+ abamaze okulega ku kirabo eky’omu ggulu, abamaze okufuna omwoyo omutukuvu,  era abamaze okulega ku kigambo kya Katonda ekirungi ne ku bintu eby’amaanyi eby’enteekateeka y’ebintu ejja,*  naye ne bagwa,+ tewali ayinza kubaleetera kwenenya nate, kubanga baddamu okukomerera Omwana wa Katonda ne bamuswaza mu lujjudde.+  Ettaka lifuna omukisa okuva eri Katonda bwe linywa enkuba eritonnyako emirundi emingi, ne limerako ebimera ebiriibwa abalirimako.  Naye singa limerako amaggwa n’amatovu, lirekebwa awo era liba linaatera okukolimirwa, era oluvannyuma lyokebwa.  Kyokka, wadde nga twogera bwe tuti, tuli bakakafu nti mmwe abaagalwa mukutte ekkubo erisinga obulungi, ekkubo erinaabaviiramu okufuna obulokozi. 10  Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga erinnya lye,+ bwe mwaweereza abatukuvu era nga mukyeyongera okuweereza. 11  Naye twagala buli omu ku mmwe yeeyongere okwoleka obunyiikivu obwo asobole okuba n’essuubi ekkakafu+ okutuukira ddala ku nkomerero,+ 12  muleme kubeera bagayaavu,+ naye mukoppe abo abafuna* ebisuubizo okuyitira mu kukkiriza ne mu kugumiikiriza. 13  Katonda bwe yawa Ibulayimu ekisuubizo, yeerayirira yekka+ kubanga tewaaliwo amusinga bukulu gwe yali ayinza kulayira. 14  Yagamba nti: “Nja kukuwa omukisa, era nja kukwaza.”+ 15  Era Ibulayimu bwe yamala okwoleka obugumiikiriza, yafuna ekisuubizo ekyo. 16  Kubanga abantu balayira oyo abasinga obukulu era ebirayiro byabwe bye bimalawo enkaayana zonna, kubanga mu mateeka biba ng’akakalu gye bali.+ 17  Mu ngeri y’emu, Katonda bwe yasalawo okulaga abasika b’ekisuubizo+ nti ekigendererwa kye tekikyuka, yakakasa ekigambo kye ng’akola ekirayiro, 18  kibe nti, okuyitira mu bintu ebyo ebibiri ebitakyuka nga mu bino Katonda tayinza kulimba,+ ffe abaddukidde eri obubudamo tusobole okuzzibwamu amaanyi tunywereze ddala essuubi erituweereddwa. 19  Essuubi lye tulina+ liringa ennanga ey’obulamu, kkakafu era linywevu era liyingira mu lutimbe,+ 20  Yesu omusaale waffe gye yayingira ku lwaffe,+ era yafuuka kabona asinga obukulu ow’emirembe n’emirembe nga Merukizeddeeki.+

Obugambo Obuli Wansi

Laba Awanny.
Obut., “abasikira.”