Abeefeso 4:1-32
4 N’olwekyo, nze omusibe+ mu Mukama waffe, mbeegayirira okweyisa+ mu ngeri etuukana n’okuyitibwa kwe mwayitibwa,
2 nga muba beetoowaze,+ nga muba bakkakkamu, nga mugumiikiriza,+ era nga buli omu azibiikiriza munne mu kwagala,+
3 nga mufuba nnyo okukuuma obumu obw’omwoyo mu mirembe egibagatta.+
4 Waliwo omubiri gumu+ n’omwoyo gumu,+ era nga bwe waliwo essuubi limu+ lye mwayitirwa;
5 Mukama waffe omu,+ okukkiriza kumu, okubatizibwa kumu;
6 Katonda omu era nga ye Kitaawe wa bonna, afuga byonna, akolera mu byonna, era ng’ali mu byonna.
7 Kaakano buli omu ku ffe yalagibwa ekisa eky’ensusso okusinziira ku ngeri Kristo gye yageramu ekirabo.+
8 Kyekiva kigamba nti: “Bwe yalinnya waggulu yatwala abawambe; yagaba abantu ng’ebirabo.”+
9 Ekigambo “yalinnya” kitegeeza ki? Kitegeeza nti era yakka wansi, kwe kugamba, ku nsi.
10 Oyo yennyini eyakka era ye yalinnya waggulu+ n’ayisa eggulu lyonna+ asobole okutuukiriza ebintu byonna.
11 Era yawa abamu okuba abatume,+ abalala okuba bannabbi,+ abalala okuba ababuulizi,*+ abalala okuba abasumba, n’abalala okuba abayigiriza,+
12 olw’okutereeza* abatukuvu, okukola omulimu gw’obuweereza, n’okuzimba omubiri gwa Kristo,+
13 okutuusa ffenna lwe tuliba obumu mu kukkiriza ne mu kutegeerera ddala Omwana wa Katonda, nga tulinga omuntu omukulu,+ ne tuba nga tutuuse ku kigero eky’obukulu bwa Kristo.
14 Kale ka tuleme kuba nate baana bato, nga tusuukundibwa ng’abasuukundibwa amayengo era nga tuzzibwa eno n’eri embuyaga eya buli njigiriza+ eziyitira mu bukuusa bw’abantu, ne mu ndowooza ez’obulimba ezikyamya.
15 Naye nga twogera amazima, ka tukule mu bintu byonna mu Kristo omutwe gwaffe+ nga tuyitira mu kwagala.
16 Mu ye, omubiri gwonna+ gugattiddwa wamu era gukolera wamu okuyitira mu buli nnyingo ekola ekiba kyetaagisa. Buli kitundu bwe kikola omulimu gwakyo obulungi, omubiri gukula era ne guzimbibwa mu kwagala.+
17 N’olwekyo, kino kye ŋŋamba era mbakubiriza mu Mukama waffe nti mulekere awo okutambula ng’ab’amawanga bwe batambula+ mu birowoozo byabwe ebitaliimu nsa.+
18 Ebirowoozo byabwe biri mu kizikiza, era beeyawudde ku bulamu obuva eri Katonda olw’obutamanya bwe balimu n’olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe.
19 Olw’okuba tebakyalina nsonyi, beewaayo mu bugwagwa*+ nga balulunkanira okwenyigira mu butali bulongoofu obwa buli ngeri.
20 Naye mwakiyiga era mukimanyi nti Kristo bw’atyo si bw’ali,
21 bwe muba nga ddala mwamuwulira era ne muyigirizibwa okuyitira mu ye, ng’amazima bwe gali mu Yesu.
22 Mwayigirizibwa okweyambulako omuntu omukadde+ akwatagana n’empisa zammwe ez’edda era ayonooneka olw’okwegomba kwe okw’obulimba.+
23 Mulina okweyongera okufuulibwa abaggya mu ndowooza yammwe,*+
24 era mulina okwambala omuntu omuggya+ eyatondebwa nga Katonda bw’ayagala mu butuukirivu obw’amazima ne mu bwesigwa obwa nnamaddala.
25 N’olwekyo, kaakano nga bwe mweyambudde obulimba, mwogere amazima buli muntu eri munne,+ kubanga tuli bitundu bya mubiri gumu.+
26 Musunguwale, naye temwonoona;+ enjuba eremenga okugwa nga mukyali basunguwavu;+
27 temuwanga Mulyolyomi kakisa konna.*+
28 Omubbi alekere awo okubba, wabula afube okukola emirimu, ng’akola emirimu emirungi n’emikono gye+ asobole okubaako ky’ayinza okuwa omuntu ali mu bwetaavu.+
29 Ekigambo ekivundu tekivanga mu kamwa kammwe,+ wabula ekirungi ekisobola okuzimba abalala nga bwe kiba kyetaagisa, kisobole okuganyula abawuliriza.+
30 Ate era temunakuwazanga mwoyo gwa Katonda omutukuvu,+ ogwakozesebwa okubassaako akabonero+ okutuusa ku lunaku lwe mujja okusumululwa ekinunulo.+
31 Mweggyeemu okusiba ekiruyi, okunyiiga,+ okusunguwala, okuyomba, okuvuma,+ awamu na buli kikolwa kyonna ekibi.+
32 Naye mubeerenga ba kisa buli muntu eri munne, nga musaasiragana,+ nga musonyiwagana nga ne Katonda bwe yabasonyiwa okuyitira mu Kristo.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “abalangirizi b’amawulire amalungi.”
^ Oba, “okutendeka.”
^ Oba, “mu maanyi agafuga ebirowoozo byammwe.” Obut., “mu mwoyo gw’ebirowoozo byammwe.”
^ Oba, “mwagaanya.”