Amosi 2:1-16

  • Emisango gisalibwa olw’okujeema okw’omuddiriŋŋanwa (1-16)

2  “Bw’ati Yakuwa bw’agamba,‘“Olwa Mowaabu okujeema emirundi esatu,+ n’olw’okujeema emirundi ena, sirikikyusa,Kubanga yayokya amagumba ga kabaka wa Edomu okufunamu ennoni.   Kyendiva nsindika omuliro mu Mowaabu, Era gulyokya eminaala gya Keriyoosi;+Mowaabu alifiira mu luyoogaano,Mu kulaya enduulu z’olutalo, ne mu kufuuwa eŋŋombe.+   Ndiggya omufuzi* mu Mowaabu,Era abaami baamu bonna ndibattira wamu naye,”+ Yakuwa bw’agamba.’   Bw’ati Yakuwa bw’agamba,‘Olwa Yuda okujeema emirundi esatu,+ n’olw’okujeema emirundi ena, sirikikyusa,Kubanga baaleka amateeka ga* Yakuwa,Era tebaakwata biragiro bye;+Eby’obulimba bajjajjaabwe bye baagoberera nabo bibawabizza.+   Kyendiva nsindika omuliro mu Yuda,Era gulyokya eminaala gya Yerusaalemi.’+   Bw’ati Yakuwa bw’agamba,‘Olwa Isirayiri okujeema emirundi esatu,+ n’olw’okujeema emirundi ena, sirikikyusa,Kubanga batunda omutuukirivu olwa ffeeza,N’omwavu olw’omugogo gw’engatto.+   Balinnyirira emitwe gy’abanaku mu nfuufu y’ensi,+Era baziba ekkubo ly’abawombeefu.+ Omusajja ne kitaawe beegatta n’omuwala omu,Ne bavumaganya erinnya lyange ettukuvu.   Bagalamira ku mabbali ga buli kyoto+ ku ngoye ze baatwala ng’omusingo,+Era omwenge gwe banywera mu nnyumba* za bakatonda baabwe baagufuna ku abo be baatanza.’   ‘Kyokka nze nnazikiriza Abaamoli mu maaso gaabwe,+Abantu abaali abawanvu ng’emiti gy’entolokyo, era abaali ab’amaanyi ng’emiyovu;Nnazikiriza ebibala byabwe waggulu, era ne nzikiriza emirandira gyabwe wansi.+ 10  Nnabaggya mu nsi ya Misiri,+Ne mbatambuza mu ddungu okumala emyaka 40,+Musobole okutwala ensi y’Abaamoli. 11  Abamu ku batabani bammwe nnabalonda okuba bannabbi,+Ate abamu ku bavubuka bammwe ne mbalonda okuba Abanaziri.+ Si bwe kyali, mmwe abantu ba Isirayiri?’ Yakuwa bw’agamba. 12  ‘Naye Abanaziri mwabawanga omwenge okunywa,+Era ne bannabbi ne mubalagira nti: “Temwogera bunnabbi.”+ 13  Kyendiva mbabetentera mu kifo kyammwe,Ng’ekigaali ekijjudde emmere ey’empeke eyaakakungulwa bwe kibetenta ebyo ebiba wansi waakyo. 14  Ow’embiro alibulwa ekifo ky’addukiramu,+Ow’amaanyi amaanyi galimuggwaamu,Era tewali mulwanyi aliwonawo. 15  Omukwasi w’omutego gw’obusaale alidduka,Oyo adduka ennyo talisobola kudduka kwetaasa,Era omwebagazi w’embalaasi talisobola kutaasa bulamu bwe. 16  N’oyo asingayo okuba omuvumu* mu balwanyiAlidduka bukunya ku lunaku olwo,’+ Yakuwa bw’agamba.”

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “omulamuzi.”
Oba, “obulagirizi bwa.”
Oba, “yeekaalu.”
Oba, “N’abo abalina emitima emigumu.”