Amosi 5:1-27
5 “Muwulire ekigambo kino kye njogera nga mbakungubagira* mmwe ennyumba ya Isirayiri:
2 ‘Isirayiri, omuwala embeerera, agudde;Tasobola kusituka nate.
Ayabuliddwa mu nsi ye;Tewali amuyimusa.’
3 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
‘Ekibuga ekigenda mu lutalo nga kirina abantu lukumi kirisigalamu abantu kikumi;Ate ekyo ekigenda nga kirina abantu kikumi kirisigalamu abantu kkumi. Ekyo kye kirituuka ku nnyumba ya Isirayiri.’+
4 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba ennyumba ya Isirayiri:
‘Munnoonye musobole okusigala nga muli balamu.+
5 Temunoonya Beseri,+Temugenda Girugaali+ wadde okusala ensalo okugenda e Beeru-seba,+Kubanga Girugaali kirigenda mu buwaŋŋanguse,+Ate Beseri kirisaanawo.
6 Munoonye Yakuwa musobole okusigala nga muli balamu,+Aleme kubuubuukira nnyumba ya Yusufu ng’omuliro,Ne gwokya Beseri, ne wataba aguzikiza.
7 Obwenkanya mubufudde ekintu ekikaawa ennyo.
Obutuukirivu mubusudde ku ttaka.+
8 Oyo eyakola ekibinja ky’emmunyeenye ekiyitibwa Kima n’ekibinja ky’emmunyeenye ekiyitibwa Kesiri,*+Oyo afuula ekizikiza eky’amaanyi okuba obudde obw’oku makya,Oyo aleetera obudde obw’emisana okukwata ekizikiza ng’obw’ekiro,+Oyo ayita amazzi g’ennyanjaAgayiwe ku lukalu+—Yakuwa lye linnya lye.
9 Ajja kuleeta okuzikiriza okw’amangu ku muntu ow’amaanyi,Bw’atyo azikirize ebigo.
10 Bakyawa abo abanenyeza abantu ku mulyango gw’ekibuga,Era tebaagalira ddala abo aboogera eby’amazima.+
11 Olw’okuba musasuza omwavu w’alimira,Era ne mumuggyako emmere ye ey’empeke ng’empooza,+Temujja kweyongera kubeera mu nnyumba ez’amayinja amateme ze mwazimba,+Era temujja kunywa mwenge oguva mu nnimiro ennungi ez’emizabbibu ze mwasimba.+
12 Mmanyi obujeemu* bwammwe bwe bwenkana obungiEra mmanyi ebibi byammwe bwe biri eby’amaanyi ennyo—Mubonyaabonya omutuukirivu,Mulya enguzi,Era musaliriza abaavu ku mulyango gw’ekibuga.+
13 Kale mu kiseera ekyo ab’amagezi balisirika,Kubanga kiriba kiseera kizibu nnyo.+
14 Munoonye ekirungi so si ekibi,+Musobole okusigala nga muli balamu.+
Olwo Yakuwa Katonda ow’eggye alyoke abeere nammwe,Nga bwe mugamba nti ali nammwe.+
15 Mukyawe ekibi, mwagale ekirungi,+Obwenkanya ka bubeere mu mulyango gw’ekibuga.+
Osanga Yakuwa Katonda ow’eggyeAnaasaasira aba Yusufu abasigaddewo.’+
16 “Kale bw’ati Yakuwa, Yakuwa Katonda ow’eggye, bw’agamba:
‘Mu bibangirizi byonna ebya lukale mulibaamu okukuba ebiwoobe,Ne mu nguudo zonna baligamba nti, “Woowe, woowe!”
Baliyita abalimi bajje bakungubage,N’abakugu mu kukungubaga bajje bakube ebiwoobe.’
17 ‘Mu buli nnimiro ya mizabbibu mulibaamu okukuba ebiwoobe;+Kubanga ndiyita wakati mu ggwe,’ Yakuwa bw’agamba.
18 ‘Zibasanze abo abeesunga olunaku lwa Yakuwa!+
Olunaku lwa Yakuwa lulibabeerera lutya?+
Luliba kizikiza so si kitangaala.+
19 Kiriba ng’omuntu bw’adduka empologoma ate n’asisinkana eddubu,Ate bw’ayingira mu nnyumba ye n’akwata ku kisenge omusota ne gumubojja.
20 Olunaku lwa Yakuwa teruliba kizikiza ekitaliimu kitangaala kyonna?
Teruliba kizikiza ekikutte omutali butangaavu?
21 Saagalira ddala mbaga zammwe era nzinyooma;+Era sisanyukira vvumbe lya ssaddaaka ez’oku nkuŋŋaana zammwe entukuvu.
22 Ne bwe munaawaayo gye ndi ebiweebwayo ebyokebwa n’ebirabo ebiweebwayo,Sijja kubisanyukira;+Era sijja kusiima ssaddaaka zammwe ez’emirembe ez’ensolo eza ssava.+
23 Munzigyeeko oluyoogaano lw’ennyimba zammwe;Era saagala kuwuliriza maloboozi ga bivuga byammwe eby’enkoba.+
24 Obwenkanya ka bukulukute ng’amazzi,+N’obutuukirivu bukulukute ng’omugga ogutakalira.
25 Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayoMu myaka 40 gye mwamala mu ddungu, mmwe ennyumba ya Isirayiri?+
26 Mulitwala Sakusi kabaka wammwe ne Kayiwaani,*Ebifaananyi by’emmunyeenye ya katonda wammwe, bye mwekolera,
27 Era ndibasindika mu buwaŋŋanguse okuyisa e Ddamasiko,’+ oyo ayitibwa Yakuwa Katonda ow’eggye bw’agamba.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “mu luyimba olw’okukungubaga.”
^ Kiyinza okuba nga kye kibinja ky’emmunyeenye ekiyitibwa Oliyoni.
^ Oba, “ebikolwa byammwe eby’obumenyi bw’amateeka.”
^ Bakatonda bano bayinza okuba nga ye mmunyeenye eyitibwa Saturn, eyasinzibwanga nga katonda.