Amosi 8:1-14
8 Kino Yakuwa Mukama Afuga Byonna kye yandaga: Laba! Waaliwo ekisero ky’ebibala eby’omu kiseera eky’omusana.
2 Awo n’ambuuza nti, “Kiki ky’olaba, Amosi?” Ne nziramu nti, “Ekisero ky’ebibala eby’omu kiseera eky’omusana.” Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Enkomerero y’abantu bange Isirayiri etuuse. Sijja kubasonyiwa nate.+
3 ‘Ku lunaku olwo ennyimba z’omu yeekaalu zirifuuka biwoobe,’+ Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba. ‘Walibaawo emirambo mingi egiriba gisuuliddwa buli wamu,+ era tewalibaawo kanyego konna!’
4 Muwulire kino mmwe abalinnyirira omwavu,Era abasaanyaawo omuwombeefu ow’omu nsi,+
5 Abagamba nti, ‘Embaga ey’okuboneka kw’omwezi enaggwaako ddi+ tutere tutunde emmere yaffe ey’empeke,Era ne ssabbiiti+ enaggwaako ddi tutunde emmere ey’empeke?
Tukendeeze efa,*Ate twongere ku buzito bwa sekeri*Tukumpanye omuguzi nga tukozesa minzaani etapima bituufu;+
6 Tugule abanaku olwa ffeezaN’omwavu tumugule olw’omugogo gw’engatto,+Era tutunde emmere etalina mugaso.’
7 Yakuwa alayidde mu kitiibwa kya Yakobo nti,+‘Siryerabira wadde ekimu ku bikolwa byabwe.+
8 Olw’ensonga eno ensi erikankana,Era buli agibeeramu alikungubaga.+
Yonna teribimba ng’Omugga Kiyira,N’etumbiira era n’ekka ng’Omugga Kiyira ogw’e Misiri?’+
9 ‘Ku lunaku olwo,’ Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba,‘Ndireetera enjuba okugwa mu budde obw’ettuntu,Era ndireeta ekizikiza ku nsi ku lunaku olw’omusana.+
10 Embaga zammwe ndizifuula kukungubaga,+N’ennyimba zammwe zonna ndizifuula nnyimba za kukungubaga.
Ebiwato byonna ndibyambaza ebibukutu era emitwe gyonna girimwebwa.
Ndirufuula ng’olunaku olw’okukungubagira omwana eyazaalibwa omu yekka.
Enkomerero y’olunaku olwo ng’eriba mbi nnyo!’
11 Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Laba! Ennaku zijja,‘Lwe ndisindika enjala mu nsi,Enjala etali ya mmere era n’ennyonta etali ya mazzi,Wabula ey’okuwulira ebigambo bya Yakuwa.+
12 Balitambula nga batagala okuva ku nnyanja emu okutuuka ku nnyanja endala,N’okuva ebukiikakkono okutuuka ebuvanjuba.
Balibungeeta nga banoonya ekigambo kya Yakuwa naye tebalikifuna.
13 Ku lunaku olwo abawala abalabika obulungi era n’abalenzi,Balizirika olw’ennyonta;
14 Abo abalayirira mu kibi kya Samaliya,+ era abagamba nti,“Nga katonda wo bw’ali omulamu, ggwe Ddaani!”+
Era nti, “Ng’ekkubo erigenda e Beeru-seba+ bwe liri eddamu!”
Baligwa era tebaliddamu kusituka.’”+