Amosi 9:1-15

  • Tewali alisumattuka musango Katonda gw’asaze (1-10)

  • Ensiisira ya Dawudi ya kuyimusibwa (11-15)

9  Nnalaba Yakuwa+ ng’ayimiridde waggulu w’ekyoto, era n’agamba nti: “Kuba omutwe gw’empagi ennyumba ekankane. Zitemeko emitwe, era abantu abalisigalawo ndibatta n’ekitala. Tewali n’omu alisobola kudduka wadde okuwonawo.+   Ne bwe balisima okutuuka emagombe,*Omukono gwange gulibaggyayo;Ne bwe balirinnya okutuuka mu ggulu,Ndibawanulayo.   Ne bwe balyekweka waggulu ku Kalumeeri,Ndibanoonyaayo ne mbaggyayo.+ Ne bwe balyekweka amaaso gange ne bagenda ku ntobo y’ennyanja,Ndiragira omusota ne gubabojjerayo.   Abalabe baabwe ne bwe balibatwala mu buwambe,Ndiragira ekitala ne kibattira eyo;+Ndibassaako amaaso gange okubatuusaako akabi mu kifo ky’okubawa emikisa.+   Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye, y’akwata ku nsiN’esaanuuka;+ era abantu baamu bonna balikungubaga;+Yonna eribimba ng’Omugga Kiyira,Era erikka ng’Omugga Kiyira ogw’e Misiri.+   ‘Oyo azimba amadaala ge mu ggulu,N’ekizimbe kye waggulu w’ensi;Oyo ayita amazzi g’ennyanjaAgayiwe ku lukalu+—Yakuwa lye linnya lye.’+   ‘Mmwe abantu ba Isirayiri, temuli ng’abaana b’Abakuusi gye ndi?’ Yakuwa bw’agamba. ‘Saggya Isirayiri mu nsi ya Misiri,+N’Abafirisuuti mu Kuleete,+ n’Abasuuli mu Kiri?’+   ‘Laba! Amaaso ga Yakuwa Mukama Afuga Byonna gali ku bwakabaka obukola ebibi,Era alibusaanyaawo okuva ku nsi.+ Kyokka sirisaanyizaawo ddala nnyumba ya Yakobo,’+ Yakuwa bw’agamba.   ‘Kubanga laba! ndagidde,Era ndikuŋŋunta ennyumba ya Isirayiri mu mawanga gonna+Ng’omuntu bw’akuŋŋunta n’akakuŋŋuntaNe wataba jjinja na limu ligwa wansi. 10  Aboonoonyi bonna mu bantu bange balifa n’ekitala,Abo abagamba nti, “Akabi tekalisembera we tuli era tekalitutuukako.”’ 11  ‘Ku lunaku olwo ndiyimusa ensiisira ya Dawudi+ eyagwa,Ndiddaabiriza ebituli byayo,Ndizzaawo ebyayo ebyamenyekamenyeka;Ndiddamu okugizimba n’eba nga bwe yali mu biseera eby’edda,+ 12  Balyoke batwale ebya Edomu ebyasigalawo,+Era n’eby’amawanga gonna agayitibwa erinnya lyange,’ Yakuwa akola bino bw’agamba. 13  ‘Laba! Ennaku zijja,’ Yakuwa bw’agamba,‘Akabala lw’aliyisa akungula;N’asogola ezzabbibu lw’aliyisa omusizi;+Ensozi ziritonnya omwenge omusu,+N’obusozi bwonna bulikulukuta omwenge omusu.*+ 14  Ndikomyawo abantu bange Isirayiri okuva mu buwambe;+Baliddamu okuzimba ebibuga ebyafuulibwa amatongo ne babibeeramu,+Balisimba ennimiro z’emizabbibu ne banywa omwenge gwamu+Era balisimba emiti egy’ebibala ne balya ebibala byagyo.’+ 15  ‘Ndibasimba mu nsi yaabwe,Era tebaliddamu kusimbulwaMu nsi yaabwe gye nnabawa,’+ Yakuwa Katonda wammwe bw’agamba.”

Obugambo Obuli Wansi

Laba Awanny.
Obut., “bulisaanuuka.”