Ebikolwa 14:1-28

  • Okweyongerayongera n’okuyigganyizibwa mu Ikoniyo (1-7)

  • Batwalibwa okuba bakatonda mu Lusitula (8-18)

  • Pawulo akubwa amayinja n’abulako katono okufa (19, 20)

  • Bazzaamu ebibiina amaanyi (21-23)

  • Baddayo mu Antiyokiya eky’omu Busuuli (24-28)

14  Bwe baali mu Ikoniyo, bayingira mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya ne boogera bulungi nnyo, Abayudaaya n’Abayonaani bangi ne bafuuka bakkiriza.  Naye Abayudaaya abatakkiriza ne basiga omutima omubi mu b’amawanga ne babaleetera okukyawa ab’oluganda.+  Pawulo ne Balunabba ne bamala ekiseera kiwanvu nga boogera n’obuvumu olw’okuba baafuna obuyinza okuva eri Yakuwa,* eyawa obujulirwa ku bubaka obukwata ku kisa kye eky’ensusso ng’abasobozesa okukola obubonero n’ebyamagero.+  Naye abantu b’omu kibuga ekyo beeyawulamu, abamu ne badda ku ludda lw’Abayudaaya, abalala ku lw’abatume.  Ab’amawanga n’Abayudaaya awamu n’abafuzi baabwe bwe beekobaana okubayisa obubi n’okubakuba amayinja,+  baategeezebwa ne baddukira mu bibuga by’e Lukawoniya, Lusitula ne Derube, n’ebitundu ebiriraanyeewo.+  Bwe baatuuka eyo, ne beeyongera okubuulira amawulire amalungi.  Mu Lusitula waaliyo omusajja eyazaalibwa ng’ebigere bye birema, era nga tatambulangako.  Omusajja oyo yali atudde ng’awuliriza Pawulo by’ayogera. Pawulo bwe yamutunuulira enkaliriza n’alaba ng’alina okukkiriza okumusobozesa okuwonyezebwa,+ 10  n’amugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Situka oyimirire.” Omusajja n’abuuka n’atandika okutambula.+ 11  Ekibiina ky’abantu bwe kyalaba Pawulo kye yali akoze, ne kyogerera waggulu mu lulimi Olulukawoniya nti: “Bakatonda bafuuse ng’abantu era basse gye tuli!”+ 12  Balunabba ne bamuyita Zewu, ate Pawulo ne bamuyita Kerume kubanga ye yali asinga okwogera. 13  Yeekaalu ya Zewu yali awayingirirwa mu kibuga, era kabona we yaleeta ente ennume n’emige gy’ebimuli ku miryango gy’ekibuga, ng’ayagala okuwaayo ssaddaaka ng’ali wamu n’ekibiina ky’abantu. 14  Naye abatume Balunabba ne Pawulo bwe baakiwulira, ne bayuza ebyambalo byabwe ne badduka ne bagenda mu kibiina ky’abantu nga boogerera waggulu nti: 15  “Lwaki mukola ebintu bino? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe,+ era tubabuulira amawulire amalungi musobole okuleka ebintu bino ebitaliimu, mudde eri Katonda omulamu eyakola eggulu n’ensi n’ennyanja n’ebintu byonna ebibirimu.+ 16  Mu biseera ebyayita yaleka amawanga gonna okutambulira mu makubo gaago,+ 17  wadde nga yeewaako obujulirwa+ ng’akola ebintu ebirungi, gamba, ng’abawa enkuba okuva mu ggulu, ng’abaza emmere mu biseera byayo,+ ng’abawa emmere mu bungi, era ng’ajjuza emitima gyammwe essanyu.”+ 18  Wadde baayogera ebintu ebyo, kaabula kata balemererwe okuziyiza abantu abo okuwaayo ssaddaaka gye bali. 19  Naye Abayudaaya ne bajja nga bava mu Antiyokiya ne mu Ikoniyo ne basendasenda ekibiina ky’abantu,+ ne bakuba Pawulo amayinja ne bamuwalula ne bamutwala ebweru w’ekibuga nga balowooza nti afudde.+ 20  Naye abayigirizwa bwe baamwetooloola, n’asituka n’ayingira mu kibuga. Ku lunaku olwaddako n’agenda ne Balunabba e Derube.+ 21  Bwe baamala okubuulira amawulire amalungi mu kibuga ekyo n’okufuula abantu abatonotono abayigirizwa, ne baddayo mu Lusitula, mu Ikoniyo, ne mu Antiyokiya, 22  ne bagumya abayigirizwa+ era ne babakubiriza okunywerera mu kukkiriza nga babagamba nti: “Tuteekwa okuyita mu kubonaabona kungi+ okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda.” 23  Ate era mu buli kibiina baalonderamu abakadde,+ ne basaba, ne basiiba,+ era ne babakwasa Yakuwa* gwe bakkiriza. 24  Oluvannyuma baayita mu Pisidiya ne batuuka e Panfuliya,+ 25  era bwe baamala okubuulira ekigambo mu Peruga, ne bagenda mu Ataliya. 26  Bwe baava eyo ne basaabala ne bagenda mu Antiyokiya, ab’oluganda gye baali baabakwasiza Katonda okubalaga ekisa kye eky’ensusso okusobola okukola omulimu gwe baali baakamaliriza okukola mu bujjuvu.+ 27  Bwe baatuukayo, ne bakuŋŋaanya ekibiina kyonna, ne bababuulira ebintu bingi Katonda bye yali akoze okuyitira mu bo, era nga bwe yali agguliddewo ab’amawanga oluggi olutuusa ku kukkiriza.+ 28  Ne bamala ebbanga ddene nga bali n’abayigirizwa.

Obugambo Obuli Wansi