Ebikolwa 19:1-41
19 Awo Apolo+ bwe yali mu Kkolinso, Pawulo n’ayita ku lukalu n’agenda mu Efeso.+ Yasangayo abayigirizwa
2 n’ababuuza nti: “Mwafuna omwoyo omutukuvu bwe mwafuuka abakkiriza?”+ Ne bamuddamu nti: “Tetuwulirangako nti waliyo omwoyo omutukuvu.”
3 N’ababuuza nti: “Kati olwo okubatizibwa kwammwe kwali kwa ngeri ki?” Ne bamudamu nti: “Kwali kwa Yokaana.”+
4 Pawulo n’abagamba nti: “Okubatiza kwa Yokaana kaali kabonero akalaga okwenenya,+ ng’agamba abantu bakkirize oyo eyali amuvaako emabega,+ Yesu.”
5 Bwe baakiwulira, ne babatizibwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu.
6 Pawulo bwe yabassaako emikono, ne bafuna omwoyo omutukuvu,+ ne batandika okwogera mu nnimi n’okwogera eby’obunnabbi.+
7 Bonna awamu baali abasajja nga 12.
8 Yagendanga mu kkuŋŋaaniro+ okumala emyezi esatu n’ayogera n’obuvumu, ng’abuulira era ng’akubaganya ebirowoozo n’abantu ku bikwata ku Bwakabaka bwa Katonda.+
9 Naye abamu bwe baagaanira ddala okukkiriza,* nga bavumirira Ekkubo+ mu maaso g’ekibiina ky’abantu, n’abaviira+ n’atwala abayigirizwa, era buli lunaku n’abuuliranga abantu mu kizimbe ky’essomero ly’e Tulaano.
10 Kino yakikolera emyaka ebiri, era abatuuze b’omu ssaza ly’e Asiya bonna, Abayudaaya n’Abayonaani, baawulira ekigambo kya Mukama waffe.
11 Katonda n’akolanga ebyamagero eby’amaanyi ennyo okuyitira mu Pawulo.+
12 Era abantu baatwaliranga abalwadde+ engoye ze n’ebikubiro bye ne bawona, era n’emyoyo emibi ne gibavaako.+
13 Naye abamu ku Bayudaaya abaatambulatambulanga nga bagoba dayimooni, nabo baagezaako okukozesa erinnya lya Mukama waffe Yesu okugoba emyoyo emibi nga bagamba nti: “Nkulagira mu linnya lya Yesu, Pawulo gw’abuulira.”+
14 Waaliwo abaana musanvu aba Sukeva, kabona omukulu Omuyudaaya, abaakolanga kino.
15 Kyokka omwoyo omubi gwabagamba nti: “Yesu ne Pawulo mbamanyi,+ naye mmwe baani?”
16 Awo omusajja eyaliko omwoyo omubi n’ababuukira n’abasinza amaanyi bonna, ne badduka mu nnyumba nga bali bwereere era nga batuusiddwako n’ebisago.
17 Kino ne kimanyibwa Abayudaaya bonna n’Abayonaani abaali babeera mu Efeso, ne batya, era erinnya lya Mukama waffe Yesu ne lyeyongera okugulumizibwa.
18 Bangi ku abo abaali bafuuse abakkiriza bajjanga ne baatula ebikolwa byabwe ebibi mu lujjudde.
19 Ate era bangi ku abo abaakolanga eby’obufuusa baaleeta ebitabo byabwe ne babyokera mu maaso g’abantu bonna.+ Bwe baabalirira omuwendo gwa ssente ezibigula, gwali ebitundu bya ffeeza 50,000.
20 Bwe kityo ekigambo kya Yakuwa* ne kyeyongera okubuna era n’okuba eky’amaanyi.+
21 Ebyo bwe byaggwa, Pawulo n’asalawo nti bw’alimala okuyita mu Masedoniya+ ne mu Akaya ajja kugenda e Yerusaalemi.+ Yagamba nti: “Bwe ndimala okutuukayo nteekwa n’okugenda mu Rooma.”+
22 N’atuma e Masedoniya abantu babiri ku abo abaamuyambanga, Timoseewo+ ne Erasuto,+ ye n’amala ekiseera ng’akyali mu ssaza ly’e Asiya.
23 Mu kiseera ekyo waaliwo akakyankalano ak’amaanyi+ olw’Ekkubo.+
24 Kubanga waaliwo omusajja ayitibwa Demeteriyo eyali omuweesi wa ffeeza, eyakolanga obusabo obutono obwa Atemi, era yasobozesanga abaweesi okufuna amagoba mangi.+
25 Yakuŋŋaanya banne, awamu n’abaweesi abalala n’abagamba nti: “Bannange, mumanyi bulungi nti omulimu guno gutusobozesezza okufuna obugagga.
26 Kaakano mulaba era muwulira nti Pawulo asenzesenze abantu bangi n’abakyusa, si mu Efeso+ mwokka naye ne mu ssaza ly’e Asiya lyonna, ng’agamba nti bakatonda abaakolebwa n’engalo si bakatonda ba ddala.+
27 Eky’akabi kiri nti, ng’oggyeeko okuba nti omulimu gwaffe gujja kunyoomebwa, ne yeekaalu ya katonda omukazi Atemi omukulu, asinzibwa mu ssaza ly’e Asiya lyonna ne mu nsi yonna, ejja kunyoomebwa era n’ekitiibwa kye kiggweewo.”
28 Bwe baawulira ekyo ne basunguwala nnyo, ne batandika okuleekaana nti: “Atemi ow’Abeefeso mukulu nnyo!”
29 Ekibuga kyonna ne kikyankalana, bonna wamu ne badduka ne bagenda mu kifo awalagirwa emizannyo, ne bawalaawala Gayo ne Alisutaluuko+ ab’e Masedoniya abaatambulanga ne Pawulo.
30 Pawulo ye yali ayagala okugenda eri abantu, naye abayigirizwa ne batamukkiriza.
31 N’abamu ku bateesiteesi b’emyoleso n’emizannyo abaali mikwano gye baamutumira ababaka nga bamwegayirira aleme kwetantala kugenda awalagirwa emizannyo.
32 Ekibiina ky’abantu kyonna kyali kikyankalanye, ng’abamu boogera kino ate ng’abalala boogera kiri, era abasinga obungi nga tebamanyi kibakuŋŋaanyisizza.
33 Awo ne baggya Alekizanda mu kibiina ky’abantu, ng’Abayudaaya bwe bamusindika, Alekizanda n’awenya ku bantu n’omukono ng’ayagala okwewozaako gye bali.
34 Naye bwe baakitegeera nti Muyudaaya, bonna ne baleekaana okumala essaawa nga bbiri nga bagamba nti: “Atemi ow’Abeefeso mukulu nnyo!”
35 Awo omukulu w’ekibuga bwe yamala okusirisa abantu, n’agamba nti: “Abantu b’omu Efeso, ani atamanyi nti ekibuga Efeso kye kikuuma yeekaalu ya Atemi omukulu n’ekifaananyi kye ekyagwa okuva mu ggulu?
36 N’olwekyo, okuva ebintu bino bwe bitayinza kuwakanyizibwa, musaanidde okubeera abakkakkamu n’obutayanguyiriza kubaako kye mukola.
37 Kubanga muleese abasajja bano abatanyaze bya mu yeekaalu era abatavvodde katonda waffe omukazi.
38 N’olwekyo, Demeteriyo+ n’abaweesi bwe baba n’ensonga ku muntu yenna, waliwo ennaku ez’okuwolezaako emisango era n’ab’amasaza* weebali; batwale eyo ensonga zaabwe.
39 Naye bwe waba nga waliwo ensonga endala, zirina kukolwako mu lukiiko olwa bulijjo.
40 Tuli mu kabi ak’okuvunaanibwa omusango ogw’okujeemera gavumenti olw’ekyo ekibaddewo olwa leero, kubanga tetulina nsonga gye tuyinza kuwa nti y’eviiriddeko ekibiina kino okukyankalana.”
41 Bwe yamala okwogera ebyo, n’agamba abantu bagende.