Ebikolwa 20:1-38

  • Pawulo ng’ali mu Masedoniya ne mu Buyonaani (1-6)

  • Yutuko azuukizibwa mu Tulowa (7-12)

  • Pawulo ava e Tulowa n’agenda e Mireeto (13-16)

  • Pawulo asisinkana abakadde b’omu Efeso (17-38)

    • Okuyigiriza nnyumba ku nnyumba (20)

    • “Okugaba kulimu essanyu” (35)

20  Oluyoogaano bwe lwakendeera, Pawulo n’atumya abayigirizwa, era bwe yamala okubazzaamu amaanyi n’okubasiibula, n’agenda e Masedoniya.  Bwe yamala okuyitaayita mu bitundu ebyo n’okuzzaamu abayigirizwa abaaliyo amaanyi ng’ababuulira ekigambo, n’atuuka mu Buyonaani.  Yamalayo emyezi esatu, naye bwe yali anaatera okusaabala agende e Busuuli, Abayudaaya ne bamusalira olukwe,+ n’asalawo okuddayo ng’ayitira mu Masedoniya.  Yawerekerwako Sopateri mutabani wa Puulo ow’e Beroya, Alisutaluuko+ ne Sekundo Abassessalonika, Gayo ow’e Derube, Timoseewo,+ ne Tukiko+ ne Tulofiimo+ ab’omu ssaza ly’e Asiya.  Abasajja abo baatukulembera ne batulindira e Tulowa;  naye ennaku ez’embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse+ bwe zaggwa, ne tusaabala ku nnyanja okuva e Firipi ne tubasanga e Tulowa nga tewannayita nnaku ttaano, era eyo ne tumalayo ennaku musanvu.  Ku lunaku olusooka mu wiiki, bwe twali tukuŋŋaanye okulya, Pawulo n’ayogera gye bali okutuusiza ddala ekiro mu ttumbi, olw’okuba enkeera yali agenda.  Waaliyo ettaala eziwerako mu kisenge ekya waggulu gye twali tukuŋŋaanidde.  Pawulo bwe yali ayogera, omuvubuka ayitibwa Yutuko eyali atudde mu ddirisa n’akwatibwa otulo tungi ne yeebaka, n’awanuka ku kkalina ey’okusatu n’agwa wansi, ne bamuggyawo ng’afudde. 10  Naye Pawulo n’akka wansi, n’amugwako n’amuwambatira+ n’agamba nti: “Mulekere awo okukuba ebiwoobe, kubanga mulamu.”+ 11  Awo n’addayo waggulu n’amenya omugaati n’atandika okulya, ne yeeyongera okwogera nabo okutuusa obudde lwe bwakya, n’alyoka agenda. 12  Omulenzi ne bamutwala nga mulamu, ne basanyuka nnyo. 13  Awo ne tugenda ku kyombo ne tusaabala okugenda mu Asosi, gye twali ab’okuggya Pawulo nga bwe yatugamba, kubanga ye yali agenda kuyita ku lukalu. 14  Bwe twasisinkana mu Asosi, n’asaabala naffe mu lyato ne tugenda e Mituleene; 15  olunaku olwaddako ne tusaabala ne tuvaayo ne tutuuka okumpi n’ekizinga ekiyitibwa Kiyosi, ate olunaku olwaddirira ne tutuuka e Samosi, enkeera ne tutuuka e Mireeto. 16  Pawulo yali asazeewo okusaabala agende butereevu nga tayimiridde mu Efeso+ aleme kulwa mu ssaza ly’e Asiya, kubanga yali mu bwangu, ng’ayagala bwe kiba kisobose atuuke mu Yerusaalemi+ ku lunaku lw’Embaga ya Pentekooti. 17  Naye bwe yali e Mireeto n’atumya mu Efeso abakadde b’omu kibiina. 18  Bwe baatuuka, n’abagamba nti: “Mumanyi bulungi engeri gye nneeyisangamu nga ndi mu mmwe okuva ku lunaku lwe nnatuuka mu ssaza ly’e Asiya,+ 19  nga mpeereza Mukama waffe n’obuwombeefu,+ nga nkaaba amaziga, era nga ngezesebwa olw’enkwe z’Abayudaaya. 20  Ate era mumanyi nti saalekayo kubabuulira bintu bya muganyulo* wadde okubayigiriza mu lujjudde+ era ne nnyumba ku nnyumba.+ 21  Naye nnawa Abayudaaya n’Abayonaani obujulirwa mu bujjuvu beenenye+ badde eri Katonda era bakkiririze mu Mukama waffe Yesu.+ 22  Kaakano laba! Omwoyo gumpaliriza okugenda e Yerusaalemi, wadde nga simanyi kigenda kuntuukako eyo. 23  Naye omwoyo omutukuvu guŋŋamba enfunda n’enfunda mu buli kibuga nti okusibibwa n’okubonaabona binnindiridde.+ 24  Kyokka obulamu bwange sibutwala nga bwa muwendo gye ndi, kasita mmaliriza olugendo lwange+ n’obuweereza bwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okuwa obujulirwa mu bujjuvu ku mawulire amalungi agakwata ku kisa kya Katonda eky’ensusso. 25  “Kaakano mmanyi nti mmwe mmwenna be nnabuulira Obwakabaka temujja kuddamu kundaba. 26  Kale mbayita mube abajulirwa leero nti sivunaanibwa musaayi gwa muntu yenna,+ 27  kubanga saalekayo kubabuulira kigendererwa kya Katonda.+ 28  Mwekuume+ era mukuume n’ekisibo kyonna, omwoyo omutukuvu mwe gwabalondera okuba abalabirizi,+ okulabiriranga ekibiina kya Katonda+ kye yagula n’omusaayi gw’Omwana we.+ 29  Nkimanyi nti bwe ndivaawo, emisege emikambwe giriyingira mu mmwe+ era tegiriyisa bulungi kisibo, 30  era mu mmwe mmwennyini mulivaamu abantu aboogera ebintu ebikyamye okusendasenda abayigirizwa okubagoberera.+ 31  “N’olwekyo mutunule, era mujjukire nti okumala emyaka esatu,+ emisana n’ekiro, saalekera awo kubuulirira buli omu ku mmwe nga nkaaba n’amaziga. 32  Kaakano mbakwasa Katonda n’ekigambo ekikwata ku kisa kye eky’ensusso, ekigambo ekiyinza okubazimba n’okubawa obusika mu abo abaatukuzibwa.+ 33  Seegombangako ffeeza ya muntu wadde zzaabu oba ekyambalo.+ 34  Mmwe mmwennyini mukimanyi nti emikono gino gye gyakolanga ku byetaago byange+ n’eby’abo abali nange. 35  Mbalaze mu bintu byonna nti mulina okukola ennyo+ bwe mutyo musobole okuyamba abeetaaga obuyambi, era mulina okujjukira ebigambo bya Mukama waffe Yesu, nga bwe yagamba nti: ‘Okugaba kulimu essanyu+ okusinga okuweebwa.’” 36  Bwe yamala okwogera bino byonna, n’afukamira nabo n’asaba. 37  Bonna ne bakaaba nnyo ne bagwa Pawulo mu kifuba* ne bamunywegera, 38  kubanga baalumwa nnyo olw’ekyo kye yabagamba nti baali tebagenda kuddamu kumulaba.+ Awo ne bamuwerekerako okutuuka ku kyombo.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “bintu ebibagasa.”
Obut., “ne bagwa ku nsingo ya Pawulo.”