Ekyabalamuzi 19:1-30

  • Ekikolwa ky’Ababenyamini eky’obuseegu mu Gibeya (1-30)

19  Mu nnaku ezo nga mu Isirayiri temuli kabaka,+ waaliwo Omuleevi eyali abeera mu kitundu ekyesudde eky’omu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi+ eyafuna omuzaana e Besirekemu+ mu Yuda n’amuwasa.  Naye omuzaana we n’atandika okwenda, era oluvannyuma n’anoba n’agenda mu nnyumba ya kitaawe e Besirekemu mu Yuda, n’abeera eyo okumala emyezi ena.  Bbaawe n’agenda gy’ali amuwooyewooye akomewo; yagenda n’omusajja eyali amuweereza era n’endogoyi bbiri. Bwe yatuuka, mukazi we n’amuyingiza mu nnyumba ya kitaawe. Kitaawe bwe yamulaba, n’amusanyukira.  Awo kitaawe w’omuwala, n’akkirizisa mukoddomi we okubeera naye okumala ennaku ssatu; ne balyanga ne banywanga, era n’asulanga eyo.  Ku lunaku olw’okuna, bwe baazuukuka ku makya okugenda, kitaawe w’omuwala n’agamba mukoddomi we nti: “Mubeeko kye mulya mufune amaanyi mulyoke mugende.”  Awo ne batuula, bombi ne balya ne banywa; oluvannyuma kitaawe w’omuwala n’agamba omusajja nti: “Nkwegayiridde sula era osanyuse omutima gwo.”  Omusajja bwe yasituka okugenda, kitaawe w’omuwala n’amwegayirira, bw’atyo n’asulayo nate.  Ku lunaku olw’okutaano bwe yazuukuka ku makya okugenda, kitaawe w’omuwala n’agamba nti: “Nkwegayiridde, baako ky’olya ofune amaanyi olyoke ogende.” Bombi ne beeyongera okulya. Ne balwa okutuusa obudde lwe bwayita.  Omusajja bwe yasituka okugenda n’omuzaana we n’omuweereza we, kitaawe w’omuwala n’amugamba nti: “Laba! Obudde bunaatera okuwungeera. Nkwegayiridde musule. Obudde bugenze. Sula wano, omutima gwo gusanyuke. Mujja kukeera enkya musitule ogende ewuwo.”* 10  Kyokka omusajja teyakkiriza kusulawo kiro kirala. Awo n’asituka n’agenda, n’atuuka mu Yebusi, kwe kugamba, mu Yerusaalemi;+ yalina endogoyi bbiri ezaaliko amatandiiko, era yali n’omuzaana we n’omuweereza we. 11  Bwe baali okumpi ne Yebusi ng’obudde buwungedde, omuweereza n’agamba mukama we nti: “Tukyame mu kibuga kino eky’Abayebusi tusule omwo?” 12  Naye mukama we n’amugamba nti: “Tetukyama mu kibuga ky’abagwira, abatali Bayisirayiri; tweyongereyo tugende e Gibeya.”+ 13  Era n’agamba omuweereza we nti: “Jjangu tugende mu kimu ku bifo bino; tujja kusula mu Gibeya oba mu Laama.”+ 14  Bwe batyo ne beeyongerayo, era enjuba n’egwa nga bali kumpi ne Gibeya ekya Benyamini. 15  Awo ne bakyama bagende basule mu Gibeya. Bwe baayingiramu, ne batuula mu kibangirizi ky’ekibuga, naye tewaali abatwala wuwe kubasuza.+ 16  Oluvannyuma akawungeezi ne wajja omusajja omukadde eyali ava mu nnimiro ye okukola, era yali wa mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi,+ naye nga yali abeera mu Gibeya okumala ekiseera. Abantu b’omu kibuga ekyo baali Babenyamini.+ 17  Bwe yalaba omutambuze mu kibangirizi ky’ekibuga, n’amubuuza nti: “Ogenda wa, era ova wa?” 18  N’amuddamu nti: “Tuva Besirekemu eky’omu Yuda, era tugenda mu kitundu ekyesudde mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi. Eyo ye waffe. Nnali ŋŋenze Besirekemu eky’omu Yuda,+ naye kaakano ŋŋenda mu nnyumba ya Yakuwa,* kyokka tewali antwala wuwe kunsuza. 19  Tulina ebisubi by’endogoyi n’emmere yaazo endala ebimala,+ era tulina n’emmere+ n’omwenge ebyange ne mukyala wange, n’omuweereza waffe. Tulina buli kimu kye twetaaga.” 20  Kyokka omusajja omukadde n’agamba nti: “Emirembe gibe naawe! Nja kukuwa byonna bye weetaaga, naye tosula mu kibangirizi kya kibuga.” 21  Awo n’amutwala ewuwe, n’awa endogoyi emmere. Ne banaaba ebigere, ne balya era ne banywa. 22  Bwe baali nga basanyusa emitima gyabwe, abasajja b’omu kibuga abatalina mugaso ne beetooloola ennyumba, ne bakonkona nnyo oluggi; ne bagamba omusajja omukadde nnannyini nnyumba nti: “Fulumya omusajja azze mu nnyumba yo twegatte naye.”+ 23  Awo nnannyini nnyumba n’afuluma n’abagamba nti: “Nedda baganda bange, mbeegayiridde temukola kintu kino ekibi ennyo. Omusajja ono mugenyi mu nnyumba yange. Temukola kivve kino. 24  Muwala wange embeerera n’omuzaana w’omusajja ono baabano. Ka mbafulumye mubaweebuule, bwe muba ng’ekyo kye mwagala okukola.*+ Naye omusajja ono temumukolako kintu kino eky’obuswavu.” 25  Abasajja ne bagaana okumuwuliriza. Awo omusajja n’akwata omuzaana we+ n’amubafulumiza ebweru; ne bamusobyako, ne bamukolako ebya mbyone ekiro kyonna okutuusa ku makya. Obudde bwe bwali bukya ne bamuleka n’agenda. 26  Awo obudde nga bukya omukazi n’ajja n’agwa ku mulyango gw’ennyumba y’omusajja mukama we mwe yali, n’agalamira awo okutuusa obudde lwe bwatangaala. 27  Mukama we bwe yazuukuka ku makya n’aggulawo enzigi z’ennyumba afulume yeeyongereyo ku lugendo lwe, n’alaba omukazi, omuzaana we, ng’agalamidde mu maaso g’ennyumba, ng’emikono gye giri ku mulyango. 28  Omusajja n’amugamba nti: “Situka tugende,” naye nga tanyega. Awo omusajja n’amuteeka ku ndogoyi n’akwata eridda ewuwe. 29  Bwe yatuuka ewuwe, n’aggyayo akambe, n’akwata omuzaana we n’amusalaasalamu ebitundu 12 n’abiweereza mu bitundu byonna ebya Isirayiri. 30  Bonna abaakiraba ne bagamba nti: “Ekintu nga kino tekibangawo era tekirabwangako kasookedde Bayisirayiri bava mu nsi ya Misiri. Mukifumiitirizeeko,* muteese,+ mutubuulire eky’okukola.”

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “mu weema yo.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “era mpeereza ku nnyumba ya Yakuwa.”
Oba, “mubasobyeko era mukole kye mulaba nga kirungi mu maaso gammwe.”
Oba, “Mukisseeko emitima gyammwe.”