Ekyabalamuzi 5:1-31
5 Ku lunaku olwo Debola+ ne Balaka+ mutabani wa Abinowamu ne bayimba oluyimba luno:+
2 “Olw’okuba Abayisirayiri* baata enviiri zaabwe,Olw’okuba abantu beewaayo kyeyagalire,+Mutendereze Yakuwa!
3 Muwulirize mmwe bakabaka! Mutege amatu mmwe abafuzi!
Nja kuyimbira Yakuwa.
Nja kuyimba ennyimba ezitendereza Yakuwa+ Katonda wa Isirayiri.+
4 Yakuwa, bwe wali ova mu Seyiri,+Bwe wali ova mu kitundu kya Edomu,Ensi yakankana n’eggulu ne lifukumula amazzi,Ebire byafukumula amazzi.
5 Ensozi zaasaanuuka* mu maaso ga Yakuwa,+Sinaayi naye yasaanuuka mu maaso ga Yakuwa+ Katonda wa Isirayiri.+
6 Mu kiseera kya Samugali+ mutabani wa Anasi,Mu kiseera kya Yayeeri,+ amakubo tegaalimu bantu;Abatambuze baayitanga mu makubo ag’ebbali.
7 Abantu baggwa mu byalo bya Isirayiri;Baggwaamu okutuusa nze Debola+ lwe nnayimuka,Okutuusa lwe nnayimuka nga maama okuyamba Isirayiri.+
8 Baalonda bakatonda abaggya.+
Awo entalo ne ziryoka zibeera mu miryango.+
Engabo yali tekyalabika, wadde effumu,Mu basajja 40,000 ab’omu Isirayiri.
9 Omutima gwange guli n’abaduumizi ba Isirayiri,+Abaagenda n’abantu nga bannakyewa.+
Mutendereze Yakuwa!
10 Mmwe abeebagala endogoyi eza kikuusikuusi,Mmwe abatuula ku biwempe ebirungi,Nammwe abatambula mu luguudo,Mulowooze ku kino:
11 Amaloboozi g’abagaba amazzi gaawulirwa mu bifo omusenebwa amazzi;Eyo gye baayogerera ku bikolwa bya Yakuwa eby’obutuukirivu,Ebikolwa eby’obutuukirivu eby’abantu be ababeera mu byalo by’omu Isirayiri.
Awo abantu ba Yakuwa ne balyoka baserengeta ku miryango.
12 Zuukuka, zuukuka, ggwe Debola!+
Zuukuka, zuukuka, yimba oluyimba!+
Ggwe Balaka,+ ggwe mutabani wa Abinowamu, situka otwale abawambe bo!
13 Awo abo abaasigalawo ne baserengeta eri abakungu;Abantu ba Yakuwa baaserengeta gye ndi okulwanyisa ab’amaanyi.
14 Abo abali mu kiwonvu baasibuka mu Efulayimu;Bakugoberera ggwe Benyamini, mu bantu bo.
Abaduumizi baava mu Makiri+ ne baserengeta,Abo abasitula omuggo gw’oyo awandiika abantu abayingira mu magye* baava mu Zebbulooni.
15 Abaami b’omu Isakaali baali ne Debola,Nga Isakaali bwe yali, ne Balaka+ bw’atyo bwe yali.
Yasindikibwa mu lusenyi ku bigere.+
Ate bo ab’ebibinja bya Lewubeeni omutima gwabwe gwali tegusalawo.
16 Lwaki watuula wakati w’emigugu ebiri,Ng’owuliriza emirere gye bafuuyira ebisibo?+
Ab’ebibinja bya Lewubeeni omutima gwabwe gwali tegusalawo.
17 Gireyaadi yasigala mitala wa Yoludaani;+Ate ye Ddaani lwaki yasigala mu byombo?+
Aseri yatuula butuuzi ku lubalama lw’ennyanja,Era yasigala ku myalo gye.+
18 Zebbulooni be bantu abaateeka obulamu bwabwe mu kabi;Ne Nafutaali+ mu bifo eby’oku ttale ebigulumivu.+
19 Bakabaka bajja, baalwana;Bakabaka ba Kanani ne balyoka balwanira+
Mu Taanaki okumpi n’amazzi g’e Megiddo.+
Tebaatwala munyago gwa ffeeza.+
20 Emmunyeenye zaalwanira mu ggulu;Nga ziri mu makubo gaazo, zaalwanyisa Sisera.
21 Akagga Kisoni kaabakuluggusa,+Akagga ak’edda, Akagga Kisoni.
Nnalinnyirira ab’amaanyi.
22 Awo ebinuulo by’embalaasi ne biryoka birinnyiriralinnyiriraNg’embalaasi ze zifubutuka.+
23 ‘Mukolimire Merozi,’ bw’atyo malayika wa Yakuwa bwe yagamba,‘Mukolimire abatuuze baamu,Kubanga tebajja kuyamba Yakuwa,Tebajja wamu n’ab’amaanyi okuyamba Yakuwa.’
24 Yayeeri+ muka Keberi Omukeeni+Wa mukisa okusinga abakazi bonna;Wa mukisa okusinga abakazi bonna ababeera mu weema.
25 Yasaba mazzi, yamuwa mata.
Yamuweera amata amasunde+ mu kibya ky’abakungu ekikozesebwa ku kijjulo.
26 Omukono gwe gwakwata enninga ya weema,Omukono gwe ogwa ddyo gwakwata ennyondo y’abakozi.
N’akomerera Sisera n’amwasa omutwe,Yamuwummula omutwe n’agubetenta.+
27 Wakati mu magulu ge we yagwa n’akalambala;Wakati mu magulu ge we yagwa;We yagwa, amaanyi we gaamuggweeramu.
28 Omukazi yali mu ddirisa ng’atunula,Maama wa Sisera yali mu katimba ng’alingiza,‘Lwaki eggaali lye ery’olutalo liruddewo okudda?
Lwaki omusinde gw’eggaali lye gukeereye nnyo?’+
29 Abakazi be ab’ekitiibwa abasingayo okuba ab’amagezi ne bamuddamu;Era naye ne yeddamu ng’agamba nti,
30 ‘Bateekwa okuba nga bali mu kugabana munyago gwe baafunye,Buli mulwanyi omuwala omu oba babiri,*Sisera omunyago gw’olugoye olwa langi, omunyago gw’olugoye olwa langi;Ekyambalo ekiriko amasiira, olugoye olwa langi, ebyambalo bibiri eby’amasiiraBya ku nsingo z’abasajja abaanyaze omunyago.’
31 Abalabe bo bonna ka bazikirire,+ Ai Yakuwa,Naye abakwagala ka babe ng’enjuba bw’eba ng’evaayo mu kitiibwa kyayo.”
Awo ensi n’ebaamu emirembe okumala emyaka 40.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “abalwanyi.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “zaakankana.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Abo abakwata ebintu by’omuwandiisi.”
^ Obut., “enda emu oba enda bbiri.”