Ekyabalamuzi 7:1-25
7 Awo Yerubbaali, kwe kugamba, Gidiyoni,+ n’abantu bonna abaali naye ne bagolokoka ku makya ennyo ne basiisira ku luzzi lwa Kalodi; olusiisira lwa Midiyaani lwali bukiikakkono w’olusiisira lwa Gidiyoni ku Kasozi Moole mu lusenyi.
2 Yakuwa n’agamba Gidiyoni nti: “Abantu abali naawe bangi nnyo nze okuwaayo Midiyaani mu mukono gwabwe.+ Isirayiri eyinza okunneewaanirako ng’egamba nti, ‘Omukono gwange gwe gwandokodde.’+
3 Kaakano langirira mu maaso g’abantu nti: ‘Buli awulira ng’atidde era ng’akankana, addeyo ewuwe.’”+ Awo Gidiyoni n’abagezesa. Abantu 22,000 ne baddayo ewaabwe, ne wasigalawo 10,000.
4 Era Yakuwa n’agamba Gidiyoni nti: “Abantu bakyali bangi nnyo. Baserengese ku mazzi mbakulonderemu eyo.* Buli gwe nnaakugamba nti, ‘Ono ajja kugenda naawe,’ y’anaagenda naawe, naye buli gwe nnaakugamba nti, ‘Ono tajja kugenda naawe,’ y’ataagende naawe.”
5 Bw’atyo n’aserengesa abantu ku mazzi.
Awo Yakuwa n’agamba Gidiyoni nti: “Buli anaakomba amazzi n’olulimi lwe ng’embwa bw’egakomba, mwawule ku abo abanaafukamira ku maviivi gaabwe okunywa.”
6 Abo abaanywera amazzi mu ngalo zaabwe baali abasajja 300. Naye abalala bonna baafukamira ku maviivi gaabwe okunywa amazzi.
7 Yakuwa n’agamba Gidiyoni nti: “Nja kubalokola nga nkozesa abasajja 300 abanyweredde amazzi mu ngalo zaabwe, era nja kuwaayo Midiyaani mu mukono gwo.+ Naye abantu abalala bonna baddeyo ewaabwe.”
8 Awo abantu bwe baamala okuggibwako eby’okulya n’eŋŋombe, n’alagira abasajja ba Isirayiri bonna baddeyo ewaabwe; n’asigala n’abasajja 300 bokka. Olusiisira lwa Midiyaani lwamuli wammanga mu lusenyi.+
9 Ekiro ekyo Yakuwa n’amugamba nti: “Situka olumbe olusiisira kubanga nduwaddeyo mu mukono gwo.+
10 Naye bw’oba ng’otya okululumba, serengeta ku lusiisira ne Pula omuweereza wo.
11 Wulira bye boogera, era oluvannyuma ojja kufuna obuvumu* osobole okulumba olusiisira.” Awo ye ne Pula omuweereza we ne baserengeta ne batuuka okumpi n’eggye eryali lisiisidde.
12 Abamidiyaani n’Abamaleki n’abantu bonna ab’ebuvanjuba+ baali beekuluumululidde mu lusenyi nga bangi nnyo ng’enzige, era ng’eŋŋamira zaabwe tezibalika;+ zaali nnyingi nnyo ng’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja.
13 Awo Gidiyoni n’atuuka, era laba! waaliwo omusajja eyali abuulira munne ekirooto ng’amugamba nti: “Kino kye kirooto kye nnaloose. Waabaddewo omugaati omwetooloovu ogwa ssayiri ogwabadde guyiringita mu lusiisira lwa Midiyaani. Gwatuuse ku weema emu ne gugikuba n’egwa wansi.+ Gwagigalise n’egwira ddala ku ttaka.”
14 Munne n’amuddamu nti: “Ekyo kitala kya Gidiyoni+ mutabani wa Yowaasi, omusajja ow’omu Isirayiri. Katonda awaddeyo Midiyaani n’olusiisira lwonna mu mukono gwe.”+
15 Gidiyoni olwawulira ekirooto ekyo n’amakulu gaakyo,+ n’avunnama n’asinza Katonda. Awo n’addayo mu lusiisira lwa Isirayiri n’agamba nti: “Musituke, kubanga Yakuwa awaddeyo olusiisira lwa Midiyaani mu mukono gwammwe.”
16 Awo abasajja ebisatu n’abagabanyaamu ebibinja bisatu, bonna n’abakwasa eŋŋombe+ n’ensumbi ennene enkalu, n’emimuli nga giri mu nsumbi.
17 N’abagamba nti: “Muntunuulire, kye nkola kyennyini nammwe kye muba mukola. Bwe nnaatuuka ku njegoyego y’olusiisira, kye nnaakola nammwe kye muba mukola.
18 Bwe nnaafuuwa eŋŋombe, nze ne bonna abali nange, nammwe mujja kufuuwa eŋŋombe okwetooloola olusiisira lwonna era muleekaane nti, ‘Olutalo lwa Yakuwa era lwa Gidiyoni!’”
19 Awo Gidiyoni n’abasajja ekikumi abaali naye ne batuuka ku njegoyego y’olusiisira ng’ekisisimuka eky’omu ttumbi* kitandika. Baali kye bajje bakyuse abakuumi. Awo ne bafuuwa eŋŋombe+ era ne baasa n’ensumbi ennene ezaali mu mikono gyabwe.+
20 Awo ab’ebibinja byonsatule ne bafuuwa eŋŋombe era ne baasa n’ensumbi ennene. Ne bakwata emimuli mu mikono gyabwe egya kkono ne bafuuwa eŋŋombe nga bazikutte mu mikono gyabwe egya ddyo, era ne baleekaana nti: “Ekitala kya Yakuwa n’ekya Gidiyoni!”
21 Ekiseera ekyo kyonna baali bayimiridde buli omu mu kifo kye okwetooloola olusiisira, era abalwanyi bonna ne bafubutuka ne badduka nga bwe baleekaana.+
22 Abasajja ebisatu ne beeyongera okufuuwa eŋŋombe, era Yakuwa n’aleetera abantu buli omu okwefuulira munne ne batandika okuttiŋŋana mu lusiisira;+ abalwanyi ne badduka okutuuka e Besu-sitta ne beeyongerayo e Zerera, ne batuukira ddala ku njegoyego za Aberu-mekola+ okumpi n’e Tabbasi.
23 Awo abasajja ba Isirayiri ne bakuŋŋaanyizibwa okuva mu Nafutaali ne mu Aseri ne mu Manase+ yenna, ne bawondera Midiyaani.
24 Gidiyoni n’atuma ababaka mu kitundu kyonna ekya Efulayimu eky’ensozi ng’agamba nti: “Mugende mulumbe Midiyaani era muwambe awayitirwa okutuuka ku mazzi, n’okutuukira ddala e Besu-bala ne ku Mugga Yoludaani.” Awo abasajja ba Efulayimu bonna ne bakuŋŋaanyizibwa ne bawamba Yoludaani n’emigga gyakwo emitono okutuukira ddala e Besu-bala.
25 Baawamba n’abaami ba Midiyaani ababiri, Olebu ne Zeebu; Olebu ne bamuttira ku lwazi lwa Olebu,+ ate Zeebu ne bamuttira ku ssogolero lya Zeebu. Ne bongera okuwondera Midiyaani,+ ne baleeta omutwe gwa Olebu n’ogwa Zeebu eri Gidiyoni mu kitundu kya Yoludaani.
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “mbakugezesereze eyo.”
^ Obut., “emikono gyo gijja kufuna amaanyi.”
^ Okuva ku ssaawa nga 4 ez’ekiro okutuuka ku ssaawa nga 8 ez’ekiro.