Ekyamateeka 15:1-23
15 “Buli luvannyuma lwa myaka musanvu, olina okusumulula.+
2 Okusumulula okwo kunaabeeranga bwe kuti: buli anaabanga alina gw’abanja, anaasumululanga ebbanja ly’oyo gw’abanja. Taabanjenga munne oba muganda we kubanga anaamusumululanga ku lwa Yakuwa.+
3 Omugwira+ ye onooyinzanga okumubanja, naye ekintu kyonna ky’onoobanga obanja muganda wo onookimusonyiwanga.
4 Kyokka tewali n’omu mu mmwe ajja kwavuwala, kubanga Yakuwa ajja kukuwa emikisa+ mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa ng’obusika;
5 naye ekyo kijja kuba bwe kityo singa onoofubanga okuwuliriza eddoboozi lya Yakuwa Katonda wo era n’ofuba okukwata amateeka gano gonna ge nkuwa leero.+
6 Yakuwa Katonda wo ajja kukuwa omukisa nga bwe yakusuubiza era ojja kuwola amawanga mangi naye ggwe tojja kwewola;+ ojja kuba n’obuyinza ku mawanga mangi naye go tegajja kuba na buyinza ku ggwe.+
7 “Omu ku baganda bo mu kimu ku bibuga byo mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’agenda okukuwa bw’ayavuwalanga, tokakanyazanga mutima gwo era tofunyanga ngalo zo eri muganda wo oyo omwavu.+
8 Omwanjululizanga engalo zo+ n’omuwola bye yeetaaga oba by’atalina.
9 Weegendereze ekirowoozo kino ekibi kireme kubeera mu mutima gwo n’ogamba nti, ‘Omwaka ogw’omusanvu, omwaka ogw’okusumululiramu gusembedde,’+ n’okodowalira muganda wo omwavu, n’otobaako ky’omuwa. Bw’alikoowoola Yakuwa ng’akuwawaabira, olibaako ekibi.+
10 Omuweeranga ddala mu bungi+ era tomuwanga nga weewaliriza bwewaliriza.* Bw’onookola bw’otyo, Yakuwa Katonda wo anaakuwanga omukisa mu buli ky’onookolanga na mu buli mulimu gwo gwonna.+
11 Kubanga wanaabangawo abaavu mu nsi.+ Eyo ye nsonga lwaki nkulagira nti, ‘Muganda wo omunaku era omwavu mu nsi yo+ omwanjululizanga engalo zo.’
12 “Bw’ogulanga muganda wo Omwebbulaniya, omusajja oba omukazi, n’amala emyaka mukaaga ng’akuweereza, mu mwaka ogw’omusanvu omutanga n’agenda.+
13 Era bw’obanga omutadde agende, tomulekanga kugenda ngalo nsa.
14 Otoolanga ku by’omu kisibo kyo, ne ku by’omu gguuliro lyo, ne ku by’omu ssogolero lyo ery’amafuta n’ery’omwenge n’omuweera ddala mu bungi. Omuwanga nga Yakuwa Katonda wo bw’anaabanga akuwadde omukisa.
15 Ojjukiranga nti wali muddu mu nsi ya Misiri naye Yakuwa Katonda wo n’akununulayo. Eyo ye nsonga lwaki nkuwa ekiragiro kino leero.
16 “Naye bw’agambanga nti, ‘Sijja kukuleka!’ olw’okuba anaaba akwagala ggwe n’ab’omu nnyumba yo, kubanga abadde musanyufu ng’ali naawe,+
17 omuleetanga ku luggi n’ateeka okutu kwe ku luggi n’oddira olukato n’omuwummula okutu, era anaabanga muddu wo ennaku zonna. N’omuddu wo omukazi bw’otyo bw’onoomukolanga.
18 Tekikukaluubiriranga kumuta kugenda; kubanga anaabanga akukoledde emyaka mukaaga emirimu egikubisaamu emirundi ebiri egy’omukozi akolera empeera, era Yakuwa Katonda wo anaabanga akuwadde omukisa mu byonna ebinaabanga bikoleddwa.
19 “Buli nsolo embereberye ennume ey’omu ggana lyo ne mu kisibo kyo onoogitukulizanga Yakuwa Katonda wo.+ Ensolo embereberye ey’omu ggana lyo togikozesanga mulimu gwonna, era ensolo embereberye ey’omu kisibo kyo togisalangako byoya.
20 Ggwe n’ab’omu nnyumba yo munaagiriiranga mu maaso ga Yakuwa Katonda wo buli mwaka mu kifo Yakuwa ky’anaalonda.+
21 Naye bw’eneebangako ekikyamu kyonna—nga nnema, oba nga nzibe ya maaso, oba ng’eriko ekikyamu ekirala kyonna eky’amaanyi—togiwangayo nga ssaddaaka eri Yakuwa Katonda wo.+
22 Onoogiriiranga mu bibuga* byo; omulongoofu n’atali mulongoofu banaagiryanga nga bw’olya enjaza n’empeewo.+
23 Kyokka gwo omusaayi gwayo togulyanga.+ Onooguyiwanga ku ttaka ng’amazzi.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “era omutima gwo tegumuwanga nga gwewaliriza bwewaliriza.”
^ Obut., “miryango.”