Ekyamateeka 21:1-23
21 “Omuntu bw’anaasangibwanga ku ttale ng’attiddwa mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa, era ng’eyamusse tamanyiddwa,
2 abakadde n’abalamuzi+ bo banaagendanga ne bapima ebbanga eririwo okuva awali omulambo okutuuka ku bibuga ebyetooloddewo.
3 Awo abakadde b’ekibuga ekisinga okuba okumpi n’omulambo banaafunanga ente enduusi okuva mu ggana, etakozesebwangako mirimu era etasikangako kintu kyonna ng’eri mu kikoligo,
4 era abakadde b’ekibuga ekyo banaatwalanga ente eyo mu kiwonvu ekirimu amazzi agakulukuta, ekitali kirime era ekitasimbiddwamu nsigo, ne bagimenyera eyo ensingo mu kiwonvu.+
5 “Bakabona Abaleevi banajjanga, kubanga Yakuwa Katonda wo yabalonda okumuweerezanga+ n’okuwanga omukisa mu linnya lya Yakuwa.+ Be banaababuuliranga engeri ensonga ezikwata ku bikolwa eby’obukambwe gye zirina okugonjoolwamu.+
6 Era abakadde bonna ab’omu kibuga abanaabanga basinga okuba okumpi n’omulambo banaanaabiranga engalo zaabwe+ ku nte gye banaabanga bamenyedde ensingo mu kiwonvu,
7 era banaagambanga nti, ‘Emikono gyaffe si gye gyayiye omusaayi guno, n’amaaso gaffe tegaalabye nga guyiibwa.
8 Ai Yakuwa, toguvunaana bantu bo Isirayiri be wanunula,+ era omusango gw’okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango toguleka kusigala mu bantu bo Isirayiri.’+ Awo tebaabeerengako musango gwa kuyiwa musaayi.
9 Bw’otyo onoggyangawo omusango gw’okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango mu mmwe ng’okola ekituufu mu maaso ga Yakuwa.
10 “Bw’onoogendanga mu lutalo okulwana n’abalabe bo, Yakuwa Katonda wo n’abakuwangulira era n’obawamba,+
11 n’olaba mu bawambe abo omukazi alabika obulungi, n’omwagala era n’oyagala omutwale abeere mukazi wo,
12 onoomuleetanga mu nnyumba yo. Anaamwangako enviiri, n’asala enjala,
13 n’aggyamu engoye ze yawambirwamu, era n’abeera mu nnyumba yo. Anaakaabiranga kitaawe ne nnyina okumala omwezi mulamba,+ era oluvannyuma oneegattanga naye; onaafuuka mwami we era naye anaafuuka mukazi wo.
14 Bw’anaabanga takusanyusizza, onoomulekanga n’agenda+ gy’ayagala. Naye tomutundanga kumufunamu ssente era tomuyisanga bubi kubanga wamuwaliriza okuba mukazi wo.
15 “Omusajja bw’anaabanga n’abakazi babiri, ng’omu amwagala okusinga omulala,* era bombi ne bamuzaalira abaana ab’obulenzi, naye ng’omubereberye wa mukazi atali muganzi,+
16 ku lunaku lw’anaabanga agabira abaana be eby’obusika, takkirizibwenga kufuula mwana wa mukazi omuganzi okuba omubereberye mu kifo ky’omwana omubereberye ow’omukazi atali muganzi.
17 Anakkirizanga nti omwana w’omukazi atali muganzi ye mubereberye era n’amuwa emigabo ebiri ku byonna by’anaabanga nabyo, kubanga omwana oyo ye ntandikwa y’amaanyi ge ag’okuzaala. Omwana omubereberye by’alina okufuna bibye.+
18 “Omusajja bw’anaabanga n’omwana omuwaganyavu era omujeemu, nga tagondera kitaawe oba nnyina,+ era nga bagezezzaako okumubuulirira naye n’agaana okubawuliriza,+
19 kitaawe ne nnyina banaamukwatanga ne bamutwala eri abakadde ku mulyango gw’ekibuga kye,
20 ne bagamba abakadde b’omu kibuga kye nti, ‘Omwana waffe ono muwaganyavu, mujeemu, era tatugondera. Wa mululu+ era mutamiivu.’+
21 Awo abasajja bonna ab’omu kibuga kye banaamukubanga amayinja n’afa. Bw’otyo onoggyanga ekibi mu mmwe, era Abayisirayiri bonna banaakiwuliranga ne batya.+
22 “Omuntu bw’anaakolanga ekibi ekimugwanyiza okuttibwa, n’attibwa,+ era n’omuwanika ku muti,+
23 omulambo gwe tegusigalanga ku muti ekiro kyonna,+ wabula omuziikanga ku lunaku olwo, kubanga oyo awanikibwa aba akolimiddwa Katonda;+ era toyonoonanga nsi yo Yakuwa Katonda wo gy’akuwa okuba obusika.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “abakazi babiri, ng’omu muganzi ate ng’omulala mukyawe.”