Ekyamateeka 32:1-52
32 “Wulira ggwe eggulu, nange ka njogere,N’ensi k’ewulire ebigambo by’akamwa kange.
2 Okuyigiriza kwange kunaatonnya ng’enkuba;Ebigambo byange binaagwa ng’omusulo,Ng’enkuba etonnya empola empola ku muddoEra ng’enkuba ennyingi etonnya ku bimera.
3 Nja kulangirira erinnya lya Yakuwa.+
Mwogere ku maanyi ga Katonda waffe!+
4 Olwazi, by’akola bituukiridde,+Amakubo ge gonna ga bwenkanya.+
Katonda omwesigwa+ ataliimu butali bwenkanya;+Mutuukirivu era mwenkanya.+
5 Bo bennyini be beeyisizza obubi.+
Si baana be, ensobi yaabwe.+
Mulembe ogwakyama!+
6 Bwe mutyo bwe musaanidde okuyisa Yakuwa,+
Mmwe abantu abasirusiru era abatalina magezi?+
Si ye Kitaawo eyakuteekawo,+Eyakukola era n’akutebenkeza?
7 Jjukira ennaku ez’edda;Lowooza ku myaka egy’emirembe egyayita.
Buuza kitaawo akubuulire;+Buuza abakadde bakutegeeze.
8 Asingayo Okuba Waggulu bwe yawa amawanga obusika,+Bwe yayawulamu abaana ba Adamu,*+Yassaawo ensalo z’amawanga+Ng’asinziira ku muwendo gw’abaana ba Isirayiri.+
9 Abantu ba Yakuwa gwe mugabo gwe;+Yakobo bwe busika bwe.+
10 Yamusanga mu ddungu+Mu ddungu eryereere, omuli ensolo eziwoowoola.+
Yamwebulungulula n’amulabirira,+N’amukuuma ng’emmunye y’eriiso lye.+
11 Ng’empungu bw’eyigiriza obwana bwayo okubuuka,Bw’epapalira we buli,Bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo n’ebutwala,Bw’ebusitulira ku biwaawaatiro byayo,+
12 Yakuwa yekka ye yamukulemberamu;*+Tewaaliwo katonda mulala eyali naye.+
13 Yamutambuliza ku bifo by’ensi ebigulumivu,+N’alya emmere ey’omu nnimiro.+Yamuliisa omubisi gw’enjuki okuva mu lwaziN’amafuta okuva mu lwazi olugumu,
14 Yamuwa omuzigo oguva mu ggana n’amata agava mu kisibo,N’endiga ezisingayo obulungi,*N’endiga ennume ez’e Basani, n’embuzi ennume,N’eŋŋaano esingayo obulungi;+Era yanywa envinnyo eva mu mubisi* gw’ezzabbibu.
15 Yesuluni* bwe yagejja, yasamba.
Ogezze, oyimbulukuse, obwegedde.+
Bw’atyo yaleka Katonda eyamukola,+N’anyooma Olwazi olw’obulokozi bwe.
16 Baamusunguwaza olwa bakatonda abalala be baafuna;+Baamunyiiza olw’ebintu byabwe eby’omuzizo.+
17 Baawaayo ssaddaaka eri badayimooni so si eri Katonda,+Eri bakatonda be baali batamanyi,Abapya abaali baakajja,Eri bakatonda bajjajjammwe be bataamanya.
18 Mwerabira Olwazi,+ oyo eyabazaala,Era temwajjukira Katonda eyabazaala.+
19 Yakuwa bwe yakiraba n’abavaako,+Olw’okuba batabani be ne bawala be baamunyiiza.
20 Bw’atyo n’agamba nti, ‘Ndibakweka obwenyi bwange;+Ndiraba ekiribatuukako.
Kubanga mulembe omwonoonefu,+Baana abataliimu bwesigwa.+
21 Bansunguwazza* n’ebitali katonda;+Bannyiizizza n’ebifaananyi byabwe ebitalina mugaso.+
Kyendiva mbakwasa obuggya nga nkozesa eggwanga eritalina mugaso;+Ndibanyiiza nga nkozesa eggwanga essirusiru.+
22 Obusungu bwange bukoleezezza omuliro+Ogujja okwaka okutuukira ddala wansi emagombe,*+Gujja kwokya ensi n’ebigirikoGujja kwokya emisingi gy’ensozi.
23 Ndibongerako ebizibu;Ndibamalirako obusaale bwange.
24 Balinafuwa olw’enjala+Era balimalibwawo omusujja ogw’amaanyi n’okuzikirizibwa okw’obulumi.+
Ndibasindikira amannyo g’ensolo+N’obusagwa bw’ebyewalula eby’omu nfuufu.
25 Ebweru ekitala kiribaggyako abaabwe;+Munda entiisa eribaggyako abaabwe,+Baliggibwako omulenzi n’omuwala embeerera,Ayonka n’omusajja ow’envi.+
26 Nnandibadde ŋŋamba nti: “Nja kubasaasaanya;Nja kubaleetera obutaddamu kujjukirwa mu bantu,”
27 Singa nnali sitya balabe kye banaagamba,+Kubanga abalabe bayinza okukitwala obulala.+
Bayinza okugamba nti: “Tuwangudde olw’amaanyi gaffe;+Yakuwa si y’akoze bino byonna.”
28 Isirayiri ggwanga eritalina magezi,*Era mu bo temuli kutegeera.+
29 Kale singa baalina amagezi!+ Kino bandibadde bakifumiitirizaako.+
Bandibadde balowooza ku ebyo ebyandivuddemu.+
30 Omu yandisobodde atya okugoba 1,000,N’ababiri okuddusa 10,000?+
Tekyandisobose okuggyako ng’Olwazi lwabwe y’abatunze+Era okuggyako nga Yakuwa y’abawaddeyo.
31 Kubanga olwazi lwabwe teruli ng’Olwazi lwaffe,+N’abalabe baffe kino bakitegedde.+
32 Omuzabbibu gwabwe guva ku muzabbibu gw’e SodomuGuva mu nnimiro z’e Ggomola.+
Ezzabbibu lyabwe zzabbibu lya butwa,Ebirimba byalyo bikaawa.+
33 Omwenge gwabwe busagwa bwa misota,Busagwa obw’enswera obw’amaanyi.
34 Kino sikiterese?Tekiteekeddwako envumbo mu tterekero lyange?+
35 Okuwoolera eggwanga kwange awamu n’okusasula,+Mu kiseera ekigereke ekigere kyabwe lwe kiriseerera,+Kubanga olunaku olw’okubonaabona kwabwe luli kumpi,Era ekibalindiridde kijja kujja mu bwangu.’
36 Yakuwa aliramula abantu be,+Naye alisaasira* abaweereza be,+Bw’aliraba ng’amaanyi gaabwe gakendedde,Era ng’abateesobola era abatalina maanyi bokka be basigaddewo.
37 Aligamba nti, ‘Bakatonda baabwe baluwa,+Olwazi mwe baddukiranga,
38 Abaalyanga amasavu ga ssaddaaka zaabwe,*
Abaanywanga omwenge gw’ebiweebwayo byabwe eby’eby’okunywa?+
Bajje babayambe mmwe.
Ka babeere ekifo kyammwe eky’okuddukiramu.
39 Mulabe kaakano nti nze wuuyo,+Tewali bakatonda balala okuggyako nze.+
Nzita era mpa obulamu.+
Nnumya+ era nja kuwonya,+Tewali ayinza kununula kiri mu mukono gwange.+
40 Mpanika omukono gwange eri eggulu,Era ndayira nti: “Nga bwe ndi omulamu emirembe n’emirembe,”+
41 Bwe ndiwagala ekitala kyange ekitemagana,Ne nneetegeka okusala omusango,+Ndiwoolera eggwanga ku balabe bange+Era ndisasula abo abatanjagala.
42 Obusaale bwange ndibutamiiza omusaayi,Omusaayi gw’abattiddwa era n’abawambe,Ekitala kyange kirirya ennyama,Okuva ku mitwe gy’abakulembeze b’omulabe.’
43 Musanyuke mmwe amawanga awamu n’abantu be,+Kubanga aliwoolera eggwanga olw’omusaayi gw’abaweereza be,+Era aliwoolera eggwanga ku balabe be+Alitangirira* ensi y’abantu be.”
44 Bw’atyo Musa n’ajja n’ayogera ebigambo byonna eby’oluyimba luno ng’abantu bawulira,+ era yali ne Koseya*+ mutabani wa Nuuni.
45 Musa bwe yamala okwogera ebigambo ebyo byonna eri Isirayiri yonna,
46 n’abagamba nti: “Musseeyo omwoyo ku bigambo byonna bye njogera nga mbalabula leero,+ musobole okuyigiriza abaana bammwe okukolera ku bigambo byonna eby’Amateeka gano.+
47 Kubanga kino si kigambo ekitaliimu nsa, wabula bwe bulamu bwammwe,+ era bwe munaakolera ku kigambo kino mujja kuwangaala mu nsi gye mugenda okutwala nga musomose Yoludaani.”
48 Era Yakuwa n’ayogera ne Musa ku lunaku olwo lwe lumu, n’amugamba nti:
49 “Yambuka ku lusozi luno olw’e Abalimu,+ Olusozi Nebo,+ oluli mu nsi ya Mowaabu, olutunudde e Yeriko, olabe ensi ya Kanani gye ŋŋenda okuwa Abayisirayiri ebeere yaabwe.+
50 Oluvannyuma ojja kufiira ku lusozi olwo lw’ogendako ogoberere abantu bo,* nga Alooni muganda wo bwe yafiira ku Lusozi Kooli+ n’agoberera abantu be,
51 olw’okuba mmwembi temwalaga bwesigwa gye ndi mu Bayisirayiri ku mazzi g’e Meriba+ ekiri mu Kadesi, mu ddungu lya Zini, n’olw’okuba temwantukuza mu maaso g’abantu ba Isirayiri.+
52 Ensi ojja kugirengera bulengezi, naye tojja kugenda mu nsi eyo gye mpa abantu ba Isirayiri.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “abaana b’abantu.”
^ Wano boogera ku Yakobo.
^ Obut., “N’amasavu g’endiga.”
^ Obut., “musaayi.”
^ Kitegeeza, “Omugolokofu.” Kino kitiibwa ekikozesebwa ku Isirayiri.
^ Oba, “Bankwasizza obuggya.”
^ Oba, “eritawuliriza kubuulirirwa.”
^ Oba, “alyejjusa olwa.”
^ Oba, “Abaalyanga ssaddaaka zaabwe ezisingayo obulungi.”
^ Oba, “Alirongoosa.”
^ Lino lye linnya Yoswa lye yasooka okutuumibwa. Koseya lye linnya Kosaaya nga lisaliddwako, Kosaaya litegeeza, “Alokoleddwa Ya; Ya Alokodde.”
^ Kino kisoko ekitegeeza okufa.