Ekyamateeka 33:1-29
33 Guno gwe mukisa Musa omusajja wa Katonda ow’amazima gwe yawa Abayisirayiri nga tannafa.+
2 Yagamba nti:
“Yakuwa yajja ng’ava ku Sinaayi,+Era yabaakira ng’ayima ku Seyiri.
Yayakira mu kitiibwa ng’ava mu kitundu ky’e Palani eky’ensozi,+Yali ne bamalayika abatukuvu mitwalo na mitwalo,+Ku mukono gwe ogwa ddyo waaliwo abalwanyi be.+
3 Yali ayagala abantu be;+Abatukuvu baabwe bonna bali mu mukono gwo.+
Baatuula wansi okumpi n’ebigere byo;+Baatandika okuwulira ebigambo byo.+
4 (Musa yatuwa amateeka,+Ekibiina kya Yakobo ge kirina.)+
5 Katonda yafuuka kabaka mu Yesuluni,*+Abakulu b’abantu bwe baakuŋŋaana,+Awamu n’ebika bya Isirayiri byonna.+
6 Lewubeeni k’abeerenga mulamu aleme kufa kuggwaawo,+Era abasajja be ka balemenga kuba batono.”+
7 Guno gwe mukisa gwe yawa Yuda:+
“Ai Yakuwa, wulira eddoboozi lya Yuda,+Era mukomyewo eri abantu be.
Emikono gye girwaniridde ekikye,Muyambe okulwanyisa abalabe be.”+
8 Ate ku Leevi yayogera nti:+
“Sumimu yo* ne Ulimu yo+ bya musajja omwesigwa gy’oli.+
Gwe wagezesa e Massa.+
Wawakana naye ku mazzi g’e Meriba,+
9 Omusajja eyagamba kitaawe ne nnyina nti, ‘Sibatwala ng’ekikulu.’
Era ne baganda be yabeesamba,+N’abaana be teyabassaako mwoyo.
Kubanga yakwata ekigambo kyo,Era yakuuma endagaano yo.+
10 Ka bayigirizenga Yakobo ebiragiro byo+Ne Isirayiri Amateeka go.+
Ka booterezenga obubaani bukuwunyire akawoowo+Era bawengayo ekiweebwayo ekiramba ku kyoto kyo.+
11 Ai Yakuwa, wa omukisa amaanyi ge,Era sanyukira emirimu gy’emikono gye.
Menyaamenya amagulu g’abalabe be,Abo abamukyawa baleme kuddamu kusituka.”
12 Ate ku Benyamini yayogera nti:+
“Omwagalwa wa Yakuwa k’abeerenga mu mirembe w’ali,Nga bw’amukuuma olunaku lwonna,Anaabeeranga wakati w’ebibegaabega bye.”
13 Ate ku Yusufu yayogera nti:+
“Ensi ye Yakuwa agiwenga omukisa+Ogw’ebirungi ebiva mu ggulu,Ogw’omusulo n’ogw’amazzi agava mu nsulo wansi mu ttaka,+
14 N’ogw’ebintu ebirungi, enjuba by’esobozesa okukula,N’ogw’ebikungulwa ebirungi buli mwezi,+
15 N’ogw’ebintu ebisingayo obulungi ebiva ku nsozi ez’edda,*+N’ogw’ebintu ebirungi eby’oku busozi obw’olubeerera,
16 N’ogw’ebintu ebirungi eby’ensi n’obugagga bwayo bwonna,+N’ogw’okusiimibwa oyo eyalabikira mu kisaka.+
Ka gibeere ku mutwe gwa Yusufu,Waggulu ku mutwe gw’oyo eyayawulibwa ku baganda be.+
17 Ekitiibwa kye kiringa ekya sseddume embereberye,Era amayembe ge galinga aga sseddume ey’omu nsiko.*
Aligakozesa okusindika* amawanga,Amawanga gonna okutuuka ku nkomerero y’ensi.
Amayembe ago gye mitwalo n’emitwalo gya Efulayimu,+Era ze nkumi n’enkumi za Manase.”
18 Ate ku Zebbulooni yayogera nti:+
“Sanyukira eŋŋendo zo ggwe Zebbulooni,Naawe Isakaali sanyukira mu weema zo.+
19 Baliyita amawanga okugenda ku lusozi.
Baliweerayo eyo ssaddaaka ez’obutuukirivu.
Balirya* obugagga obungi obw’omu nnyanjaN’eby’obugagga ebyakwekebwa eby’omu musenyu.”
20 Ate ku Gaadi yayogera nti:+
“Aweebwe omukisa oyo agaziya ensalo za Gaadi.+
Agalamira awo ng’empologoma,Nga yeetegese okuyuzaako omukono n’omutwe.
21 Aneeronderamu ekitundu ekisooka,+Kubanga omwo omugabo gw’omuwi w’amateeka mwe guterekeddwa.+
Abakulu b’abantu banaakuŋŋaana wamu.
Anaatuukiriza obutuukirivu bwa Yakuwa,N’ebiragiro bye wamu ne Isirayiri.”
22 Ate ku Ddaani yayogera nti:+
“Ddaani mwana gwa mpologoma.+
Anaabuuka okuva mu Basani.”+
23 Ate ku Nafutaali yayogera nti:+
“Nafutaali akkuse okusiimibwa kwa YakuwaEra ajjudde omukisa gwe.
Twala ensi y’ebugwanjuba n’ey’ebukiikaddyo.”
24 Ate ku Aseri yayogera nti:+
“Aseri aweereddwa abaana.
K’asiimibwenga baganda be,Era annyikenga* ebigere bye mu mafuta.
25 Ebisiba enzigi zo bya kyuma na kikomo,+Era onoobeeranga mu mirembe ennaku zo zonna.*
26 Tewali alinga Katonda ow’amazima+ owa Yesuluni,+Eyeebagala ku ggulu n’ajja okukuyamba,Era eyeebagala ku bire mu kitiibwa kye.+
27 Okuva edda n’edda Katonda abadde kiddukiro,+Emikono gye egy’emirembe n’emirembe gikuwanirira.+
Aligoba omulabe mu maaso go,+Era aligamba nti: ‘Bazikirize!’+
28 Isirayiri anaabeeranga mu mirembe,Era oluzzi lwa Yakobo lunaabeeranga lwokkaMu nsi ey’emmere ey’empeke n’omwenge omusu,+Erina eggulu erinaatonnyesanga omusulo.+
29 Weesiimye ggwe Isirayiri!+
Ani alinga ggwe,+Eggwanga erirokolebwa Yakuwa,+Engabo yo ekutaasa,+Era ekitala kyo eky’ekitiibwa?
Abalabe bo balikankanira mu maaso go,+Era olirinnya ku migongo gyabwe.”*
Obugambo Obuli Wansi
^ Kitegeeza, “Omugolokofu.” Kino kitiibwa ekikozesebwa ku Isirayiri.
^ Wano boogera ku Katonda.
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “ensozi ez’ebuvanjuba.”
^ Kirabika ensolo eno yali efaanana ng’embogo.
^ Oba, “okutomera.”
^ Obut., “Baliyonka.”
^ Oba, “anaabenga.”
^ Obut., “Era ng’ennaku zo, amaanyi go bwe ganaabanga.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “ku bifo byabwe ebigulumivu.”