Engero 14:1-35
14 Omukazi ow’amagezi azimba ennyumba ye,+Naye omusirusiru agimenyaamenya n’emikono gye.
2 Omuntu atambulira mu bugolokofu atya Yakuwa,Naye oyo atambulira mu makubo ag’obukuusa* amunyooma.
3 Omuggo ogw’amalala guba mu kamwa k’abasirusiru,Naye emimwa gy’ab’amagezi gibakuuma.
4 Bwe watabaawo nte, olutiba mwe ziriira luba luyonjo,Naye olw’amaanyi g’ente ennume ebikungulwa biba bingi.
5 Omujulizi omwesigwa talimba,Naye omujulizi ow’obulimba ayogera bulimba bwereere.+
6 Omukudaazi anoonya amagezi n’atagafuna,Naye omuntu omutegeevu ayanguyirwa okumanya ebintu.+
7 Weewale omuntu omusirusiru,Kubanga tolimuwulira ng’ayogera eby’amagezi.+
8 Amagezi gayamba omutegeevu okumanya gy’alaga,Naye abasirusiru babuzaabuzibwa obusirusiru bwabwe.*+
9 Abasirusiru baseka busesi ne bwe baba nga balina ekibi kye bakoze,+Naye abagolokofu baba beetegefu okutabagana n’abalala.*
10 Omutima gumanyi ennaku yaagwo,Era tewali muntu mulala asobola kugabana ku ssanyu lyagwo.
11 Ennyumba y’ababi ejja kuzikirizibwa,+Naye weema y’abagolokofu ejja kweyongera okugaziwa.
12 Waliwo ekkubo omuntu ly’alaba ng’ettuufu,+Naye nga ku nkomerero litwala mu kufa.+
13 Omuntu ne bw’aba ng’aseka, ayinza okuba ng’alina obulumi ku mutima,Era essanyu liyinza okuvaamu ennaku.
14 Omuntu omujeemu akungula ebyo ebiva mu nneeyisa ye,+Naye omuntu omulungi afuna empeera eva mu bikolwa bye.+
15 Atalina bumanyirivu akkiriza buli kye bamugamba,Naye omuntu ow’amagezi afumiitiriza ku buli ky’agenda okukola.+
16 Omuntu ow’amagezi yeegendereza era yeewala okukola ebibi,Naye omusirusiru teyeegendereza* era yeekakasa ekisukkiridde.
17 Omuntu asunguwala amangu akola ebitali bya magezi,+Naye oyo alowooza ku ebyo by’agenda okukola* akyayibwa.
18 Abatalina bumanyirivu bajja kusikira obusirusiru,Naye ab’amagezi bajja kutikkirwa engule ey’okumanya.+
19 Ababi bajja kuvunnamira abalungi,Era bajja kuvunnama ku miryango gy’abatuukirivu.
20 Omwavu ne banne bamukyawa,+Naye omugagga aba n’emikwano mingi.+
21 Omuntu anyooma munne aba ayonoona,Naye asaasira omunaku aba musanyufu.+
22 Abateesa okukola ebibi bajja kuwaba.
Naye abaagala okukola ebirungi balagibwa okwagala okutajjulukuka era beesigibwa.+
23 Kya muganyulo okukola omulimu gwonna ogw’amaanyi,Naye okwogera obwogezi kyavuwaza.+
24 Engule y’ab’amagezi bwe bugagga bwabwe;Naye obusirusiru bw’abatalina magezi busirusiru bwereere.+
25 Omujulizi ow’amazima awonya obulamu bw’abantu,Naye omujulizi ow’obulimba ayogera bulimba bwereere.
26 Omuntu atya Yakuwa amwesiga mu byonna,+Era n’abaana be bajja kuba n’obuddukiro.+
27 Okutya Yakuwa nsulo ya bulamu,Kuwonya omuntu emitego gy’okufa.
28 Abantu abangi kye kitiibwa kya kabaka,+Naye omufuzi atalina b’afuga obuyinza bumuggwaako.
29 Omuntu alwawo okusunguwala aba mutegeevu,+Naye atali mugumiikiriza ayoleka obusirusiru bwe.+
30 Omutima omukkakkamu guwa omubiri obulamu,Naye obuggya buvunza amagumba.+
31 Omuntu akumpanya omunaku anyiiza eyamutonda,+Naye asaasira omwavu agulumiza Katonda.+
32 Omubi ebibi bye bijja kumuleetera okugwa,Naye omutuukirivu ajja kufuna obuddukiro mu bugolokofu bwe.+
33 Amagezi gasirikira mu mutima gw’omuntu omutegeevu,+Naye geemanyisa mu basirusiru.
34 Obutuukirivu bugulumiza eggwanga,+Naye ekibi kiswaza abantu.
35 Kabaka asanyukira omuweereza we eyeeyisa mu ngeri ey’amagezi,+Naye asunguwalira nnyo oyo akola ebiswaza.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “amakyamu.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “abasirusiru babuzaabuza abalala n’obusirusiru bwabwe.”
^ Oba, “ba kisa.”
^ Oba, “aba n’obusungu bungi.”
^ Oba, “alina obusobozi bw’okulowooza.”