Engero 17:1-28
17 Okulya emmere ennuma nga waliwo emirembe+Kisinga okulya embaga* mu nnyumba omuli okuyomba.+
2 Omuddu omutegeevu alifuga omwana akola ebiswaza;Alifuna obusika ng’omu ku baana.
3 Entamu eba ya kugezesa ffeeza, n’ekyoto kiba kya kugezesa zzaabu,+Naye Yakuwa y’akebera emitima.+
4 Omuntu omubi assaayo omwoyo ku bigambo ebirumya,N’omusajja omulimba awuliriza ebigambo eby’ettima.+
5 Akudaalira omwavu anyiiza eyamutonda,+N’oyo asanyuka ng’abalala bafunye emitawaana taaleme kubonerezebwa.+
6 Abazzukulu ye ngule y’abakaddiye,Era bataata* kye kitiibwa kya batabani* baabwe.
7 Okwogera ebituufu* tekigwanira musirusiru.+
Kati olwo omufuzi* y’agwanira okwogera eby’obulimba?+
8 Ekirabo kiringa ejjinja ery’omuwendo eri nnyini kyo;*+Yonna gy’alaga, kimutuusa ku buwanguzi.+
9 Asonyiwa akoze ekibi* aba anoonya okwagalibwa,+Naye ayogera ku nsonga olutatadde ayawukanya ab’omukwano ennyo.+
10 Omuntu omutegeevu anenyezebwa lumu n’aganyulwa+Okusinga omusirusiru akubibwa emirundi kikumi.+
11 Omuntu omubi aba ayagala kujeema bujeemi,Naye bajja kumutumira omubaka omukambwe amubonereze.+
12 Waakiri osisinkana eddubu eriggiddwako abaana baalyoN’otosisinkana musirusiru mu busirusiru bwe.+
13 Omuntu asasula ekibi olw’ekirungi,Emitawaana tegiriva mu nnyumba ye.+
14 Okutandika olutalo kuba nga kuggulira mazzi.
Ovangawo ng’oluyombo terunnabalukawo.+
15 Omuntu eyejjeereza omubi, n’oyo asingisa omutuukirivu omusango+—Bombi Yakuwa abakyayira ddala.
16 Kigasa ki omusirusiru okuba n’obusobozi bw’okufuna amageziNg’ate talina mutima gwa kugafuna?*+
17 Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ekiseera kyonna,+Era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.+
18 Atalina magezi akola endagaano era n’akkirizaOkweyimirira omulala nga waliwo munne.+
19 Ayagala ennyombo aba ayagala okwonoona.+
N’oyo akola omulyango omuwanvu yeereetera okugwa.+
20 Ow’omutima omukyamu tajja kutuuka ku buwanguzi,*+N’oyo ayogera eby’obulimba ajja kugwa mu kabi.
21 Omuntu azaala omwana omusirusiru ajja kulaba ennaku;Era kitaawe w’omwana omusirusiru taba na ssanyu.+
22 Omutima omusanyufu ddagala ddungi,*+Naye omwoyo omwennyamivu gunafuya omubiri.*+
23 Omuntu omubi alya enguzi mu nkukutu*N’atasala musango mu bwenkanya.+
24 Amagezi gaba awo mu maaso g’omutegeevu,Naye amaaso g’abasirusiru gataayaaya okutuuka ku nkomerero y’ensi.+
25 Omwana omusirusiru anakuwaza kitaaweEra yennyamiza* oyo eyamuzaala.+
26 Si kirungi okubonereza* omutuukirivu,Era kiba kikyamu okukuba abantu ab’ebitiibwa.
27 Omuntu ow’amagezi yeefuga mu by’ayogera,+N’omutegeevu asigala mukkakkamu.*+
28 Omusirusiru bw’asirika atwalibwa okuba ow’amagezi,N’oyo abunira atwalibwa okuba omutegeevu.
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “ssaddaaka.”
^ Oba, “abazadde.”
^ Oba, “ky’abaana.”
^ Oba, “ow’ekitiibwa.”
^ Oba, “ebirungi.”
^ Oba, “erireetera nnyini lyo okusiimibwa.”
^ Obut., “Abikka ku kibi.”
^ Oba, “Ng’ate tategeera?”
^ Obut., “birungi.”
^ Oba, “gukaza amagumba.”
^ Oba, “guwonya.”
^ Obut., “eva mu kifuba.”
^ Obut., “anyiiza.”
^ Oba, “okutanza.”
^ Obut., “aba n’omwoyo omuteefu.”