Engero 2:1-22

  • Omugaso gw’amagezi (1-22)

    • Noonya amagezi ng’eby’obugagga ebyakwekebwa (4)

    • Obusobozi bw’okulowooza obulungi, kya bukuumi (11)

    • Obugwenyufu buvaamu emitawaana (16-19)

2  Mwana wange, bw’onokkiriza ebigambo byangeEra ebiragiro byange n’obikuuma ng’ekintu eky’omuwendo,+   N’otega okutu kwo n’owuliriza amagezi+Era n’ossaayo omutima gwo eri okutegeera;+   Bw’onookoowoolanga okumanya+Era n’okaabirira okutegeera;+   Bw’onoobinoonyanga ng’anoonya ffeeza,+N’obiwenja ng’awenja eby’obugagga ebyakwekebwa;+   Olwo lw’onootegeera kye kitegeeza okutya Yakuwa,+N’ovumbula okumanya okukwata ku Katonda.+   Kubanga Yakuwa y’awa amagezi;+Era mu kamwa ke mwe muva okumanya n’okutegeera.   Aterekera abagolokofu amagezi;Ye ngabo y’abo abatambulira mu bugolokofu.+   Akuuma amakubo ag’obwenkanya,Era ajja kukuuma ekkubo ly’abantu be abeesigwa.+   Olwo lw’ojja okutegeera eby’obutuukirivu n’eby’obwenkanya,Enkola yonna ey’ebintu ebirungi.+ 10  Amagezi bwe gayingira mu mutima gwo+N’oyagala ennyo okumanya,+ 11  Obusobozi bw’okulowooza obulungi bunaakukuumanga+N’okutegeera kunaakukuumanga, 12  Bijja kukuwonya okukwata ekkubo ebbi,N’omuntu ayogera ebitasaana,+ 13  N’abo abava mu makubo amagolokofuNe batambulira mu mpenda ez’ekizikiza,+ 14  Bijja kukuwonya abo abasanyukira ebikolwa ebibi,Abasanyukira ebitasaana, 15  Abatambulira mu makubo amakyamuEra abatali beesigwa mu byonna bye bakola. 16  Bijja kukuwonya omukazi omwenzi,N’ebigambo ebisikiriza* eby’omukazi omugwenyufu,*+ 17  Alekawo munne* ow’oku lusegere ow’omu buvubuka bwe+Era eyeerabira endagaano ya Katonda we; 18  Kubanga ennyumba ye ekka mu kufa,N’amakubo ge gatwala omuntu eri abo abaafa.+ 19  Tewali n’omu ku abo abeegatta naye* alidda,Oba alikomawo mu kkubo ery’obulamu.+ 20  N’olwekyo, tambulira mu kkubo ery’abantu abalungi,Era tova mu kkubo ly’abatuukirivu,+ 21  Kubanga abagolokofu be balibeera mu nsi,Era abo abataliiko kya kunenyezebwa* be baligisigalamu.+ 22  Naye ababi balimalibwawo mu nsi,+N’abo ab’enkwe balisimbulibwamu.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ebisendasenda.”
Obut., “omugwira.” Kirabika kitegeeza omuntu alina empisa embi ezimuviirako obutaba na nkolagana ne Katonda.
Oba, “bba.”
Obut., “abagenda gy’ali.”
Oba, “abakuuma obugolokofu.”