Engero 3:1-35
3 Mwana wange teweerabiranga bye nkuyigiriza,*Era omutima gwo gukwatenga ebiragiro byange,
2 Olyoke owangaale emyaka mingi,Era obe n’emirembe.+
3 Obwesigwa* n’okwagala okutajjulukuka tobiganyanga kukuvaako.+
Bisibe mu bulago bwo;Biwandiike ku mutima gwo;+
4 Olwo lw’ojja okusiimibwa era omanyibwe ng’omuntu omutegeevuMu maaso ga Katonda n’abantu.+
5 Weesigenga Yakuwa+ n’omutima gwo gwonna,Era teweesigamanga ku kutegeera kwo.+
6 Mulowoozengako mu byonna by’okola,+Anaatereezanga amakubo go.+
7 Teweetwalanga kuba wa magezi.+
Tya Yakuwa oleke ebibi.
8 Ekyo kijja kuwonya omubiri gwo*Era kijja kuweweeza amagumba go.
9 Ossangamu Yakuwa ekitiibwa n’omuwa ku bintu byo eby’omuwendo,+N’ebibala ebibereberye* eby’amakungula go gonna;+
10 Olwo amaterekero go lwe ganajjula,+Era n’amatogero* go lwe ganajjula ne gabooga omwenge omusu.
11 Mwana wange, togaananga kukangavvula kwa Yakuwa,+Era teweetamwanga by’akugamba ng’akunenya,+
12 Kubanga abo Yakuwa b’ayagala abanenya,+Nga taata bw’anenya omwana amusanyusa.+
13 Alina essanyu oyo afuna amagezi,+N’oyo afuna okutegeera;
14 Okufuna amagezi kisinga okufuna ffeeza,Okuba nago kisinga okuba ne zzaabu.+
15 Ga muwendo okusinga amayinja ag’omuwendo ag’omu nnyanja;*Tewali kintu ky’oyinza kwegomba ekiyinza okugenkana.
16 Mu mukono gwago ogwa ddyo mulimu okuwangaala;Ne mu mukono gwago ogwa kkono mulimu obugagga n’ekitiibwa.
17 Amakubo gaago malungi,Era empenda zaago zonna za mirembe.+
18 Amagezi muti gwa bulamu eri abo abagafuna,Era abo abaganywererako bajja kuyitibwa basanyufu.+
19 Emisingi gy’ensi Yakuwa yagisimbisa magezi.+
Eggulu yalinyweza na kutegeera.+
20 Olw’okumanya kw’alina yayawulamu amazzi,Era ebire byatonnya enkuba.+
21 Mwana wange, ebyo* tobiggyangako maaso.
Amagezi n’obusobozi bw’okulowooza obulungi tobiganyanga kukuvaako;
22 Bijja kukuwa obulamuEra bijja kuba ng’omukuufu omulungi mu bulago bwo;
23 Olwo ojja kutambulira mu kkubo lyo mirembe,Era ekigere kyo tekiryesittala ku kintu kyonna.*+
24 Bw’oneebakanga tootyenga;+Oneebakanga, otulo two ne tukuwoomera.+
25 Tolitya kintu kyonna eky’entiisa ekigwawo obugwi,+Wadde embuyaga erijjira ababi.+
26 Kubanga obwesige bwo bujja kuba mu Yakuwa;+Ajja kukuuma ekigere kyo kireme kugwa mu mutego.+
27 Tommanga kirungi abo b’ogwanidde okukiwa,+Bw’oba ng’osobola* okubayamba.+
28 Togambanga munno nti, “Genda; ojja kukomawo edda. Nja kukikuwa enkya,”
Ng’ate osobola okukimuweerawo.
29 Tokolanga lukwe okutuusa akabi ku munno+Ng’ate akwesiga.
30 Toyombanga na muntu awatali nsonga,+Nga talina kibi ky’akukoze.+
31 Omuntu akola eby’obukambwe tomukwatirwanga nsaalwa,+Era tokolanga ebyo by’akola,
32 Kubanga Yakuwa akyayira ddala omuntu omukuusa,+Naye abagolokofu abafuula mikwano gye egy’oku lusegere.+
33 Ekikolimo kya Yakuwa kiba ku nnyumba y’omubi,+Naye amaka g’abatuukirivu agawa omukisa.+
34 Asekerera abo abakudaala,+Naye asiima abawombeefu.+
35 Ab’amagezi bajja kufuna ekitiibwa,Naye abasirusiru beenyumiririza mu ebyo ebimalamu ekitiibwa.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “mateeka gange.”
^ Oba, “Amazima.”
^ Obut., “ekkundi lyo.”
^ Oba, “ebisingayo obulungi.”
^ Oba, “amasogolero.”
^ Kirabika boogera ku ngeri za Katonda ezoogerwako mu nnyiriri ezivaako waggulu.
^ Oba, “tekiryekoona ku kintu kyonna.”
^ Oba, “Bwe kiba nga kiri mu buyinza bw’omukono gwo.”