Engero 5:1-23
5 Mwana wange, ssaayo omwoyo eri amagezi gange.
Tega okutu eri okutegeera kwange,+
2 Olyoke okuume obusobozi bwo obw’okulowooza obulungiN’emimwa gyo gikuume okumanya.+
3 Kubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya ng’ebisenge by’omubisi gw’enjuki,+N’akamwa ke kasinga amafuta g’ezzeyituuni obuweweevu.+
4 Naye ku nkomerero akaawa ng’omususa,+Era asala ng’ekitala ekisala eruuyi n’eruuyi.+
5 Ebigere bye bikkirira mu kufa.
Ayolekera magombe.*
6 Talowooza ku kkubo ery’obulamu.
Abungeeta bubungeesi, tamanyi gy’alaga.
7 Kale baana bange, mumpulirize;Temuvanga ku bigambo byange.
8 Omukazi ng’oyo omwewalanga;N’oluggi lw’ennyumba ye tolusembereranga,+
9 Oleme kuggwaamu kitiibwa,+Era oleme kubonaabona ekiseera ky’obulamu bwo ekisigaddeyo;+
10 N’abantu abalala baleme kutwala bya bugagga byo,*+Era n’ebintu bye wateganira bireme kugenda mu nnyumba y’omugwira.
11 Oleme okusinda ku nkomerero y’obulamu bwoNga tokyalina maanyi, era nga n’omubiri gukuweddeko,+
12 N’ogamba nti: “Kale nnakyayira ki okubuulirirwa?
Omutima gwange gwanyoomera ki okunenyezebwa?
13 Saawuliriza ddoboozi ly’abo abanjigirizanga,Era sassaayo mwoyo eri abasomesa bange.
14 Kaakano nnaatera okusaanawoNg’ekibiina kyonna kiraba.”+
15 Nywa amazzi ag’omu luzzi lwoN’amazzi agakulukuta* okuva mu nsulo zo.+
16 Amazzi g’omu nsulo zo gandisaasaanidde ebweru,Amazzi g’emigga gyo ne gasaasaana mu bifo ebya lukale?+
17 Leka gabe gago wekka,So si ga bantu balala.+
18 Ensulo y’amazzi go k’ebenga n’omukisa,Era sanyukanga n’omukazi ow’omu buvubuka bwo,+
19 Empeewo ekwagala, era enjaza* etambuza essimbo.+
Amabeere ge ka gakumatizenga* ebiro byonna.
K’osanyusibwenga okwagala kwe bulijjo.+
20 Kale mwana wange, lwaki osikirizibwa omukazi omwenziN’ogwa mu kifuba ky’omukazi omugwenyufu?*+
21 Yakuwa alaba amakubo g’omuntu;Yeetegereza empenda ze zonna.+
22 Ebyonoono by’omuntu omubi bimusuula mu mutego,Emiguwa gy’ebibi bye gijja kumusiba.+
23 Ajja kufa olw’obutawabulwa,Ajja kuwaba olw’obusirusiru bwe obungi.
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “maanyi go.”
^ Oba, “amalungi.”
^ Obut., “embuzi ey’omu nsozi.”
^ Oba, “gakusanyusenga.”