Engero 9:1-18
9 Amagezi gazimbye ennyumba yaago;Gagikoledde empagi musanvu.
2 Gateeseteese bulungi ennyama yaago;Gatabudde omwenge gwago,Era gategese n’emmeeza yaago.
3 Gasindise abaweereza baago abakazi,Bagende mu bifo by’ekibuga ebigulumivu balangirire nti:+
4 “Buli atalina bumanyirivu ajje eno.”
Amagezi gagamba oyo atalina magezi nti:
5 “Jjangu olye emmere gye nfumbye,Era onywe n’omwenge gwe ntabudde.
6 Mulekere awo obutaba na bumanyirivu* mube balamu;+Mutambulire mu kkubo ery’okutegeera.”+
7 Oyo awabula omunyoomi yeereetera okuswala,+Na buli anenya omuntu omubi ajja kulumizibwa.
8 Tonenyanga munyoomi, aleme okukukyawa.+
Nenya ow’amagezi, anaakwagalanga.+
9 Yigiriza omuntu ow’amagezi, aneeyongera okuba ow’amagezi.+
Yigiriza omutuukirivu, aneeyongera okuyiga.
10 Okutya Yakuwa ye ntandikwa y’amagezi,+Era okumanya Oyo Asingayo Okuba Omutukuvu+ kwe kutegeera.
11 Kubanga nja kusobozesa ennaku zo okuba ennyingi,+Era ojja kuwangaala.
12 Bw’ofuna amagezi, ggwe aganyulwa mu magezi go,Naye bw’oganyooma, ggwe wekka akosebwa.
13 Omukazi omusirusiru ayogerera waggulu.+
Tategeera era talina ky’amanyi.
14 Atuula ku mulyango gw’ennyumba ye,Ku ntebe mu bifo ebigulumivu eby’omu kibuga,+
15 N’akoowoola abayitawo,Abali ku ŋŋendo zaabwe ng’agamba nti:
16 “Buli atalina bumanyirivu, ajje eno.”
Era agamba abo abatalina magezi+ nti:
17 “Amazzi amabbe gawooma,N’emmere eriibwa mu nkukutu ewooma.”+
18 Naye abo b’ayita tebamanyi nti abaafa bali eyo,Era nti n’abagenze gy’ali bali wansi ddala mu magombe.*+