Eseza 5:1-14

  • Eseza agenda mu maaso ga kabaka (1-8)

  • Kamani akwatibwa obusungu era ayoleka amalala (9-14)

5  Awo ku lunaku olw’okusatu+ Eseza n’ayambala ebyambalo eby’obwannaabakyala n’ayimirira mu luggya olw’omunda olw’ennyumba ya kabaka oluli mu maaso g’ennyumba ya kabaka. Kabaka yali atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka mu nnyumba* ey’obwakabaka ng’atunudde mu mulyango.  Kabaka olwalaba Nnaabakyala Eseza ng’ayimiridde mu luggya, n’asanyuka okumulaba, bw’atyo n’amugololera omuggo ogwa zzaabu+ ogwali mu mukono gwe. Eseza n’asembera n’agukwatako.  Awo kabaka n’amubuuza nti: “Nnaabakyala Eseza, mutawaana ki? Oyagala nkukolere ki? Ne bw’onoosaba kimu kya kubiri eky’obwakabaka bwange, kijja kukuweebwa!”  Eseza n’agamba nti: “Bwe kiba nga kirungi mu maaso ga kabaka, kabaka k’ajje ne Kamani+ olwa leero ku kijjulo kye mmutegekedde.”  Awo kabaka n’agamba abasajja be nti: “Mugambe Kamani ajje mangu nga Eseza bw’agambye.” Bwe batyo kabaka ne Kamani ne bagenda ku kijjulo Eseza kye yali ategese.  Bwe baali banywa omwenge, kabaka n’agamba Eseza nti: “Kiki ky’osaba? Kijja kukuweebwa! Era kiki ky’oyagala nkukolere? Ne bw’osaba ekitundu ekimu eky’okubiri eky’obwakabaka, kijja kukuweebwa!”+  Awo Eseza n’agamba nti: “Kye nsaba era kye njagala onkolere kye kino:  Bwe mba nga nsiimibwa mu maaso ga kabaka, era kabaka bw’aba alaba nga kirungi okumpa kye nsaba n’okunkolera kye njagala, kabaka ne Kamani ka bajje ku kijjulo kye ŋŋenda okubateekerateekera enkya, era enkya nja kukola nga kabaka bw’agambye.”  Ku lunaku olwo Kamani yavaayo ng’ajaganya era nga n’omutima gwe musanyufu. Naye bwe yalaba Moluddekaayi ku mulyango gwa kabaka, era nga tayimuse wadde okulaga nti amutidde, n’amusunguwalira nnyo.+ 10  Kyokka Kamani n’afuga obusungu bwe n’agenda ewuwe, n’atumya mikwano gye ne mukazi we Zeresi.+ 11  Awo Kamani ne yeewaana olw’eby’obugagga bye ebingi, n’abaana be abangi,+ n’olw’engeri kabaka gye yali amukuzizzaamu era n’amugulumiza okusinga abaami ba kabaka n’abaweereza be.+ 12  Kamani n’agattako nti: “Ate era, Nnaabakyala Eseza nze nzekka gwe yayise okugenda ne kabaka ku kijjulo kye yateeseteese.+ Era n’enkya ampise ŋŋende ne kabaka.+ 13  Naye bino byonna tebirina kye bingasa nga nkyalaba Moluddekaayi Omuyudaaya ng’atuula ku mulyango gwa kabaka.” 14  Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna ne bamugamba nti: “Lagira basimbe ekikondo, ng’obuwanvu kya mikono 50,* era enkya ku makya ogambe kabaka bawanikeko Moluddekaayi.+ Oluvannyuma ojja kugenda ne kabaka owoomerwe ekijjulo.” Kamani yalaba ng’amagezi agamuweereddwa malungi, bw’atyo n’alagira ne basimba ekikondo.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “lubiri.”
Mita nga 22.3 (ffuuti 73). Laba Ebyong. B14.