Ezeekyeri 1:1-28
1 Awo ku lunaku olw’okutaano olw’omwezi ogw’okuna, mu mwaka ogwa 30, bwe nnali n’abantu abaali mu buwaŋŋanguse+ okumpi n’Omugga Kebali,+ eggulu ne libikkulibwa ne ndaba okwolesebwa kwa Katonda.
2 Ku lunaku olw’okutaano olw’omwezi ogwo, nga gwe gwali omwaka ogw’okutaano bukya Kabaka Yekoyakini atwalibwa mu buwaŋŋanguse,+
3 Yakuwa yayogera nange nze Ezeekyeri* mutabani wa Buuzi kabona, nga ndi kumpi n’Omugga Kebali mu nsi y’Abakaludaaya.+ Omukono gwa Yakuwa gwanzijako nga ndi eyo.+
4 Bwe nnali nkyatunula, ne ndaba embuyaga ey’amaanyi+ ng’eva ebukiikakkono, era waaliwo ekire ekinene n’omuliro ogumyansa*+ nga byetooloddwa ekitangaala eky’amaanyi, era wakati mu muliro mwalimu ekintu ekifaanana ng’ekyuma ekimasamasa.*+
5 Mu muliro ogwo mwalimu ebyali bifaanana ng’ebiramu ebina,+ nga buli kimu kifaanana ng’omuntu.
6 Buli kiramu kyalina obwenyi buna n’ebiwaawaatiro bina.+
7 Ebigere byabyo byali bitereevu, nga bifaanana ng’eby’ennyana, era nga bimasamasa ng’ekikomo ekizigule.+
8 Byalina emikono ng’egy’abantu nga giri wansi w’ebiwaawaatiro byabyo ku njuyi zaabyo zonna ennya, era byonna ebina byalina obwenyi n’ebiwaawaatiro.
9 Ebiwaawaatiro byabyo byali bikoonagana. Buli kiramu kyagendanga butereevu mu maaso nga tekikyuka.+
10 Obwenyi bwabyo bwali bufaanana bwe buti: Buli kimu ku biramu ebyo ebina kyalina obwenyi ng’obw’omuntu, n’obwenyi ng’obw’empologoma+ ku luuyi olwa ddyo, n’obwenyi ng’obw’ente ennume+ ku luuyi olwa kkono, era buli kimu kyalina obwenyi+ ng’obw’empungu.+
11 Bwe butyo obwenyi bwabyo bwe bwali. Ebiwaawaatiro byabyo byali byanjuluziddwa waggulu waabyo. Buli kiramu kyalina ebiwaawaatiro bibiri ebyali bikoonagana era n’ebiwaawaatiro ebirala bibiri ebyali bibisse omubiri gwakyo.+
12 Buli kimu kyagendanga butereevu mu maaso; omwoyo gye gwabirazanga nabyo gye byagendanga.+ Tebyakyukanga nga bigenda.
13 Ebiramu ebyo ebina byali bifaanana ng’amanda agaaka, era ekintu ekyali kifaanana ng’emimuli egyaka ennyo kyali kidda eno n’eri nga kiri wakati w’ebiramu ebina, era ebimyanso byali biva mu muliro.+
14 Ebiramu ebyo bwe byagendanga ate n’ebidda, byali ng’okumyansa kw’eggulu.
15 Bwe nnali nkyatunuulira ebiramu ebyo, ne ndaba ku ttaka nnamuziga emu emu okuliraana buli kiramu eky’obwenyi obuna.+
16 Nnamuziga zonna ennya zaali zifaanagana era nga zaakaayakana ng’ejjinja lya kirisoliti. Buli nnamuziga yali erabika ng’erimu nnamuziga endala wakati waayo.
17 Bwe zaatambulanga, zaali zisobola okugenda ku buli luuyi ku njuyi zonna ennya nga tezisoose kukyuka.
18 Empanka za nnamuziga ennya zaali ngulumivu, era nga ziwuniikiriza, zaali zijjudde amaaso enjuyi zonna.+
19 Ebiramu ebina bwe byatambulanga, nga nnamuziga zigendera wamu nabyo, era ebiramu ebyo bwe byasitulwanga okuva wansi, nga ne nnamuziga nazo zisitulwa.+
20 Byagendanga omwoyo gye gwabirazanga, yonna omwoyo gye gwagendanga. Nnamuziga zaasitulwanga wamu nabyo, kubanga omwoyo ogwali gukolera ku biramu* ebina era gwe gwali ne mu nnamuziga.
21 Ebiramu ebyo bwe byatambulanga, nga ne nnamuziga zitambula; bwe byayimiriranga, nga nazo ziyimirira; era bwe byasitulwanga okuva wansi, nga ne nnamuziga nazo zisitulibwa wamu nabyo, kubanga omwoyo ogwali gukolera ku biramu ebina era gwe gwali ne mu nnamuziga.
22 Waggulu w’emitwe gy’ebiramu ebina waaliwo ekintu ekyali kitangalijja nga bbalaafu awuniikiriza.+
23 Wansi w’ekintu ekyo we waali ebiramu ebina, era ebiwaawaatiro bya buli kiramu byali byegolodde nga bikoonagana. Buli kiramu kyalina ebiwaawaatiro bibiri eby’okubikka oluuyi olumu olw’omubiri gwabyo, era n’ebiwaawaatiro ebirala bibiri eby’okubikka oluuyi olulala.
24 Bwe nnawulira okuwuuma kw’ebiwaawaatiro byabyo, kwali ng’okuyira kw’amazzi amangi, era ng’eddoboozi ly’Omuyinza w’Ebintu Byonna.+ Bwe byatambulanga, omusinde gwabyo gwali ng’ogw’eggye. Bwe byayimiriranga, nga bissa ebiwaawaatiro byabyo.
25 Waggulu w’ekintu ekyali waggulu w’emitwe gy’ebiramu ebina waaliwo eddoboozi. (Bwe byayimiriranga nga bissa ebiwaawaatiro byabyo.)
26 Waggulu w’ekintu ekyali waggulu w’emitwe gyabyo, waaliyo ekyali kifaanana ng’ejjinja lya safiro,+ era kyali kifaanana ng’entebe y’obwakabaka.+ Ku ntebe eyo kwali kutuddeko eyali afaanana ng’omuntu.+
27 Awo ne ndaba bwe yali afaanana okuva ku ekyo ekyalabika ng’ekiwato kye okudda waggulu. Yali afaanana ng’ekyuma ekimasamasa+ ekyetooloddwa omuliro. Okuva mu kiwato kye okukka wansi yali afaanana ng’omuliro,+ era yali yeetooloddwa ekitangaala eky’amaanyi
28 ekyali kifaanana nga musoke+ aba ku kire ku lunaku olw’enkuba. Ekitangaala eky’amaanyi ekyali kimwetoolodde bwe kityo bwe kyali kifaanana. Kyali ng’ekitiibwa kya Yakuwa.+ Bwe nnakiraba, ne nvunnama wansi ne mpulira eddoboozi ly’oyo eyali ayogera.
Obugambo Obuli Wansi
^ Litegeeza, “Katonda Agumya.”
^ Oba, “n’okumyansa kw’eggulu.”
^ Ekyuma ekimasamasa ekyakolebwa mu zzaabu ne ffeeza.
^ Obut., “omwoyo gw’ekiramu.”