Ezeekyeri 13:1-23
13 Yakuwa era n’ayogera nange, n’aŋŋamba nti:
2 “Omwana w’omuntu langirira ebinaatuuka ku bannabbi ba Isirayiri,+ era ogambe abo abeeyiiyiza obunnabbi*+ nti, ‘Muwulire ekigambo kya Yakuwa.
3 Yakuwa Mukama Afuga Byonna agamba nti: “Zibasanze bannabbi abasirusiru, abalagula ebiri mu mitima gyabwe, kyokka nga tebalina kye balabye!+
4 Ggwe Isirayiri, bannabbi bo bafuuse ng’ebibe ebiri mu matongo.
5 Temujja kugenda mu bifo bbugwe we yamenyeka okumudaabiriza ku lw’ennyumba ya Isirayiri,+ Abayisirayiri basobole okuwonawo mu lutalo ku lunaku lwa Yakuwa.”+
6 “Abo abafunye okwolesebwa okw’obulimba era ne balagula eby’obulimba bagamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba,’ so nga Yakuwa tabatumye, era balindiridde ebigambo byabwe bituukirire.+
7 Okwolesebwa kwe mufunye si kwa bulimba, ne bye mulagudde si bya bulimba bwe mugambye nti, ‘Yakuwa agambye bw’ati,’ so nga sirina kye njogedde?”’
8 “‘Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “‘Olw’okuba mwogedde eby’obulimba era nga n’okwolesebwa kwammwe kwa bulimba, ndi mulabe wammwe,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”+
9 Nja kugolola omukono gwange mbonereze bannabbi abafuna okwolesebwa okw’obulimba era abalagula eby’obulimba.+ Tebajja kuba mu bantu be mbuulira ebyama byange; amannya gaabwe tegajja kuwandiikibwa mu kitabo ekiwandiikibwamu ab’ennyumba ya Isirayiri, era tebajja kukomawo mu nsi ya Isirayiri; mujja kumanya nti nze Yakuwa Mukama Afuga Byonna.+
10 Ebyo byonna bijja kubatuukako olw’okuba bawabizza abantu bange nga bagamba nti, “Waliwo emirembe!” so nga tewali mirembe.+ Ekisenge ekitali kigumu bwe kizimbibwa, bakisiigako langi enjeru.’+
11 “Abo abakisiigako langi enjeru bagambe nti kijja kugwa. Enkuba ey’amaanyi, omuzira, ne kibuyaga ow’amaanyi bijja kukisuula.+
12 Ekisenge bwe kinaagwa, bajja kubabuuza nti, ‘Langi gye mwasiigako eruwa?’+
13 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Nja kuleeta kibuyaga ow’amaanyi, n’enkuba ey’amaanyi, awamu n’omuzira nga ndiko obusungu bungi n’ekiruyi.
14 Nja kumenya ekisenge kye mwasiiga langi enjeru, nkisuule wansi, era omusingi gwakyo gujja kusigala kungulu. Ekibuga bwe kinaagwa, mujja kufiiramu; era mujja kumanya nti nze Yakuwa.’
15 “‘Bwe nnaamalira ekiruyi kyange ku kisenge ne ku abo abaakisiiga langi enjeru, nja kubagamba mmwe nti: “Ekisenge tekikyaliwo era n’abo abaakisiiga langi tebakyaliwo.+
16 Bannabbi ba Isirayiri tebakyaliwo, abo abaalaguliranga Yerusaalemi era abaayolesebwanga nti Yerusaalemi kijja kufuna emirembe so nga tewali mirembe,”’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
17 “Omwana w’omuntu, obwenyi bwo bwolekeze bawala b’abantu bo abeeyiiyiza obunnabbi, olangirire ebinaabatuukako.
18 Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna: “Zibasanze mmwe abakazi abatungira abantu obugoye obw’okwesiba ku mikono* era ababatungira ebitambaala eby’okwebikka ku mitwe okusobola okubakwasa mu mutego! Muyigga obulamu bw’abantu bange naye ne mugezaako okuwonya obulamu bwammwe?
19 Munvumaganya mu bantu bange nga mwagala okufuna embatu za ssayiri n’obutundutundu bw’emigaati,+ ne mutta abantu abatagwanira kufa, kyokka ne muwonyaawo abo abatagwanira kuba balamu; kino mukikola nga mulimba abantu bange abawuliriza ebigambo byammwe eby’obulimba.”’+
20 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Bakazi mmwe, ndi mulabe w’obugoye bwammwe bwe mukozesa okuyigga abantu nga gy’obeera nti binyonyi, era nja kubusika ku mikono gyammwe, nte abo be muyigga ng’ebinyonyi.
21 Nja kuyuzaayuza ebitambaala byammwe eby’oku mitwe nnunule abantu bange mu mukono gwammwe, era temujja kuddamu kubakwasa mu mutego; mujja kumanya nti nze Yakuwa.+
22 Kubanga omutuukirivu wange gwe saanakuwaza,* mumumazeemu amaanyi olw’obulimba bwammwe,+ era munywezezza emikono gy’omubi,+ aleme kuva mu kkubo lye ebbi, asigale nga mulamu.+
23 Kale bakazi mmwe, temujja kuddamu kufuna kwolesebwa kwa bulimba era temujja kuddamu kulagula;+ nja kununula abantu bange mu mukono gwammwe, era mujja kumanya nti nze Yakuwa.’”
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “abalagula ebyo ebiri mu mitima gyabwe.”
^ Kwe kugamba, ensiriba ezaasibibwanga ku mikono.
^ Oba, “saaleetera bulumi.”