Ezeekyeri 15:1-8

  • Yerusaalemi muzabbibu ogutalina mugaso (1-8)

15  Yakuwa era n’ayogera nange, n’aŋŋamba nti:  “Omwana w’omuntu, omuti gw’omuzabbibu guyinza okugeraageranyizibwa n’omuti omulala gwonna oba n’ettabi ery’omuti gwonna ogw’omu kibira?  Omuti oguggibwako guyinza okukozesebwa omulimu gwonna? Oba abantu bayinza okugukolamu akati ak’okuwanikako ebintu?  Laba! Gusuulibwa mu muliro okuba enku, era omuliro gugwokya eruuyi n’eruuyi ne gugubabula wakati. Kati olwo guba guyinza okukozesebwa omulimu gwonna?  Bwe guba nga gwali tegusobola kukozesebwa kintu kyonna nga mulamba, kati olwo gunaaba n’omugaso gwonna ng’omuliro gumaze okugubabula n’okugwokya?”  “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Okufaananako omuti gw’omuzabbibu ogw’omu miti egy’omu kibira gwe mpaddeyo okuba enku, bwe ntyo bwe nnaakola abantu b’omu Yerusaalemi.+  Mboolekezza obwenyi bwange. Badduse okuva mu muliro, naye omuliro gujja kubookya. Era mujja kumanya nti nze Yakuwa, bwe nnaaboolekeza obwenyi bwange.’”+  “‘Era ensi nja kugifuula matongo,+ kubanga tebabadde beesigwa,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”

Obugambo Obuli Wansi