Ezeekyeri 19:1-14

  • Oluyimba olw’okukungubaga olukwata ku baami ba Isirayiri (1-14)

19  “Yimba oluyimba olw’okukungubaga olukwata ku baami ba Isirayiri,  ogambe nti, ‘Nnyoko yali ani? Yali mpologoma enkazi eyabanga n’empologoma endala. Yagalamiranga awali empologoma envubuka ez’amaanyi n’ekuza abaana baayo.   Yakuza omu ku baana baayo, n’eba empologoma envubuka ey’amaanyi.+ Yayiga okuyigga,N’etandika n’okulya abantu.   Amawanga gaawulira ebigikwatako, ne gagikwasiza mu bunnya bwago,Ne gagisika n’amalobo ne gagitwala mu nsi ya Misiri.+   Nnyina waayo yalindirira, naye bwe yalaba nga tewakyali ssuubi lya mwana gwayo kudda,N’eddira omwana gwayo omulala n’egutendeka okuba empologoma envubuka ey’amaanyi.   Nagwo gwatambuliranga wamu n’empologoma endala ne gufuuka empologoma envubuka ey’amaanyi. Yayiga okuyigga n’etandika n’okulya abantu.+   Yatambuliratambuliranga mu minaala gyabwe n’ezikiriza ebibuga byabwe,Ensi eyali efuuse amatongo n’ejjula okuwuluguma kwayo.+   Awo amawanga okuva mu bitundu ebiriraanyeewo ne gagirumba, ne gagisuulako ekitimba,N’ekwatibwa mu bunnya bwago.   Ne bagisika n’amalobo ne bagiteeka mu kiguli, ne bagitwala eri kabaka wa Babulooni. Baagisibira eyo, okuwuluguma kwayo kuleme kuddamu kuwulirwa mu nsozi za Isirayiri. 10  Nnyoko yali ng’omuzabbibu+ mu musaayi gwo,* omuzabbibu ogwasimbibwa awali amazzi. Gwabala nnyo era ne guba n’amatabi mangi olw’okubeera awali amazzi amangi. 11  Amatabi gaagwo gaafuuka magumu nga gagwanira okuba ddamula z’abafuzi. Gwakula ne gusinga emiti emirala gyonna obuwanvu,Ne guba nga gusobola okulengerwa olw’obuwanvu bwagwo n’olw’ebikoola byagwo ebingi n’amatabi gaagwo amangi. 12  Naye gwakuulibwa n’obusungu,+ ne gusuulibwa wansi,Empewo ey’ebuvanjuba n’ekaza ebibala byagwo. Amatabi gaagwo amagumu gaawogoka ne gakala,+ ne gookebwa omuliro.+ 13  Kaakano gusimbiddwa mu ddungu,Mu nsi enkalu etaliimu mazzi.+ 14  Omuliro gwava ku matabi gaagwo ne gulanda ne gwokya emitunsi gyagwo n’ebibala byagwo,Era tewaasigalawo ttabi na limu eggumu, wadde ddamula ey’okufugisa.+ “‘Luno luyimba lwa kukungubaga, era lunaabanga luyimba lwa kukungubaga.’”

Obugambo Obuli Wansi

Era kiyinza okuvvuunulwa, “ng’omuzabbibu mu nnimiro yo y’emizabbibu.”