Ezeekyeri 2:1-10
2 Awo n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu,* yimirira njogere naawe.”+
2 Bwe yayogera nange, omwoyo ne gunnyingiramu ne gunnyimiriza+ nsobole okuwulira Oyo eyali ayogera nange.
3 N’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, nkutuma eri abantu ba Isirayiri,+ eri amawanga amajeemu aganjeemedde.+ Bo ne bajjajjaabwe bamenye amateeka gange okutuusa leero.+
4 Nkutuma eri abaana abajeemu era ab’emitima emikakanyavu,+ obagambe nti ebigambo by’oyogera biva eri Yakuwa, Mukama Afuga Byonna.
5 Ka babe nga banaawuliriza oba nga tebaawulirize—kubanga ba mu nnyumba njeemu+—bajja kumanya nti waaliwo nnabbi mu bo.+
6 “Naye ggwe omwana w’omuntu, tobatya+ era totya bye boogera, wadde nga weetooloddwa emiyonza n’amaggwa*+ era ng’oli mu njaba. Totya bye boogera+ era totya maaso gaabwe,+ kubanga ba mu nnyumba njeemu.
7 Ojja kubabuulira ebigambo byange, ka babe nga banaawuliriza oba nga tebaawulirize, kubanga bajeemu.+
8 “Naye ggwe omwana w’omuntu, wuliriza bye nkugamba. Toba mujeemu ng’ennyumba eno enjeemu. Yasamya akamwa ko olye kye nkuwa.”+
9 Bwe nnatunula, ne ndaba omukono ogwali gugoloddwa gye ndi+ nga gukutte omuzingo* ogwali guwandiikiddwako.+
10 Bwe yagwanjululiza mu maaso gange, gwaliko ebigambo munda ne kungulu.+ Gwali guwandiikiddwako ennyimba ez’okukungubaga, n’ebintu ebireetera abantu okunakuwala n’okukuba ebiwoobe.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Ebigambo “omwana w’omuntu” bikozesebwa emirundi 93 mu kitabo kya Ezeekyeri, era nga guno gwe mulundi ogusooka.
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “wadde ng’abantu bakakanyavu era nga balinga ebintu ebikufumita.”
^ Oba, “omuzingo gw’ekitabo.”