Ezeekyeri 22:1-31
22 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti:
2 “Omwana w’omuntu oli mwetegefu okulangirira omusango* ogusaliddwa ekibuga ekiyiwa omusaayi+ era n’okukimanyisa ebintu byonna eby’omuzizo bye kikola?+
3 Ojja kugamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Ggwe ekibuga ekiriko omusango gw’okuyiwa omusaayi+ era ekikola ebifaananyi ebyenyinyaza* okweyonoona,+ ekiseera kyo kijja.+
4 Oliko omusango olw’okuyiwa omusaayi+ era ebifaananyi byo ebyenyinyaza bikufudde atali mulongoofu.+ Oyanguyizza enkomerero y’ennaku zo era n’enkomerero y’emyaka gyo etuuse. Kyennaava nkufuula ekivume eri amawanga era ekintu ekisekererwa ensi zonna.+
5 Ensi ezikuli okumpi n’ezo ezikuli ewala zijja kukusekerera,+ ggwe akoze erinnya ebbi era alimu obusambattuko.
6 Laba! Abaami ba Isirayiri bonna abali mu ggwe bakozesa obuyinza bwabwe okuyiwa omusaayi.+
7 Mu ggwe abantu banyooma bakitaabwe ne bannyaabwe.+ Bakumpanya abagwira era bayisa bubi bannamwandu n’abaana abatalina bakitaabwe.”’”*+
8 “‘Onyooma ebifo byange ebitukuvu era ovvoola ssabbiiti zange.+
9 Mu ggwe mulimu abo abawaayiriza bannaabwe nga baagala okuyiwa omusaayi.+ Baliira ssaddaaka ku nsozi zo era bakolera mu ggwe eby’obugwenyufu.+
10 Mu ggwe baweebuula ebitanda bya bakitaabwe,*+ era beegatta n’abakazi abatali balongoofu abali mu nsonga.+
11 Mu ggwe abasajja bakola eby’omuzizo ne baka bannaabwe,+ abalala beegatta ne baka baana baabwe,+ ate abalala beegatta ne bannyinaabwe, abaana ba bakitaabwe.+
12 Era mu ggwe balya enguzi basobole okuyiwa omusaayi.+ Owola olw’okwagala okufuna amagoba,+ era oggya ku banno ssente mu ngeri ey’olukujjukujju.+ Mazima ddala onneerabiridde ddala,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
13 “‘Laba! Nneetamiddwa olw’ebintu by’ofunye mu makubo amakyamu n’olw’ebikolwa eby’ettemu ebikolebwa mu ggwe.
14 Onooba okyalina obuvumu era nga n’emikono gyo gikyalina amaanyi ku lunaku lwe nnaakubonererezaako?+ Nze Yakuwa nze nkyogedde era nja kubaako kye nkolawo.
15 Nja kukusaasaanya mu mawanga era nkubunye mu nsi ez’enjawulo,+ era nja kukomya obutali bulongoofu bwo.+
16 Ojja kuweebuulwa mu maaso g’amawanga, era ojja kumanya nti nze Yakuwa.’”+
17 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti:
18 “Omwana w’omuntu, ab’ennyumba ya Isirayiri balinga amasengere agatagasa gye ndi. Bonna balinga ekikomo, ebbaati, ekyuma, n’erisasi mu kyoto. Balinga amasengere ga ffeeza.+
19 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Olw’okuba mmwenna mulinga amasengere agatagasa,+ nja kubakuŋŋaanyiza mu Yerusaalemi.
20 Nga bwe bakuŋŋaanya ffeeza, ekikomo, ekyuma, erisasi, n’ebbaati, ne babiteeka mu kyoto ne bafukuta omuliro okubisaanuusa, nange bwe ntyo bwe nnaabakuŋŋaanya nga ndiko obusungu n’ekiruyi, ne nfukuta omuliro ne mbasaanuusa.+
21 Nja kubakuŋŋaanya wamu mbafukuteko omuliro gw’obusungu bwange,+ era mujja kusaanuukira mu Yerusaalemi.+
22 Nga ffeeza bw’asaanuusibwa mu kyoto, nammwe mujja kusaanuusibwa mu Yerusaalemi; era mujja kumanya nti nze Yakuwa nze mbafuseeko obusungu bwange.’”
23 Yakuwa era n’ayongera n’aŋŋamba nti:
24 “Omwana w’omuntu, mugambe nti, ‘Oli nsi etejja kulongoosebwa era etejja kutonnyamu nkuba ku lunaku olw’obusungu.
25 Bannabbi be beekobaanye,+ ne baba ng’empologoma ewuluguma etaagulataagula omuyiggo.+ Batta abantu. Banyaga eby’obugagga n’ebintu eby’omuwendo, era n’abakazi baamu bangi babafudde bannamwandu.
26 Bakabona be bamenye amateeka gange+ era bavvoola ebifo byange ebitukuvu.+ Tebaawula bintu bitukuvu ku bitali bitukuvu,+ era tebategeeza bantu bintu birongoofu na bitali birongoofu;+ tebakwata ssabbiiti zange, era nvumaganyizibwa mu bo.
27 Abaami be abali mu ye balinga emisege egitaagulataagula omuyiggo; bayiwa omusaayi era batta abantu beefunire ebintu mu makubo amakyamu.+
28 Kyokka bannabbi be babikkirira ebibi by’abaami abo ng’abantu bwe babikkirira ekisenge nga bakisiigako langi enjeru. Bafuna okwolesebwa okw’obulimba era ne balagula eby’obulimba,+ era bagamba nti: “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba,” so nga Yakuwa talina ky’ayogedde.
29 Abantu b’omu nsi bakumpanyizza era ne banyaga;+ bayisizza bubi abali mu bwetaavu n’abaavu, bakumpanyizza omugwira era tebamulaze bwenkanya.’
30 “‘Nnanoonya mu bo omuntu ayinza okuddaabiriza bbugwe oba okuyimirira mu maaso gange mu kituli ekyakubibwa mu bbugwe, nneme okuzikiriza ensi,+ naye n’ambula.
31 N’olwekyo, nja kubafukako obusungu bwange, era mbazikirize n’omuliro gw’ekiruyi kyange. Nja kubasasula okusinziira ku makubo gaabwe,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “onoosala omusango, onoosala omusango.”
^ Oba, “ne bamulekwa.”
^ Obut., “babikkula obwereere bwa kitaabwe.”