Ezeekyeri 24:1-27
24 Ku lunaku olw’ekkumi, olw’omwezi ogw’ekkumi mu mwaka ogw’omwenda, Yakuwa era yayogera nange n’aŋŋamba nti:
2 “Omwana w’omuntu, wandiika ennaku z’omwezi,* ez’olunaku luno lwennyini. Olwa leero kabaka wa Babulooni lw’atandise okulumba Yerusaalemi.+
3 Gera olugero olukwata ku nnyumba enjeemu, ogambe nti:
“‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
“Teeka entamu* ku kyoto, ogifukemu amazzi.+
4 Giteekemu ebifi by’ennyama,+ buli kifi ekirungi,Ekisambi n’omukono; era ogijjuze amagumba agasinga obulungi.
5 Mu kisibo ggyamu endiga esinga okulabika obulungi,+ oteeke enku wansi w’entamu.
Ebifi by’ennyama n’amagumba obifumbire omwo.”’”
6 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
‘Zikisanze ekibuga kino ekiyiwa omusaayi,+ entamu eyatalagga, etaggibwangamu butalagge!
Gitoolemu ennyama kifi ku kifi;+ teweeroboza kya kutoolamu.*
7 Kubanga omusaayi gwakyo guli mu kyo;+ kyaguyiwa ku lwazi olwereere.
Tekyaguyiwa ku ttaka, gubikkibweko enfuufu.+
8 Okusobola okusaanuula obusungu kiwoolerweko eggwanga,Omusaayi gwakyo ngutadde ku lwazi olwereere olumasamasa,Guleme kubikkibwako.’+
9 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
‘Zikisanze ekibuga ekiyiwa omusaayi!+
Nja kutuuma entuumu y’enku ennene.
10 Tuuma enku, okumemu omuliro,Ennyama ogifumbire ddala, oyiwe ssupu, amagumba gasiriire.
11 Teeka entamu enkalu ku muliro ebugume,Ekikomo kyayo kyengerere.
Obutali bulongoofu bwayo bujja kusaanuuka,+ era obutalagge bwayo buggye omuliro.
12 Kikooya era kiteganya,Kubanga obutalagge bwayo obungi tebujja kuvaamu.+
Gisuule mu muliro n’obutalagge bwayo!’
13 “‘Ebikolwa byo eby’obugwenyufu byakufuula atali mulongoofu.+ Nnagezaako okukulongoosa naye wali tosobola kulongooka. Tojja kulongooka okutuusa obusungu bwe nkulinako lwe bunakkakkana.+
14 Nze Yakuwa nze nkyogedde. Kijja kutuukirira. Nja kubaako kye nkolawo, sijja kusaasira, era sijja kwejjusa.+ Bajja kukusalira omusango okusinziira ku nneeyisa yo n’ebikolwa byo,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
15 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti:
16 “Omwana w’omuntu, mu kaseera katono ŋŋenda kukuggyako omwagalwa wo.+ Tokaaba wadde okukungubaga* wadde okukulukusa amaziga.
17 Sinda mu kasirise, era tokola bulombolombo bwa kukungubaga.+ Weesibe ekiremba ku mutwe,+ era oyambale engatto zo.+ Tobikka ku mimwa gyo*+ era tolya mmere abantu abalala gye bakuleetera.”*+
18 Awo ne njogera n’abantu ku makya, mukyala wange n’afa akawungeezi, era enkeera ne nkola nga bwe nnali ndagiddwa.
19 Abantu ne bambuuza nti: “Tootubuulire ngeri ebintu bino by’okola gye bitukwatako?”
20 Ne mbaddamu nti: “Yakuwa ayogedde nange n’aŋŋamba nti,
21 ‘Gamba ab’ennyumba ya Isirayiri nti: “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Ndi kumpi kwonoona ekifo kyange ekitukuvu+ kye mwenyumiririzaamu ennyo, kye mwagala ennyo era kye mussaako omutima. Batabani bammwe ne bawala bammwe be mwaleka emabega bajja kuttibwa n’ekitala.+
22 Olwo mujja kukola nga bwe nkoze. Temujja kubikka ku mimwa gyammwe era temujja kulya mmere abantu abalala gye banaabaleetera.+
23 Mujja kwesiba ebiremba ku mitwe gyammwe era mujja kwambala engatto zammwe. Temujja kukungubaga wadde okukaaba. Naye mujja kukogga olw’ebibi byammwe,+ era buli omu ajja kusindira munne.
24 Ezeekyeri afuuse kabonero gye muli.+ Ky’akoze nammwe kye mujja okukola. Ebyo bwe binaatuukirira, mujja kumanya nti nze Yakuwa Mukama Afuga Byonna.’”’”
25 “Kale ggwe omwana w’omuntu, ku lunaku lwe nnaabaggyako ekigo kyabwe—ekirungi ekibasanyusa, kye baagala ennyo, era kye bassaako omutima—era ne mbaggyako batabani baabwe ne bawala baabwe,+
26 oyo anaaba awonyeewo ajja kujja gy’oli akutegeeze.+
27 Ku lunaku olwo olulimi lwo lujja kusumulukuka, era ojja kwasamya akamwa ko oyogere n’oyo anaaba awonyeewo.+ Ojja kuba kabonero gye bali, era bajja kumanya nti nze Yakuwa.”
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “erinnya ly’olunaku.”
^ Oba, “entamu ey’omumwa omugazi.”
^ Oba, “tobikubira kalulu.”
^ Oba, “okukuba ekifuba kyo.”
^ Obut., “omugaati gw’abantu.”
^ Oba, “masulubu go.”