Ezeekyeri 27:1-36
-
Oluyimba olw’okukungubagira ekyombo ekibbira ekya Ttuulo (1-36)
27 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti:
2 “Ggwe omwana w’omuntu, yimbira Ttuulo oluyimba olw’okukungubaga,+
3 ogambe Ttuulo nti,“‘Ggwe abeera ku miryango gy’ennyanja,Eyasuubulagananga n’abantu ab’oku bizinga ebingi,Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
“Ggwe Ttuulo ogambye nti, ‘Nnalungiwa ne ntuukirira.’+
4 Ensalo zo ziri wakati mu nnyanja,Era abazimbi bo bakulungiyizza n’otuukirira.
5 Embaawo zo zonna baaziggya mu miti gy’emiberosi egy’e Seniri,+Era baggya omuti gw’entolokyo e Lebanooni ne bakukolera omulongooti.
6 Baakubajjira enkasi mu miyovu gy’e Basani,Era ekitundu eky’omu maaso eky’ekyombo kyo baakikola mu miteyasi gye baawaayiramu amasanga, egyaggibwa mu bizinga by’e Kittimu.+
7 Amatanga go gaakolebwa mu ngoye za kitaani eza langi ennyingi ezaggibwa e Misiri,Era engoye ezaabikkibwanga ku kyombo kyo zaakolebwa mu wuzi eza bbulu n’eza kakobe ezaggibwa mu bizinga by’e Erisa.+
8 “‘“Abantu b’e Sidoni n’e Aluvadi+ be baakukubiranga enkasi.
Ggwe Ttuulo, abasajja bo abakugu be baali abalunnyanja bo.+
9 Abasajja b’e Gebali+ abakugu era abaalina obumanyirivu* be baddaabirizanga ebyombo byo.+
Era ebyombo byonna eby’oku nnyanja n’abalunnyanja baabyo bajjanga gy’oli okusuubula ebyamaguzi.
10 Abasajja b’e Buperusi, n’ab’e Ludi, n’ab’e Puti+ be baali mu magye go, abasajja bo abalwanyi.
Baawanikanga mu ggwe engabo zaabwe ne sseppeewo zaabwe, era baakuweesanga ekitiibwa.
11 Abasajja b’e Aluvadi abaali mu magye go baayimiriranga okwetooloola bbugwe wo,Era abasajja abazira be baakuumanga eminaala gyo.
Baawanikanga engabo enneekulungirivu ku njuyi zonna eza bbugwe wo,Ne bakulungiya n’otuukirira.
12 “‘“Ggwe ne Talusiisi+ mwasuubulagananga olw’okuba walina eby’obugagga bingi.+ Wabawanga ebyamaguzi byo, bo ne bakuwa ffeeza, ekyuma, ebbaati, n’erisasi.+
13 Ggwe n’ab’e Yavani, Tubali,+ ne Meseki,+ mwasuubulagananga; wabawanga ebyamaguzi byo, bo ne bakuwa abaddu+ n’ebintu eby’ekikomo.
14 Ab’e Togaluma+ baakuwanga embalaasi n’ennyumbu, ggwe n’obawa ebyamaguzi byo.
15 Ggwe n’abantu b’e Dedani+ mwasuubulagananga, era walina abasuubuzi ku bizinga bingi; baakuwanga amasanga+ n’emitoogo ng’omusolo.
16 Ggwe ne Edomu mwasuubulagananga olw’okuba walina ebintu bingi. Wabawanga ebyamaguzi byo, bo ne bakuwa amayinja ga nofeki, wuzi eza kakobe, ebyambalo eby’amasiira ebya langi ennyingi, engoye ennungi, amayinja ag’omuwendo ag’omu nnyanja, n’amayinja ag’omuwendo amatwakaavu.*
17 “‘“Ggwe ne Yuda n’ensi ya Isirayiri mwasuubulagananga; wabawanga ebyamaguzi byo,+ bo ne bakuwa eŋŋaano y’e Minnisi,+ emmere ennungi, omubisi gw’enjuki,+ amafuta, ne basamu.+
18 “‘“Ggwe ne Ddamasiko+ mwasuubulagananga olw’okuba walina eby’obugagga n’ebintu ebirala bingi; wabawanga ebyamaguzi byo, bo ne bakuwa omwenge gw’e Keruboni n’ebyoya by’endiga ebya Zakali.*
19 Ab’e Vedani n’e Yavani okuva mu kitundu ky’e Uzali baakuwanga ekyuma, kasiya,* ne kaane,* ggwe n’obawa ebyamaguzi byo.
20 Dedani+ yakuwanga engoye ez’okwebagalirako, gwe n’omuwa ebyamaguzi byo.
21 Wakozesanga Abawalabu n’abaami bonna ab’e Kedali+ abaasuubulanga obuliga, endiga ennume, n’embuzi.+
22 Ggwe n’abasuubuzi b’e Seba n’e Laama+ mwasuubulagananga; wabawanga ebyamaguzi byo, bo ne bakuwa amayinja ag’omuwendo, zzaabu, n’eby’akaloosa ebirungi ennyo ebya buli ngeri.+
23 Ggwe n’ab’e Kalani,+ n’e Kanne, n’e Edeni,+ n’abasuubuzi b’e Seba,+ n’e Asuli,+ n’e Kirumaadi mwasuubulagananga.
24 Mu katale ko mwasuubulagananga engoye ennungi, eminagiro egya bbulu egiriko amasiira aga langi ennyingi, n’ebiwempe ebirimu langi ennyingi, nga byonna bisibiddwa emiguwa.
25 “‘“Ebyombo by’e Talusiisi+ bye byasaabazanga ebyamaguzi byo,Bw’otyo n’ojjula eby’obugagga wakati mu nnyanja.
26 “‘“Abakukubira enkasi bakutuusizza mu mazzi amangi;Omuyaga ogw’ebuvanjuba gukumenyeddemenyedde wakati mu nnyanja.
27 Obugagga bwo, ebintu byo, ebyamaguzi byo, abalunnyanja bo, n’abagoba b’ebyombo byo,Abo abaddaabiriza ebyombo byo, abasuubuzi bo,+ n’abalwanyi bo bonna,+Kwe kugamba, abantu bonna* abali mu ggwe,Bajja kubbira wakati mu nnyanja ku lunaku lw’onoogwa.+
28 “‘“Abalunnyanja bo bwe banaaleekaana, olubalama lw’ennyanja lujja kukankana.
29 Abakukubira enkasi bonna n’abalunnyanja, n’abagoba b’ebyombo byoBajja kuva mu byombo byabwe bayimirire ku lukalu.
30 Bajja kuyimusa amaloboozi gaabwe bakukaabire,+Nga bwe bayiwa enfuufu ku mitwe gyabwe, era nga bwe beevulunga mu vvu.
31 Bajja kumwako enviiri zaabwe bambale ebibukutu;Bajja kukukaabira nga bwe bakuba ebiwoobe.
32 Bajja kukuyimbira oluyimba olw’okukungubaga era bakube ebiwoobe nga bagamba nti:
“‘“‘Ani alinga Ttuulo, kaakano asirikidde wakati mu nnyanja?+
33 Ebyamaguzi byo bwe byagobanga ku lukalu, abantu b’amawanga mangi baafunanga bye beetaaga.+
Obugagga bwo obungi, n’ebyamaguzi byo byagaggawaza bakabaka b’ensi.+
34 Kaakano omenyekedde mu nnyanja, mu buziba,+Era ebyamaguzi byo byonna bibbidde naawe mu nnyanja, awamu n’abantu.+
35 Abantu bonna ab’oku bizinga bajja kukutunuulira beewuunye,+Era bakabaka baabwe bajja kukankana olw’okutya+—bajja kweraliikirira.
36 Abasuubuzi b’omu mawanga bajja kufuuwa oluwa olw’ekyo ekinaakutuukako.
Enkomerero yo ejja kujja mangu era ejja kuba ya ntiisa,Era tojja kuddamu kubaawo emirembe n’emirembe.’”’”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “era abakadde.”
^ Mu Lungereza, ruby.
^ Oba, “n’ebyoya by’endiga ebimyukirivu.”
^ Omuti oguli mu kika kye kimu n’omudalasiini.
^ Ekimera kino kyali kiwunya akawoowo.
^ Obut., “ekibiina kyonna.”